Sheikh Abdullahi Ssekimwanyi
Endabika
Sheikh Abdullah Ssekimwanyi ye Munnayuganda eyasooka okulamaga e Makka mu Saudi Arabia mu myaka gya 1920. Okulamaga e Makka ye mpagi ey'okutaano oba ekikolwa ekiraga n'okunyikiza okukkiriza mu Busiraamu . Bwe yakomawo, yakuutira Abasiraamu okukomya okusaba Dhuhuri (eswala y'omuttuntu ku Lwokutaano). Era yatandika okuvvuunula khutuba (okubuulira) ku Lwokutaano mu Luganda n’ennimi endala ez’obuzaliranwa. Ono ye mutandisi w’ekibiina kya Africa Muslim Community, ekiwayi kya Juma, eky’e Bukoto-Nateete. [1] [2] Okuva mu Gwomusanvu 2009, kisuubirizibwa nti mu Uganda mulimu Abasiraamu ababalirirwamu 3,916,717. [3]
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://www.newvision.co.ug/D/8/30/591338
- ↑ http://allafrica.com/stories/200811240269.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-02-13. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)