Sanga Moses
Sanga Musa | |
|---|---|
| Okuzaalibwa | |
| Omulimu | Omusuubuzi w’embeera z’abantu |
| Omukulu | Eco-fuel Africa Ltd |
| Omutwe | Omutandisi era akulira emirimu |
Sanga Moses Munnayuganda omutandisi w’emirimu mu bitundu eyatandikawo, era akulira kampuni ya Eco-fuel Africa Ltd. (EFA). Moses amanyiddwa nnyo ng'omu kubalengerera ewala mu ggwanga era eyawangula awaadi ya 1 million Verizon’s Powerful Answers Award olw’okugonjoola ebizibu mu tekinologiya ow’obuyiiya mu kusoomoozebwa kw’ensi yonna. [1] [2]
Eby'enjigiriza n’obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Sanga Moses yakulira ku kyaalo ekitono mu bugwanjuba bwa Uganda.[3] Ye yasooka mu kika kye okutikirwa okuva ku Yunivasite, era mu 2005 yaweebwa Diguli mukudukanya Bizineensi okuva ku Makerere University mu Kampala.[4]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Moses yatandika omulimu gwe ogw’ekikugu ng’omubalirizi w’ebitabo omutendeke mu kibuga kya Uganda ekikulu ekya Kampala, era n’akolera mu kifo ekyo okumala emyaka esatu okuva mu 2006 okutuuka mu 2009. Yalekulira omulimu ogwo mu 2009, oluvannyuma lw’okukyalira aba famire ye mu Bugwanjuba bwa Uganda n’asisinkana mwannyina ow’emyaka 12: eyalina ng'okutambula kiromita 10 ng'akozesa bigere okugula enku za famire ye mu kifo ky’okugenda kusomero. Mu kiseera ekyo, Moses yasalawo okuteeka ssente zonna ze yatereka mu bulamu bwe eza doola za Amerika 500 mu kutondawo eky’etagisibwa okusinga okukozesa enku mu kufumba. [4]
Mu 2010 yatongoza EFA era n’akola ebyuma ebyasooka okukola ebikoomi n’ebyuma ebikola bulooka eziringa amanda . EFA kitongole kya mbeera z’abantu ekitunda amafuta amayonjo eri famire eziwera 220,000 mu Uganda era nga kikozesa abantu 120. [5] Enkola ya bizinensi ya EFA yaleeta ensimbi eri enkumi n'enkumi z’abakyala abasuubuzi b’omu kitundu, abatunda amanda agakozesebwa mu kufumba nga amayonjo, n’abalimu abawerako abasaasaanya ebintu, abakola ebikozesebwa ng'amanda nga bagagya okuva mu kasasiro w’eby'obulimi nga bakozesa tekinologiya wa EFA ow’ekikoomi. [1] Moses yakolagana ne bayinginiya okukola ebyooto n’ebyuma ebikuba amanda okukola amanda agagiddwa mu butonde ku bbeeyi ensaamusaamu. Agenderera okulaba nga tekinologiya ono afunibwa abantu abalala ab’omu byalo mu bukiikaddyo bw'eddundu lya Sahara nga balina obutaba na mafuta amayonjo nga gali ku muwendo emisaamu saamu. [6] Moses yatekawo enkola ya EFA ku butonde bw’ensi omuli okuddamu okuteeka ekitundu ku magoba gaayo mu kuzaawo ebibira mu Uganda. [6]
Mu 2014, yasunsulwamu okuvuganya mukya awaadi ya The Future Awards Africa era n’akolagana n’etendekero lya Global Social Benefit Institute ekya Santa Clara University okulakulanya EFA.[7] [8]
Awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Society, National Geographic. "Learn more about Sanga Moses". www.nationalgeographic.org (in Lungereza). Retrieved 2018-11-12.
- ↑ "GSBI Alumni Awarded $1 Million". Miller Center (in American English). Retrieved 2018-11-12.
- ↑ Daugherty, Susan (2014-12-16). "Entrepreneur Changes Life in Uganda by Turning Waste Into Fuel". National Geographic. Archived from the original on December 16, 2014. Retrieved 2018-11-12.
- 1 2 Rawsthorn, Alice (29 July 2012). "Cleaning Up the African Kitchen". The New York Times (in Lungereza). Retrieved 2018-11-12.
- ↑ Lane, Jim (25 June 2017). "Sanga Moses is on a Crusade". Biofuels Digest (in American English). Archived from the original on 2019-03-06. Retrieved 2018-11-12.
- 1 2 3 "Moses Sanga". IREX (in Lungereza). Retrieved 2018-11-12.
- ↑ "Sarkodie, Davido, Sandu Delle, Regina Agyare & Others Are the Finalists for the Future Awards Africa 2014". Bella Naija (in American English). 19 November 2014. Retrieved 2018-11-12.
- ↑ Lohse, Deborah (February 2015). "2014 GSBI Alumni, Eco-fuel Africa, Awarded $1 Million from Verizon's "Powerful Answers" Challenge" (in Lungereza). Santa Clara University. Retrieved 2018-11-12.
- ↑ Ingawala, Myshkin (2014-01-15). The Unreasonable Fellows (in Lungereza). Penguin UK. ISBN 9789351186045.
- ↑ Baker, Collin (19 February 2014). "Eco-Friendly Program Wins $1 Million". The Santa Clara (in American English). Archived from the original on 2019-03-02. Retrieved 2018-11-12.