Shaban Ramadhan Mubaje, omusajja omulala
Sheikh Shaban Ramadhan Mubaje, ye Mufti wa Uganda wansi wa Uganda Muslim Supreme Council ekifo ky’abaddeko okuva mu 2000. Mubaje yazaalibwa mu 1955 e Buyobo mu Budadiri mu Disitulikiti y’e Mbale mu Uganda.[1]
Yalondebwa ku bwa Grand Mufti nga 11,Ogw'ekkumunebiri 2000, n'essira ku bumu n’enkulaakulana mu basiraamu.[2]
Obulamu obwasooka n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Mubaje yazaalibwa omugenzi Hajji Ramadhan Mubaje ne Hajjat Hadijah Naake. Yatandika okusoma kwe mu Buyobo Primary School neyeyongerayo n’okusoma eby’eddiini y’Obusiraamu mu Kyampisi Muslim School okufuna ebbaluwa ye esooka ne Bugembe Islamic Institute e Jinja okufuna ebbaluwa ye ey'okubiri.[3]
Yagenda mu maaso n’olugendo lwe olw’okusoma bweyafuna dipulooma mu by’obufirosofi okuva mu Islamic University In Uganda, Mbale. Oluvannyuma yasoma diguli ey'okubiri mu by’eddiini okuva mu yunivasite y’e Makerere n’oluvannyuma n’asomesa mu yunivasite ya Islamic University In Uganda eby'ediini.[4]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannalondebwa ku bwa Mufti, Mubaje yaweereza nga Khadi wa Disitulikiti y’e Mbale, gye yamanyibwa enyo olw'obukulembeze n'amaanyi munkulaakulanya y'ebitundu.[5] Nga 11, Ogw'ekkuminebiri 2000, yalondebwa nga Mufti wa Uganda, ekifo ky’abaddeko okuva olwo, ng’awagira obumu mu Basiraamu ba Uganda n’okutumbula enkolagana y’eggwanga n’ensi yonna.[6][7]
Nga Mufti, Mubaje abadde yeenyigira nnyo mu nteekateeka z’enzikiriza ez’enjawulo era nga yayamba nnyo mu kutondawo olukiiko lw’amadiini mu Uganda (IRCU) n’ekibiina kya Religions for Peace - African Council of Religious Leaders. Ebibiina bino bikoze kinene mu kutumbula emirembe mu diini n'okulaga ensonga ezinyigiriza bannayuganda.[8]
Obuweereza n'eby'akoze
[kyusa | kolera mu edit source]Mubaje mu kisanja kye, alabise ng’alondoola enteekateeka ez’enjawulo ezigendereddwamu okutumbula embeera z’Abasiraamu mu Uganda.[9][10] Yakulembera okutandikawo amatendekero g’ebyenjigiriza, awagira enteekateeka z’okutumbula ebyenfuna, era akubiriza abavubuka okwenyigira mu mirimu gy’enkulaakulana.[11][12]
Era abadde doboozi okusaawo emirembe n’okutabagana,oluvannyuma lw'okuyitanga okwogerazaganya wakati w’ebibiina by’eddiini n’eby'obufuzi eby’enjawulo.[13][14][15] Obukulembeze bwe bulabye kaweefube w’okuzza UMSC ku mulembe, okutereeza eby'obukulembeze, n’okutumbula okukkiriza ebitongole by’Obusiraamu mu nkola y’amateeka ga Uganda.[16]
Obukuubagana
[kyusa | kolera mu edit source]Ekisanja kya Mubaje temubuzeemu kusomoozebwa.[17] Afunye okuwakanyizibwa okungi okuva mu biwayo ebiri mu basiraamu, omuli ebigambibwa nga byekuusa ku kubulaankanya kw'ensimbi ezimu, emivuyo gy'ettaka awamu n'okulwa mu ofiisi mu eya Uganda Muslim Supreme Council [18][19] Mu 2008, yali wakati mu nkaayana z’amateeka kyokka oluvannyuma nebamwejjeereza. Wadde nga waliwo obukuubagano buno, asigadde nga ye mukulu mu bukulembeze bw’eddiini mu Uganda.[20]
Mu Ogw'ekkumin'ebiri 2023, abamu ku bammemba ba Uganda Muslim Supreme Council baagezaako okumugoba mu ofiisi, nga bagamba nti yeeraliikirira enfuga.[21] Wabula asigadde mu kifo kino nga Mufti, era ensonga eno ekyali nsonga ematiza lukiiko. [22][23]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Muslim_Supreme_Council
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Muslim_Supreme_Council
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Muslim_Supreme_Council
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Islamic_University_in_Uganda