Jump to content

Sarah Wasagali Kanaabi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sarah Wasagali Kanaabi (yazaalibwa nga 30 omwezi ogw'ekkumi mu 1967) munnayuganda omukugu mu by'enfuna, asoma, era muddukanya emirimu gya gavumenti. Yakola nga Ssentebe w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’amasannyalaze (ERA) [1] okuva mu 2020 okutuuka mu 2025 ekyamufuula omukyala asoose okubeera mu kifo kino. Yalekulira mu mu gwomukaaga ogwa 2025 n’avuganya ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Mbale wansi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM).

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Wasagali yazaalibwa nga 30 mu mwezi ggwe kkumi mu 1967 mu ssaza ly’e Buhugu mu disitulikiti y’e Sironko . [2] Yasomera mu Buhugu Primary School ne North Road Primary School. [2] Alina diguli esooka mu Social Science ne diguli eyookubiri mu Economic Policy and Planning okuva mu Univasite ye Makerere , nafuna dipulooma mu by'enjigiriza n'e dipulooma mu Kiswahili yafuna okuva mu Islamic University mu Uganda (IUIU) mu 1997. [2] Kanaabi yafuna Doctor of Philosophy (PhD) mu by'enfuna okuva mu Univasite ye Makerere.[3]

Omulimu gw’okusoma n’ogw’ekikugu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kanaabi yasomesa mu ssomero lye Kibuli Secondary ne Bashir High School nga tannatandika kusomesa byanfuna okumala emyaka egisoba mu makumi abiri mu Islamic University mu Uganda ne Kyambogo University . [2] [3] Mu 1998, Kanaabi yeegatta ku by'obufuzi e Mbale bwe yalondebwa ku bwakansala. [2] Yaweereza ku bubondo bungi obwabannakyewa omuli Private Sector Development Center e Mbale, Eastern Private Sector Development Center Ltd, National Citizenship and Immigration Board [4] n’amasomero ga siniya agawerako omuli Mbale Secondary School, Nkoma Secondary School, Hamudani Girls High School. Era yawadde ennyanjula ku miramwa ng’enfuga, ekikula ky’abantu, okuteekateeka pulojekiti, obwavu, ne siriimu. [3][5]

Omulimu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’amasannyalaze

[kyusa | kolera mu edit source]

Kanaabi yeegatta ku lukiiko olufuzi olwa Electricity Regulatory Authority (ERA) mu 2013 nga mmemba era n’alondebwa okubeera Ssentebe mu mwezi ogw'okkumi nogumu mu 2020, n’adda mu bigere bya Richard Santo Apire. Mu kiseera kye, ERA yagaziya obusobozi bw’okukola amasannyalaze, n’enkola oba okuzuula ensibuko z’amasannyalaze ez’enjawulo omuli amazzi, enjuba, n’ebbugumu, n’okulongoosa enkola y’amasannyalaze. Ekitongole kino era kyategeezezza nti okukula mu nkolagana ne bakasitoma, okukendeera mu kufiirwa mu kugaba, n’okukuuma ebipimo bya waggulu mu kwekenneenya kwa African Development Bank. [6]

Mu mwezi gwomukaaga mu mwaka gwa 2025, Kanaabi yalekulira ERA n’avuganya ku kifo ky’omubaka wa Palamenti omukyala ow’e Mbale mu National Resistance Movement (NRM). [7] Mu mwezi ogwomunaana mu mwaka gwa 2025 yalangirira nti agenda kwesimbawo ku bwannamunigina oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kalulu ka National Resistance Movement primaries, ng'alaga obutali bwenkanya mu nkola eno. [8]

Kanaabi ye mukyala asoose okukubiriza ERA. [4] Atumbudde mu lujjudde abakyala okwetaba mu by’amasannyalaze, okubuulirira abavubuka abakugu, n’obwerufu mu mirimu gya gavumenti. [4]

Obulamu bw’omuntu ku bubwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kanaabi mubufumbo ne Hatibu Kanabi omusuubuzi e Mbaale. [2]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Power users to pay back Shs430b Umeme buyout". Monitor. 2025-04-04. Retrieved 2025-09-24.
  2. 1 2 3 4 5 6 "Struggle for Wapa’s seat in full gear". New Vision. Retrieved 2025-09-24.
  3. 1 2 3 "Dr. Sarah Wasagali Kanaabi – Electricity Regulatory Authority". www.era.go.ug. Retrieved 2025-09-24.
  4. 1 2 3 "- Empower Her". 2025-03-12. Retrieved 2025-09-24.
  5. Uganda (IUIU), Islamic University in. "IUIU Students Encouraged to Build Networks". www.iuiu.ac.ug. Retrieved 2025-09-24.
  6. https://newvision-media.s3.amazonaws.com/cms/1e62b954-e540-4ed1-8fb6-ed026f81a8e8.pdf
  7. "After 10 Years of Leadership, ERA Boss Kanaabi Resigns to Battle for Mbale Woman MP Seat on NRM Ticket". mulengeranews.com. 2025-06-14. Retrieved 2025-09-24.
  8. "Dr. Sarah Wasagali Kanaabi running as an independent in Mbale City race". The Independent Uganda. 2025-08-19. Retrieved 2025-09-24.