Jump to content

Sarah Mullally

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omukyala Sarah Elisabeth Mullally ( Template:Nee ; yazaalibwa nga 26 ogw'okusatu mu mwaka gwa 1962)musumba w’Abangereza mu Bungereza era nga yaliko nnansi . Abadde Mulabirizi wa London okuva mu mwaka gwa 2018, era ye mukyala asoose okubeera mu ofiisi eno. Olwa ofiisi ye era mukama owoomwoyo (Lord spiritual)y'omu ku balabirizi 26 ab'ekkanisa ya Bungereza abatuula mu nnyumba y'abakama ya Palamenti e Bungereza . Nga 3 ogw'ekkumi mu mwaka gwa 2025, kyalangirirwa nti Mullally agenda kufuuka ssaabalabirizi wa Canterbury ow’omulundi ogwa 106 mu mwezi gw'agatonya mu mwaka gwa 2026. Agenda kuba omukyala asoose okukwata ofiisi eno.

Okuva mu 1999 okutuuka mu 2004, Mullally yaliko akulira ba nnansi mu Bungereza era nga ye dayirekita w’ekitongole ky’ebyobulamu mu ggwanga ekivunaanyizibwa ku bumanyirivu bw’abalwadde mu Bungereza. Yatuuzibwa ku bwafaaza mu Kkanisa ya Bungereza mu mwaka gwa 2002, n’aweereza mu kkanisa ez’enjawulo mu London era nga canon wa Salisbury Cathedral okutuusa mu 2015, lwe yatukuzibwa ng’omulabirizi wa Crediton, omulabirizi w’abasuffragan mu bulabirizi bw’e Exeter .

Omulimu gw'obunnansi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mullally yalina ebifo by'obunnansa mu malwaaliro ga St Thomas' ne The Royal Marsden Hospital. [1] Yakola emirimu gy’obukulembeze mu bunnansi egiwerako, okusooka mu ddwaaliro eryali erya Westminster (gye yali Ward Sister era akulira enkulaakulana y’enkola) n’oluvannyuma nga dayirekita wa ba nnansi mu Chelsea ne Westminster . [2]

Mu mwaka gwa 1999, yalondebwa ng'omukulembeze w'aba nnansi era Dayirekita w'obumanyirivu bw'abalwadde mu Bungereza : ye muntu asinga obuto okubeera mu bifo bino. Yali dayirekita atali mukulembeze mu kitongole kya English Board of Nursing, Midwifery and Health Visiting. [3]

Mullally yaweereza nga Gavana ayeetongodde mu London South Bank University wakati wa 2005 ne 2015, gye yafuuka omumyuka wa Ssentebe w’olukiiko olufuzi era Ssentebe w’akakiiko akakola ku nkola n’ebikozesebwa. [4] Yali dayirekita atali mukulu mu kitongole kya Royal Marsden NHS Foundation Trust okuva mu 2005 okutuuka mu 2012, [5] era yakola omulimu ogutali mukulu mu Salisbury NHS Foundation wakati wa 2012 ne 2016. Mullally yafuuka mmemba omulayiki mu lukiiko lwa King's College London mu mwaka gwa 2016. [6]

  1. "First female Bishop of London appointed". BBC News. 18 December 2017. Retrieved 3 October 2025.
  2. "Sarah Mullally". The Archbishop of Canterbury. 12 May 2018. Retrieved 3 October 2025.
  3. "The Government's Expenditure Plans 2001–2002 to 2003–2004 and Main Estimates 2001–2002" (PDF). Department of Health. Archived (PDF) from the original on 12 October 2007. Retrieved 8 January 2010.
  4. "About Us". London South Bank University. Archived from the original on 17 July 2012. Retrieved 18 December 2017.
  5. "Current Board Members". Royal Marsden NHS Trust. Archived from the original on 2 June 2007. Retrieved 8 January 2010.
  6. "The Right Reverend Dame Sarah Mullally, Bishop of Crediton joins Kings College Council". Archived from the original on 27 May 2017.