Sembuya Christopher Columbus

Bisangiddwa ku Wikipedia


Christopher Columbus Sembuya, CC, (yazaalibwa 1937 - yafa 11 Gusooka 2022), munnamakolero, musuubuzi, mulimi, amanyindwa ennyo mu nsi naddala mu Yuganda.

Sembuya Christopher Columbus

Yasinga ku manyikibwa olwa omulimu omunene gwe yakola mu kutandika n’okuddukanya kkampuni eziyitibwa Sembule.

Bino bye bimu ku bitongole ebinene oba kkampuni ebya sooka okuteekebwawo abaddugavu mu Yuganda.


Emyaka Egyasooka[kyusa | edit source]

Sembuya yazaalibwa mu 1937 e Nkokonjeru mu Kyaggwe. Kitaawe, Omugenzi Yafesi Magulu yali mulimi wa Kooko era ffaamu ye ye yali esinga obunene mu Afirika y'ebuvanjuba. Maamawe yali Omugenzi Rachel Magulu. Sembuya yasomera Kako Primary School ne St. Leo's College, Kyegobe e Fort Portal. Sembuya yatandikira okutunda ebikozesebwa mu kuzimba mu dduuka (mu Ndeeba) lya Maamawe omugenzi Rachel. Era yeegatibwako mugandawe Omugenzi Michael Mayanja n'oluvannyuma Mugandawe Omugenzi Henry Buwule. Oluvannyuma Sembuya yakolerako mu Gavumenti ya Yuganda mu bifo eby’enjawulo nga Disitulikiti kamisona (DC) e Madi n'e Karamoja (mu myaka gy'enkaaga, 1960s) ne mu minisitule y’ebyenfuna nga Senior Finance Officer. Bwe yava mu gavumenti, Sembuya yeegatta ku mugandawe Buwule ne baddukanya edduuka lya Ndeeba Hardware Stores mu Ndeeba, Lubaga, Kampala.

Famire[kyusa | edit source]

Omugenzi yali ava mu luggya lwa Magulu, mu lunyiriri lwa Wamala, Omutuba gwa Kamaala, mu ssiga lya Kivuba era yali yeddira Mmamba ekulemberwa Ggabunga.

Yafumbirwa Omugenzi Sembuya Nalumu Mary nga 12 ogwekkumineebiri 1964 (12/12/1964) ku lutikko e Namirembe, Kyaddondo. Baazaala abaana bataano okuli Rachel Nankya Lubega, Francis Sembuya, Jackie Nansubuga, Ronald Kizito, Rebecca Nalumu Nnawoova Wamono.

Nga 8 omwezi gw'omukaaga omwaka 1979, mukyalawe Mary, yattibwa abaserikale ba Tanzania abaali bazze okubba emmotoka ye n'essente.

Abaana abalala kwe kuli Victoria Sembuya, Diana Namayanja, Dennis Sembuya, Daudi Sembuya, Michael Nsubuga, Stephen Sembuya, Priscilla Namubiru ne Barbara Namande.

Ddiini[kyusa | edit source]

Sembuya yali mukulisitaayo.

Sembule[kyusa | edit source]

Sembuya ne mugandawe Henry Buwule batandika kkampuni eya Kkalwe, Sembule Steel Mills Limited. Baatandikira ekkolero lino mu Ggalagi y'enju yaabwe era nga balina masiini enkadde bbiri ezikola emisumaali. Oluvannyuma baagulayo ebyuma by'emisumaali ebikadde okuva mu kkampuni ya Wafios. Eno Sembule Steel Mills Limited ye yakula n'evaamu amakolero amalala, bbanka ne Kkampuni ya yinsuwa. Sembule ye Kkampuni y'abaddugavu eyasooka okukola amabaati ga "color", obutimba bw'embalama, n'ebirala. Sembuya ne Buwule be baddugavu abasooka okukola bbanka y'obwananyini mu Yuganda, Ttivi sitenseni (CTV) ey'obwananyini, Kkampuni ey'obwananyini eya Yinsuwa, Leediyo, Essimu z'amapeesa, ettaala z'amasannyalaze "balubu" ne Ttivi za "color".

Emidaali[kyusa | edit source]

Mu mwaka 2020, Sembuya yaweebwa omudaali gw'obuzira (Golden Jubilee). Omudaali gw'amukwasibwa omukulembeze wa Yuganda, Yoweri Museveni.

Obugabi[kyusa | edit source]

Sembuya yalina omutima omugabi era yakola kinene mu kukulaakulanya ekibuga Nkokonjeru n'ekyalo Kikwayi. Yaweererera n'okusomesa abantu bangi nnyo.

Omwoyo gw'eggwanga[kyusa | edit source]

Mu myaka gy'ekinaana, Sembuya yawagira n'assa n'ensimbi mu bayeekera ba NRM ng'ayita mu mugenzi Samson Kisekka.

Okufa[kyusa | edit source]

Omugenzi Sembuya yafa nga 11 Gusooka 2022 mu ddwaliro lya Kampala Hospital e Kololo. Yazikibwa mu kijja kya kitaawe Magulu ku kyalo Kikwayi mu disitulikiti ye Buikwe.