Jump to content

Shaka Ssali

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Shaka Ssali (Yazaalibwa mu Gwokuna 9, 1953 - n'afa nga 27, 2025), era yamanyibwa nnyo nga "Kabale Kid", yali munnamawulire Omumerika eyazaalibwa mu Uganda eyali amanyiddwa olw'omulimu gwe ng'omukubiriza wa pulogulamu ya Voice of America's (VOA) "Straight Talk Africa". Eno yakubiriza okumala emyaka egisukka mu abiri. Omulimu gwe gwayamba nnyo okuzimba bannamawulire mu Afirika, n'okutumbula emboozi ezikwata ku demokulasiya, obukulembeze, n'enkulaakulana okwetooloola ssemazinga.[1]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssali yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kabale mu bugwanjuba bwa Uganda. Okusoma yakutandikira mu Kikungiri Primary School oluvannyuma ne yeegatta ku Kigezi High School. Olugendo lwe olw'ebyokusoma lwayita mu mbeera ezaamuleetera okuleka essomero lya siniya mu myaka gya 1960.[2][3] Ng'akyali muto, yeegatta ku magye ga Uganda ng'omuserikale wa parachute.

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :2
  3. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :5