Sandra Kwikiriza
Sandra Kwikiriza Munnayuganda alwanirira eddembe ly’abakyala, LBQ era omulwanirizi w’eddembe lya bantu kumituku miyunga bantu. Yatandikawo ekibiina kya HER Internet era akola nga omukulembe owokuntiko
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kwikiriza yazaalibwa mu Uganda era abeera Kampala . Yasomera mu ttendekero ly’abakulembeze b’abakyala mu Afrika[1] era ali mu kitongole ekinoonyereza ku by’obulamu by’abakyala ekya Foundation for Women’s Health Research and Development (FORWARD).[2]
Kwikiriza yatandikawo HER Internet, nga kino "kibiina kya bakyala ekikulemberwa womenxn ekiwagira eddembe lya bakyala ku mikutu migatta bantu era nga essira liteekeddwa ku LBQ (lesbians, bisexual and queer) womxn n'abakyala abakola ku by'okwegatta"[1] era "kiwagira okusoma n'okuwandiika mu ngeri ya digito eri abakyala abasuuliddwa ku mabbali."[3] Ye Dayirekita wo'mukutu gwa HER.[4]
Kwikiriza yayongere okumanyisa abantu ku kutulugunyizibwa ku mikutu migatta bantu,[5] engeri abakyala mu byobufuzi gye batera okulumbibwa amawulire ag’obulimba mu biseera by’okulonda,[6] era abadde akola emisomo ku ngeri y’okuzuula n’okulwanyisa ebiva mu mawulire ag’obulimba ng’awagirwa ekitongole kya Collaboration on International ICT Policy for East and Central Africa (CIPESA Uganda).[7] Mu 2022, yayogera ku nsonga zino eri ababaka ba Palamenti abakyala abakulu mu lukiiko olwategekebwa ekibiina kya Women Human Rights Defenders Network (WHRDN-U).[8]
Kwikiriza yayogera ku mikolo, nga mu Kick Off of the Digital Human Rights Lab mu 2019 gye yawakanya enkola ey’enjawulo ku by’okwerinda ebya digito[9] ne mu Hacks/Hackers Africa 2022 ku bulamu bw’obwongo mu bikwatagana n’enkozesa y'emikututu.[10] Mu lukiiko lw'eddembe lya yintaneeti mu Afrika (FIFAfrica22) gye yali ekitundu ku kakiiko k'abakyala mu Afrika akaayitibwa ekibiina kya African Women's Development and Communication Network (FEMNET) nga bateesa ku "Resistance and Connection: endowooza y’abakyala mu Afirika ey’okuggya amawanga ku yintaneeti [11] Era yayogera ku bulabe bw'amatwale ku mikolo mu Bulaaya, ng'awa emboozi eri ekibiina kya Cross Party Group of Scotland Omukago gw’ensi yonna ogw’enkulaakulana (SIDA) mu 2024 ogukwata ku ngeri obufuzi bw’amatwale gye bukwata ku ddembe lya LGBTQ+, okuzzaawo obuwangwa n’obwetaavu bw’okulowoozebwako mu kuliyirira.[12]
Mu 2023, yafulumira mu akatambi ka Whose Voices? podcast, nga kakwata ku kusoomoozebwa kw’abantu aba queer kwe basanga nga bakozesa yintaneeti n’engeri ebifo ku yintaneeti gye biyinza okuba eby’obukuumi eri abakyala aba queer.[13] Era ali ku kakiiko ka magazini ya Women Moving Forward Together ey’olulimi Olungereza n’Olusipeyini.[14]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Sandra Kwikiriza". Uganda Feminist Forum (in American English). Archived from the original on 2025-02-16. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ "TuWezeshe Akina Dada Alumni". FORWARD (in Lungereza). Retrieved 2025-02-16.
- ↑ "Sandra Kwikiriza". ILGA World (in Lungereza). 2019-09-24. Archived from the original on 2025-07-02. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ Kuchu Times (2022-11-28). Sandra Kwikiriza - Executive Director, HERINTERNET. Retrieved 2025-07-20 – via YouTube.
- ↑ "Women and cyber bullying". Monitor (in Lungereza). 2020-07-19. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ de Souza, Narrira Lemos (25 February 2024). "Narratives that create connection, not conflict". Take Back The Tech. Archived from the original on 2025-02-16. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ "HER INTERNET RUNS MISINFORMATION AND DISINFORMATION CAMPAIGN CROWNED WITH DIALOGUE". Kuchu Times (in American English). 2022-09-26. Archived from the original on 2025-02-16. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ "WOMEN MEMBERS OF PARLIAMENT COMMIT TO FIGHT ONLINE VIOLENCE AGAINST WHRDS". Women Human Rights Defenders Network Uganda (in American English). 2022-01-28. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ "Digital Human Rights Lab – Lightning Talks revisited". FutureChallenges (in British English). 2019-10-29. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ "HacksHackers Uganda: Internet and mental health". Medium. 6 July 2022. Archived from the original on 2025-02-16. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ Komusana, Sunshine Fionah (2022-10-12). "Resistance & Connection: an African Feminist Perspective for Decolonizing the Internet". African Feminism (AF) (in American English). Archived from the original on 2025-02-16. Retrieved 2025-02-16.
- ↑ "Scotland's role in global justice and reparations". Scotland's International Development Alliance (in British English). 2024-10-02. Retrieved 2025-03-20.
- ↑ "Ep 21 Sandra Kwikiriza On The Many Ways Online Spaces Can Be Safer For Queer People". Apple Podcasts (in American English). Retrieved 2025-02-16.
- ↑ ""Women moving forward together..." ILGA World (in British English). 2021-04-29. Archived from the original on 2025-07-02. Retrieved 2025-02-16.