Shafiq Zia
Begum Shafiq Zia ( née Jahan ; yazaalibwa nga 21 Ogwomwenda 1931 – 5 ogw'oluberyerye 1996) yali muntu wa Pakistan yaweereza nga First Lady wa Pakistan okuva mu 1977 okutuusa bba lwe yafa mu kabenje k'ennyonyi nga 17 ogwomunana 1988.
Obuvo bwe n’amaka
[kyusa | kolera mu edit source]Begum Zia yazaalibwa mu 1931 mu Kampala mu Uganda, mu maka agava mu Punjabi ; yagenda e Pakistan oluvannyuma lw'okugabanyaamu Buyindi, era n'afumbirwa General Zia-ul-Haq nga 10 ogwomunana 1950 mu Lahore.[1][2] Shafiq yali muto ku bba emyaka munaana era ng’alina oluganda ku ludda lwe olwa maama. Kitaawe omusawo ng’abeera mu Kampala era ng’akolera mu Kampala, mu kiseera ekyo yali awummuddemu era yali mu Pakistan nasobora okutegeka obufumbo bwa bawala be bombi.[1]
Oluvannyuma lw’okuwamba gavumenti mu 1977 ne bba be okutwala obwapulezidenti mu 1978, Zia yafuuka first lady . Mu myaka kkumi egyaddirira, yawerekera bba be ku ngendo eziwerako emitala w’amayanja, nga mw’otwalidde n’okukyala mu Amerika mu 1982.[3]
Nga mukyala wa Pulezidenti
[kyusa | kolera mu edit source]Bwe baakwata obukulembeze mu 1978, famire ya Zia yasigala ng’ebeera mu nnyumba y’amagye e Rawalpindi, kyokka ne bategeka emikolo emitongole n’ekyeggulo ky’eggwanga ku Aiwan-i-Sadr eyali yaakaggwa. Omulimu gwa Begum Zia nga First Lady wa Pakistan gwali gussa essira ku nteekateeka z’awaka ezikwata ku bulamu bw’abalema n’ebizibu by’okukozesa ebiragalalagala n’okutulugunyizibwa mu bavubuka. Mu 1981, gavumenti ya Zia yayisa etteeka eriyitibwa Disabled Persons’ (Employment and Rehabilitation) Ordinance, eryatondawo enkiiko z’eggwanga n’amasaza okukola enkola y’emirimu n’obulungi bw’abo abaliko obulemu, n’etandikawo ebifo eby’okutendekebwamu, okussaawo emiwendo gy’emirimu era n’esaba wabeewo ensawo ya federo ey’okugaba ensimbi z’obuyambi ne sikaala eri abaliko obulemu.[4] Omwana wa Begum ne Pulezidenti Zia yennyini, muwala we omuto Zain, yazaalibwa n’obulemu mu kwogera n’okuwulira.[5]
Mu 1985, Begum Zia yakiikirira Pakistan mu lukungaana lwa Nancy Reagan olwa First Ladies Conference mu kukozesa ebiragalalagala wamu ne first ladies abalala kkumi na musanvu.[6] nga ayogerako mu lukungaana luno, yategeezezza nti gavumenti ya Pakistan yali etaddewo ebifo abiri mu mukaaga eby’okuddaabiriza abadkozesa ebiragalalagala.[7] Begum Zia yayitibwa mu kibiina ky’Amawanga Amagatte mu mwaka gwe gumu, mu lukiiko olw’okubiri olwetabiddwamu First Ladies ab’amawanga amakumi asatu, n’asaba okukuba olukung’aana mu nsi ekyakula enkozesa ye ebiragalalagala gyeyinza okusomesebwa mu mbeera y’obwavu.[8] Bwe yakomawo e Pakistan, yawandiisa enkolagana y’ebibiina ebitali bya gavumenti mu kukola ku kizibu ky’okukozesa ebiragalalagala mu maka, era n’atongoza olukung’aana lw’eggwanga lyonna olw’ebibiina by’obwannakyewa mu 1986 ku kuziyiza okukozesa ebiragalalagala mu Karachi.[7][9] Omulimu gwa Begum Zia gwalagibwa mu firimu y'ekitongole ky'amawulire mu Amerika, wamu n'eya Marly Sarney owa Brazil, Nnabagereka Sirikit owa Thailand, Nnabagereka Noor owa Jordan, ne Nnabagereka Silvia owa Sweden.[10]
Begum Zia yaliwo mu lutuula lw’okutongoza olukiiko lwa SAARC olwasoose mu kibuga Dhaka ekya Bangladesh ng’ali wamu ne bakyala b’abakulembeze b’amawanga ga SAARC abalala.[11] Mu 1987, yawerekera Pulezidenti Zia e Jaipur mu kukyala kwe okumanyiddwa ennyo mu by'obubaka bwa cricket, gye yasisinkanira Gayatri Devi.[12]
