Sebastian Kyalwazi
Sebastian Kakule Kyalwazi, (Yazaalibwa nga 20 Ogwekkumi 1920 - 25 Ogwoluberyeberye 1992), yali musawo omuwabuzi alongoosa Munnayuganda era nga yakola nga Pulofeesa era akulira eby'okulongoosa mu Banguliro ly'Abasawo erya Yunivasite y'e Makerere ate mu kiseera kye kimu nga omulongoosa omuwabuzi omukugu e Mulago National Referral Hospital okuva ku ntandikwa y'emyaka gya 1970 okutuusa lwe yafa ku ntandikwa y'emyaka gya 1990. Kigambibwa nti ye Mufirika enzaalwa eyasooka okutuuka ku bisaanyizo by'okulongoosa mu Buvanjuba n'amasekkati ga Afirika.[1][2]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kyalwazi yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Masaka, mu bitundu bya Buganda mu Uganda, gye yakulira ng’Omukatoliki.[1]
Oluvannyuma lw’okusoma pulayimale mu Kampala ne Masaka, yasomera mu St. Mary’s College Kisubi, gye yafunira satifikeeti ze zombi eza GCE Ordinary Level ne GCE Advanced Level.[1][2]
Mu 1948, yatikkirwa mu Yunivasite y’e Makerere (mu kiseera ekyo yali kitundu ku Yunivasite y'e London ), n’afuna diguli esooka eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery (MBChB). Oluvannyuma yakola diguli eyookubiri mu Edinburgh, Scotland, n’atikkirwa nga Fellow wa Royal College of Surgeons of Edinburgh, nga ye Mufirika eyasooka mu Buvanjuba ne mumasekkati ga Afirika okutuuka ku bisaanyizo by’okulongoosa.[1][2] Mu 1968, yamala ekiseera ng’asoma mu Masaryk Memorial Cancer Institute (Czechoslovakia Cancer Institute) ku sikaala y’ekitongole ky'Ebyobulamu eky'Ensi yonna ki World Health Organization.[2]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Kyalwazi yalondebwa okuba omusomesa mu by’okulongoosa mu Makerere University Medical School mu 1968. Yalinnya amadaala n’afuuka Pulofeesa era akulira Dipaatimenti y’okulongoosa ku bbanguliro ly’obusawo n’eddwaliro lya yunivasity omusomesebwa, Omufirika eyasooka okutuuka ku ddaala eryo.[1][2]
Yafaayo okunoonyereza n’okulongoosa endwadde za kookolo ow'amanyi eziwerako, omuli hepatocellular carcinoma, penile cancer, Kaposi’s sarcoma ne cervical cancer n’endala. Mu kiseera eddwaliro lya Uganda Cancer Institute (UCI) we yatandikibwawo mu 1967, Kyalwazi ye yali akulembeddemu okuteesa ku ludda lwa Uganda era asiimibwa olw’oyambako UCI okutandikawo.[3] Mu 1968, yalondebwa nga pulezidenti w'ekibiina ekigatta abasawo abalongoosa mu buvanjuba bwa Afirika, Omufirika eyasooka okuweereza mu kifo ekyo.[2]
Ebirala by’olina okumanya
[kyusa | kolera mu edit source]Yalondebwa okuba omusawo akulembera abalongoosa ku ttiimu y’abasawo eyalondebwa okujjanjaba Paapa Paul VI ku bugenyi bwa Paapa mu Uganda mu 1969, singa waaliwo obwetaavu.[1] Kyalwazi yaweereza nga pulezidenti wa ekibiina kya Rotary ekye Kampala ku nkomerero y'emyaka gya 1970.[1]
Engule n'Awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]Eklezia Katolika yawa Kyalwazi ekirabo ky’Omutukuvu Gregory Omukulu, ng’esiima obuweereza bwe eri Eklezia n’eri abantu.[1] Ekibiina ekigatta abasawo abalongoosa mu Uganda kyatondawo omusomo ogw’okujjukira buli mwaka okujjukira omulimu Kyalwazi gwe yakola mu by’obulamu n’okutumbula embeera z’abantu mu Uganda.[1][3]
Obulamu bwe ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Yafa nga 25 Ogwoluberyeberye 1992 mu ddwaaliro e London kookolo w’olubuto ku myaka 71. Gavumenti ya Uganda yamuwa ekitiibwa ky'okuziikibwa nga kukulembeddwa Gavumenti.[1][2]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 Charles Olweny (17 April 2017). "Dr. Kyalwazi Memorial Lecture: About Prof. Sebastian Kakule Kyalwazi". Association of Surgeons of Uganda. Kampala, Uganda. Retrieved 8 July 2023.
- 1 2 3 4 5 6 7 Christopher Bendana (19 May 2012). "Prof. Sebastian Kyalwazi : First Ugandan surgeon". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 8 July 2023.
- 1 2 Juliet Waiswa (1 April 2023). "Uganda Needs People Like Cancer Institute Founder Prof. Kyalwazi". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 10 July 2023.