Semayanja ne Waluyanja(Oceons and Seas)


Gakuweebwa Muwanga ! Semayanja ne Waluyanja (Oceans and Seas)
“Waluyanja”(sea) kiba kikko ekyagaagavu ekirimu amazzi ag’olunnyo, nga kino kiba kitundu ku “semayanja”(ocean) , n’eno nga ebaamu amazzi ga lunnyo(salt water).
Ku nsi tewali waluyanja zisangibwa munda ku lukalu kubanga ziba ne weziwaguliza okuyiwa oba okwegatta ku semayanja. Semayanja (oceans) zo nnene ddala nga zeetoloola semazinga (continents) zonna ku Nsi. Waluyanja gaba matabi ga seruyanja.
Ku nkulungo y'Ensi , Semayanja zirimu:
(i) Seruyanja eya Buyindi (Indian Ocean) (ii) Seruyanja Enteefu(Pacific ocean) (iii) Seruyanja Entabamazinga(Atlantic ocean) (Iv) Seruyanja eya Bukiikakkono(Arctic Ocean) (v) Seruyanja eya Bukiikaddyo)Antarctic ocean)
Waluyanja(Oceans) zirimu:
(a)Waluyanja emmyufu(Red Sea) (b)Waluyanja Omugumba(Dead Sea) (c)Waluyanja w'Obukiikaddyo bwa Buchina(South China Sea)
Bivudde eri Muwanga Charles