Jump to content

Sarah Nambozo Wekomba

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sarah Nambozo Wekomba (yazaalibwa 15 Ogwomusanvu, 1978).[1] Munnayuganda omubaka wa palamenti era omukozi w'ensonga z'abantu. We bwatuukira mu Gwokutaano, 2020, yali akola nga omubaka omukyala omulonde akiikirira Disitulikiti y'e Bulambuli mu palamenti ya Uganda eyekkumi. [2] Mu byobufuzi, yavuganya nga yeesimbyewo ku bwannamunigina [3] [4] mu kulonda kwa bonna okwa 2016, era n'atuuka ku buwanguzi nga awangudde Irene Muloni. [5]

Obuto n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Wekomba yasomerako ku ssomero lya Nkoyoyo Boarding Primary School gye yava mu 1992 n'agenda mu ssomero ly'abawala erya Tororo Girls School era gye yamalira Siniya Ey'okuna n'eyoomukaaga wakati wa 1993 ne 1998. Oluvannyuma yagenda ku Makerere University n'afuna diguli esooka mu Ssomo ly'eby'enkulaakulana mu 2006.[1]

Nga tannafuuka munnabyabufuzi, Wekomba ayogerwako ng'eyali dayirekita wa Mbale Importers and Exporters Limited wakati wa 2011 ne 2016 Wakati wa 2006 ne 2009 yaweereza ng'omuwi w'amagezi ku nsonga z'okufa ku baguzi mu Nile Bank (2006 -2007) n'oluvannyuma mu Barclays Bank (2007-2009). Era yakolanga ng'omukwasi wa ssente era omuyambi mu kutunda mu Mt.Elgon Millers Limited okuva mu 2005 okutuuka mu 2006.[1]

Mu palamenti ya Uganda ey’ekkumi, yali mmemba mu kakiiko akavunaaanyizibwa ku kubala ebitabo bya Gavumenti ez’ebitundu wamu n’akakiiko akavunaanyizibwa ku kikula ky'abantu, abakozi, n'enkulaakulana y’embeera z’abantu. [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=318
  2. https://observer.ug/news/headlines/57999-polling-agents-threaten-to-sue-mp-over-2016-unpaid-allowances
  3. https://ugandaradionetwork.net/story/ec-approves-wekombas-victory-as-bulambuli-woman-mp
  4. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1481129/independent-bulambuli-woman-mp-thrown-nrm-lc1-conference-meeting
  5. https://ugandaradionetwork.net/story/minister-muloni-loses-bulambuli-seat