Jump to content

Sharifu Kiragga Tusuubira

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Sharifu Kiragga Tusuubira (yazaalibwa 4 January 1991) mulwanirizi wa sickle cell mu Uganda.[1] Asinga kumanyibwa olw’omulimu gwe yakola mu kutandikawo okukebera obulwadde obuyitibwa sickle cell mu kitundu. Enteekateeka esobozesa abantu okwenyigira mu kukebera sickle cell ne bafuna ebyavaamu amangu ddala okuva mu nsalo z’ebyalo byabwe.[2][1][3]

Ebikwata ku bulamu bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Sharifu yazaalibwa nga 4 gwoluberyerye 1991, mu Kampala mu maka ga Ashadu Zizinga Magatto ( d. 2020), omulambuzi w’ebyobulamu ne Ritah Bazanya, omuserikale wa poliisi. Sharifu muzzukulu wa Taibu Magatto, Katambala (Chief) eyasooka owa Butambala, essaza lyokka eryaweebwa abasiraamu ba Uganda Gavumenti ya Bungereza eya Imperial mu ndagaano ya Buganda eya 1900 .

Sharifu yafuna diguli ye eyasooka mu tekinologiya wa biomedical laboratory okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 2012. Oluvannyuma yagenda mu maaso n’afuna diguli eyookubiri mu biomedical laboratory science and management okuva mu yunivasite y’emu. Mu 2017, yasomera mu ttendekero ly’obukulembeze bw’abantu mu Kansas State University.[4][5] Yali mukulembeze owo kuntiko eyasooka mu kitongole kya Uganda Sickle Cell Rescue Foundation (USCRF) ekitongole ekitakola magoba wabula ekikola okutumbula okumanyisa abantu, n’okulwanyisa eddwadde ya nalubiri mu Uganda (ekifo kye yalimu okutuusa mu ogwomusavu 2019)[6][3][7] Mu 2024, yatikkirwa mu yunivasite y'e Kansas.[8][9][10][11] [12] Ye mmemba ku lukiiko olufuzi olw'ekitongole ki Uriel Owens Sickle Cell Disease Association mu Midwest.[13][14]

Okitongole ky'eddwadde ya nalubiri

[kyusa | kolera mu edit source]

Sharifu Kiragga Tusuubira wa maanyi nnyo era omulwanirizi w’eddembe ly’abalwadde ba Nalubiri n’abalema mu Uganda. Okubunyisa amawulire kwe kwatandika ng’ali ku yunivasite y’e Makerere, oluvannyuma lw’akaseera k’okumenya omutima ku buntu omukyala gwe yali ayagala ennyo mwe yamugaana olw’obulwadde bwa nalubiri. Kino kyakubiriza Sharifu okwenyigira mu nsonga eno n’okukyusa embeera eriwo ku ngeri sickle cell gye yatunuulirwamu.[15][2]

Sharifu abadde awanirira abantu abalina obulwadde bwa nalubiri okuba n’eddembe ly’okulowooza okwetongodde, okwetaba mu mirimu gy’omukitundu oba mu kitongole n’okunyumirwa enkizo ze zimu ng’abantu ‘aba bulijjo mu Uganda.[16][17][18][19][20][21]

Nga abeera ne ddwadde ya nalubiri, Sharifu awa emboozi esooka okuyita mu by’ayitamu mu bulamu okukola ku nsonga z’okulabirira, enneeyisa, okuvumwavumwa, n’okusosolwa mu bantu abalina obulwadde bwannalubiri mu bitundu eby’enjawulo. Sharifu yatuuka ku bantu abasoba mu 60,150, n’atandikawo emikutu gy’obuyambi 18 n’okuwandiisa 20,153 okwetoloola Uganda.[14]

Yali ku ttiimu eyali emabega w’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’okulwanirira eddwade ya nalubiri mu Uganda(2017-2019), kaweefube ono agenderera okuyingiza abantu mu lutalo lw’okulwanirira eddwade ya nalubiri ate nga basonda ssente okuwagira enteekateeka z'eddwade eno.[22]

Mu kitundu kyonna, Sharifu yakola kinene mu okulwanirira ekitongole ky'eddwadde ya nalubiri.[23][24] Sharifu yayamba nnyo mu kutongoza omukago gwa East Africa Sickle Cell Alliance. Ono y’omu ku baatandikawo ekibiina kya Pan African Sickle Cell Federation International, ekikola okutumbula enkola y’okubunyisa amawulire agakwata ku sickle cell okwetoloola Afrika yonna. [25] Mu 2017, Sharifu yalondebwa nga Mandela Washington Fellow, ng'omu ku kaweefube w'abakulembeze b'abavubuka mu Afrika wansi w'ekitongole ky'ensonga z'ebweru ekya Amerika.[26]

sharifu yatandika omulimu mu 2009 mu Makerere Yunivasite kusomero lya Veterinary Medicine Animal Resource and Biosecurity gye yakolera ng’omuyambi w’okunoonyereza okutuusa mu 2010. Oluvannyuma n’agenda n’akola nga Biomedical laboratory technologist mu yunivasite n’ekitongole kye kimu okuva mu 2010 okutuuka mu 2012.

