Shafiq Arain
Endabika
Shafiq Arain yali Munnansi wa Buyindi, munnabyabufuzi era Omukungu wa gavumenti eyo nga ye yali Minisita w’ensonga z’omukago gwa East Africa. Yali mufumbo n’Omulamuzi Omugoowa Leana Arain né(e) Godinho. Mu 1967, yaweereza ng'Omubaka wa Uganda mu lukiiko lw'amawanga amagatte. Oluvannyuma mu 1980, yalondebwa ku bwa Kaminsona wa Uganda e London.
Obulamu obuto n’emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Arain yazaalibwa mu 1933 mu maka ge ag'e Nsambya mu Kampala
Mu Gwokutaano 1962, Arain yafuuka Omubaka wa Palamenti ya Uganda.
Mu 1970, oluvannyuma lw’okuwamba gavumenti, yagenda mu buwanganguse. Oluvanyuma lw’okuwangulwa kw’obufuzi bwa nnakyemalira obwa Idi Amin, Shafiq yafuuka Kaminsona wa Uganda mu Bungereza.
Yafa nga 20 Ogwokusatu 2005 mu kibuga Marbella ekya Spain .