Omulimu gwa Begum Zia ogw’obuzirakisa n’okuyamba abantu gwasiimibwa Aga Khan IV mu 1985, eyatongoza eddwaliro lya Aga Khan University Hospital, yawa abayizi abasoma obusawo sikaala n’ensimbi okuwagira ebyobulamu eri abaavu mu ddwaaliro lino mu linnya lya Begum Zia.[13] Mu 1987, Kabaka Hussein owa Jordan yamukwasa Supreme Order of the Renaissance.[14]
Obulamu bwe oluvannyuma n'okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okufa kwa Zia-ul-Haq mu 1988, Begum Zia yatandikawo ekitongole kya Zia-ul-Haq Foundation. Mu 1989, akasiimo ke n’enkizo ze nga mukyala w’eyali pulezidenti byasazibwamu gavumenti ya Benazir Bhutto.[15] Yafa nga 5 mu gw'oluberyerye 1996 mu ddwaaliro lya Cromwell e London era alese abaana basatu ab'obuwala, Rubina, Quratulain, ne Zain, n'abaana babiri ab'obulenzi, Ijaz ne Anwar.[16]
Ebitiibwa by’amawanga amalala
[kyusa | kolera mu edit source]Ebituukiriziddwa amannya.
[kyusa | kolera mu edit source]- Dendrobium orchid Shafiq Zia-ul-Haq, Ensuku z’ebimera e Singapore (1983)
- Sikolashipi ya Begum Shafiq Zia-ul-Haq, Yunivasite ya Aga Khan (1985)
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Parveen Shaukat Ali (1997). Politics of conviction: the life and times of Muhammad Zia-ul-Haq. The London Centre for Pakistan Studies. p. 9. ISBN 978-1-901899-03-0.
Zia-ul-Haq became engaged to his cousin (the daughter of his mother's sister), who was eight years younger than he was. Begum Shafiq Zia-ul-Haq was born in 1932 in Uganda, where her father lived. According to the traditional religious custom, it was an arranged marriage and was solemnized on August 10, 1950, in Model Town, Lahore. Shafiq's father had been staying there on a leave of absence from his job in Uganda, so that he could marry his two daughters in his own country.
- ↑ "Daily Times - Leading News Resource of Pakistan". 2012-10-20. Archived from the original on 2012-10-20. Retrieved 2018-08-20.
- ↑ "Ronald Reagan: Toasts of President Reagan and President Mobammad Zia-ul-Haq of Pakistan at the State Dinner". Presidency.ucsb.edu. Retrieved 2018-08-20.
- ↑ "Natlex Home" (PDF). natlex.ilo.org. Template:Dead link Template:Dead link
- ↑ Upadhyay, Karishma (June 25, 2004). "The general's daughter". The Times of India (in Lungereza). Retrieved 2021-04-13.
- ↑ Judy Klemesrud (25 April 1985). "First ladies confer on drug abuse". The New York Times (in Lungereza). Retrieved 2018-08-20.
- 1 2 "Pakistan Affairs". 1985.
- ↑ Donnie Radcliffe (1985-10-22). "Surprised For Nancy Reagan". The Washington Post. Washington, D.C. ISSN 0190-8286. OCLC 1330888409.
- ↑ "Compilation of Narcotics Laws, Treaties, and Executive Documents: Report". 1986.
- ↑ No to Drugs. Series: Video Tape Programs and Worldnet Broadcasts, 1973 -. 1987.
- ↑ "IDSA News Review on South Asia/Indian Ocean". 1986.
- ↑ Template:Cite magazineTemplate:Cite magazine
- ↑ "Inaugration Speech 1985, Pakistan | The Aga Khan University". www.aku.edu (in American English). Retrieved 2021-04-13.
- ↑ Jordan Times, 1987, Jordan, English (in English).
{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ Crossette, Barbara (9 August 1990). "Son of Former Military Ruler Goes Into Politics in Pakistan". The New York Times (in Lungereza). Retrieved 2018-08-20.
- ↑ "Jang Group Online". 2011-11-19. Archived from the original on 2011-11-19. Retrieved 2018-08-20.