Mu 2012, yakolera mu Central Public health laboratory, Minisitule y’ebyobulamu. Mu 2013, yakwata omulimu gwa omukulu owo kuntiko mu kitongole kya Uganda Sickle Cell Rescue Foundation, Kampala. Mu mwaka gwe gumu, era n’atwala omulimu gw’omuyambi wa Pulofeesa mu Institute of Allied Health Sciences ku yunivasite ya Clarke International mu Kampala.[27][28]

Sharifu ye yasooka okufuna engule ya Clarke International University nga omuntu asinga okulambula abantu mukitundu mu mwaka gwa 2018. Mu 2020, Sharifu yafuna engule ya International Sickle Cell Advocate eyo mwaka (2020) mu mpaka za Sickle Cell Advocates Awards ezo mwaka, ez'omulundi ogw’omusanvu nga zaategekebwa Sickle Cell 101.[29][30][2] yasomebwa mu bakulembeze 100 ebasooka abasinga ku nsonga eno mu 2021 okuva Global Thinkers Forum.[31] yasunsulwa okuvuganya mu mpaka ez'engule ya Young Alum asinga mu mpaka za Alumni Impact Awards ezaatongozebwa ekitongole kya US Mission Uganda. [32]

Ebijjuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Uganda young leaders-US Embassy, Kampala. "Speaker of Parliament, Uganda and US Ambassador to Uganda flag off, Mandela Fellows" 15 June 2017,
  2. 1 2 3 "Your mail: Well done, Sharifu Tusuubira!". The Observer - Uganda (in British English). 21 July 2020. Retrieved 2021-03-02.
  3. 1 2 Young African Leaders Initiative "YALI Voices Podcast: Sharifu Tusuubira champions the cause of those living with sickle cell disease" December 2018,
  4. , Staley School of Leadership Studies "Staley School of Leadership Studies to host Mandela Washington Fellows" 13 June 2017,
  5. Mandela Washington Fellows: 2017 Civic Leadership Institute 12 October 2017,
  6. The International Research & Exchanges Board "Sharifu Kiragga Tusuubira" March 2017
  7. Global Thinkers Forum "Leaders of Tomorrow - Sharifu Tusuubira" October 2018
  8. "Jayhawk Impact Awards". Student Involvement & Leadership Center (in Lungereza). 2020-03-06. Retrieved 2021-03-01.
  9. "Sharifu Kiragga Tusuubira". Department of Ecology & Evolutionary Biology (in Lungereza). 2019-04-29. Archived from the original on 2020-05-30. Retrieved 2020-06-23.
  10. Peterson | @lucyepeterson, Nicole Asbury | @NicoleAsbury & Lucy (14 July 2020). "ICE rescinds policy mandating international students take in-person instruction". The University Daily Kansan (in Lungereza). Retrieved 2021-03-01.
  11. "2019-20 Leader Quest Profiles". International Support Services (in Lungereza). 2020-02-05. Archived from the original on 2021-03-03. Retrieved 2021-03-03.
  12. Conde | @Chris_Conde_, Lucy Peterson | @lucyepeterson & Chris (27 October 2020). "An already vulnerable group: Graduate students navigate fresh anxiety due to COVID-19 pandemic". The University Daily Kansan (in Lungereza). Retrieved 2021-03-01.
  13. "The Board". sicklecellmidwest (in Lungereza). Archived from the original on 2020-09-27. Retrieved 2020-09-14.
  14. 1 2 "Episode 56 Sickle Cell Disease: Invisible Illness, Enduring Strength – This Podcast Will Kill You" (in American English). 18 August 2020. Retrieved 2021-03-01.
  15. The Sickle Cell Warrior Diary "The journey of HOPE from Wandegeya to America" 27 September 2019,
  16. The Daily Monitor "Hope for Sickle Cell patients" 7 July 2016,
  17. The Daily Monitor "Medical Options for people living with sickle cell" 14 August 2014,
  18. Uganda Sickle Cell Rescue Foundation "My burden is my purpose" 4 September 2017,
  19. Biomedical Central Public health "Knowledge, perception and practices towards sickle cell disease" 27 April 2018,
  20. Adolescent health medicine and therapeutics "To Join Or Not To Join? A Case Of Sickle Cell Clubs, Stigma And Discrimination In Secondary Schools In Butambala District, Uganda" 2 October 2019,
  21. Ninsiima, Charlotte (2016-04-20). "Time to focus on sickle cell tragedy in Uganda". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2021-03-01.
  22. "Ministry of Health receives sickle cell kits from Birthday run". Archived from the original on 2024-05-28. Retrieved 2025-10-23.
  23. Betty Amamukirori "Businessmen contribute sh50m towards sickle cell fight" New Vision Uganda 8 May 2016
  24. John Muto-Ono P "Uganda moves to fight sickle cell disease" Blackstar news, Uganda 21 June 2016
  25. Gilmore Tee Show. Cliff Central. South Africa "World Sickle Cell Day" 22 Jun 2018
  26. "Home". mandelawashingtonfellowship.org.
  27. CIU (28 February 2018). "Public Lecture; "Dare to Dream"". Clarke International University - Lead • Innovate • Transform (in British English). Retrieved 2021-03-02.
  28. CIU (3 July 2018). "Connecting classroom theory to real life skills application through community based initiatives". Clarke International University - Lead • Innovate • Transform (in British English). Retrieved 2021-03-02.
  29. "SCAY Awards | Sickle Cell 101". Sickle Cell 101 9/19 (in Lungereza). Archived from the original on 2021-11-11. Retrieved 2020-07-09.
  30. "2020 SCAY Awards | Sickle Cell 101". Sickle Cell 101 9/19 (in Lungereza). Archived from the original on 2021-11-11. Retrieved 2020-07-11.
  31. "100 Social Impact Leaders - Our 10th Anniversary Publication". Global Thinkers Forum (in Lungereza). Retrieved 2021-03-25.
  32. Uganda, U. S. Mission (2023-01-21). "United States Embassy Honors Ugandan Exchange Program Alumni | January 21, 2023". U.S. Embassy in Uganda (in American English). Retrieved 2023-01-28.

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]