Shakira
Endabika

Shakira Isabel Mebarak Ripoll, amanyikiddwa olw'obukugu bwe nga Shakira, (yazaalibwa nga 2 Gwokubiri 1977) Munnakolombiya omuyimbi w'ennyimba za 'Latin pop' ne 'Latin rock', muwandiisi w'anyimba era omusuubuzi. Ng'asinga kumannyikwa olw'oluyimba lwe olwasinga okukwata abantu omubabiro lwebayita "Whenever, Wherever", "Hips Don't Lie" ne "Waka Waka".[1] Alubaamu ye eyasooka eya Magia yafulumizibwa mu 1991 ne alubaamu ye ey'ensi yonna eyasooka eya Pies Descalzos y'afulumizibwa mu 1995.[2]