Seppulingi (Spring)
Endabika

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Seppulingi (springs)
Ekintu eky’enkizo mu kutereka amasoboza amatereke ye seppulingi.
Ebintu bingi, okuva ku masaawa okutuuka ku butida bikozesa seppulingi. Seppulingi zirimu ezo ez’amakata (coil) n’ey'oluuma oba olubaati olwewetamu. Omugaso gwa seppulingi ogusooka kwe kuzza ekintu mu kifo mwe kibadde.
Seppulingi zikozesebwa okupima empalirizo, nga zino ze seppulingi eziba mu minzaani. Omugaso omulala kwe kutereka amasoboza.
Seppulingi zikola emigaso egyo gyonna buli kiseera kyokka waliwo ennyanguyirizi ezikolebwa okweyambisa seppulingi mu ngeri ez’enjawulo.