Jump to content

Shriti Vadera, Baroness Vadera

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Shriti Vadera, Baroness Vadera, PC (yazaalibwa 23 Omwezi ogwomukaaga 1962 ) Mungereza enzaalwa ya Uganda eyali omukozi mu bbanka avunaanyizibwa ku kusiga ensimbi era minisita wa gavumenti abadde ssentebe wa Prudential plc okuva mu mwezi ogusooka 2021, nga yeegatta ku lukiiko olufuzi mu Mwezi ogwokutaano 2020. Yaweereza mu gavumenti ya Gordon Brown mu offiisi ya Kabineeti , Ekitongole ky'obusuubuzi, obuyiiya n'amagezi ag'ekikugu n'ekitongole ky'ensi yonna eky'enkulaakulana . Yali ssentebe wa Santander eky'e Bungereza okuva mu Mwezi ogwokusatu 2015 okutuuka mu Mwezi ogwekkumi 2020, omukyala eyasooka okukulira bbanka ennene ey'abangereza.

Vadera yazaalibwa mu Uganda mu 1962 eri abazadde abayindi Aba Gujarati .

Ono ava mu maka agaalina essaamba y'amajaani entono naye baddukira e Buyindi mu 1972 ng'akiddirira gavumenti ya Uganda okugoba Bannayuganda bannansi ba Asia, n’oluvannyuma n’agenda e Bungereza. Yasomera mu ttendekero lya Northwood College nga tannakola gdiguli mu filosofa, eby'obufuzi, n'ebyenfuna ku ttendekero lya Somerville college Oxford .

Emirimu gy'ekisaawe ky'obwannakyewa

[kyusa | kolera mu edit source]

Okumala emyaka egisukka mu 14 Vadera yali akolera mu bbanka ensizi y'ensimbi eya UBS Warburg, nga mu mirimu gye mwalimu okuwabula gavumenti z’amawanga agakyakula, n’okukendeeza ku mabanja n’okuddamu okukola enteekateeka. Era yakola kinene ku kutunda n'okuzza ekitundu ku kkampuni ya South Africa ey'amasimu mu mikono gy'obwannanyini .

Omuwabuzi wa Gavumenti era minisita

[kyusa | kolera mu edit source]

Vadera yali ku kakiiko lw’abawabuzi b'eby’enfuna ku HM Treasury okuva mu 1999 okutuuka mu 2007, gye yakulembera enkola ya bizinensi, okuvuganya mu buyiiya , ebikolebwa n’ensonga z’ebyensimbi n’enkulaakulana y’ensi yonna n’okuddukanya emigabo gya Gavumenti, okutunda eby’obugagga n’enkolagana ya gavumenti ey’obwannannyini ku bizimbibwa.

Nga kiddirira okulondebwa kwe nga Ssaabaminisita mu Mwezi ogwomukaaga 2007, Gordon Brown yamulonda ng'omuwandiisi wa paalamemti owa wansi mu kitongole ky'enkulaakulana y'ensi yonna.Engeri gy'ataali mubaka wa paalament zombi,yatondebwawo ekitiibwa kya life peer (ng'ono abeera mubaka mu house of Lords okutuuka okufaakwe) nga 11 Omwezi ogw'omusanvu 2007 nga Baroness Vadera owa Holland Park mu Royal Borough ekya Lingston ne Chelsea . The Sunday Times yategeeza nti Gus O'Donnell, omuwandiisi wa kabineeti, "yagaana nnyo okumukkiriza okusala omutendera gwa No 10 ng'omukwasisa w'enkola" era "tewaali muwandiisi wa nkalakkalira yali asobola kumugumira" – wadde ng'oluvannyuma yeegaana okwogera bino. [1]

Nga kiddirira okunenyezabwa ku ngeri ye gy'akolamu emirimu, Stephen Alambritis, owa Federation of Small Businesses (N'era nga ye kkansala wa wa Merton Labour) [2] yagamba nti: "Bwe kiba nti abakozi ba gavumenti bamwemulugunyaako, olwo osanga baminisita bangi balina okubeera nga ye; ebintu abikola."

Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga nga Minisita mu by’enkulaakulana by’ensi yonna, yatwalibwa mu kitongole kya bizinensi obutandisi bw'emirimu n'enkyusakyusa y'amateeka . Mu Mwezi ogwekkumi 2008, n'era yafuuka omuwandiisi wa paalamenti m8 offiisi ya kabbineeti .

Mu Mwezi ogusooka 2009 yawa yintaviyu mu mawulire ga ITV ag'ebiseera by'amalya g'ekyemisana, eyawunzika nti:

Alastair Stewart : "Ekirowoozo ekisembayo era ekimpimpi ekisoboka Wali mukozi wa bbanka era omusuubuzi era kati minisita – tunaalaba ddi obubonera bw'ebyenfuna okudda engulu?
Baroness Vadera: "Kale, ensi tetegeerekeka mu kiseera kino mu nsi yonna naye sandiyagadde kuba nga nze akiteebereza. Ndaba obubonero obutonotono obwokudda engulu naye bukyali nnyo okwogera ddala engeri gye binaakulamu."

Okuddamu kwe kwaleeta okwogererwa okuva mu nsonda eziwerako, omuli ccansala ow'ekisiikirize George Osborne n'eyali ccansala Norman Lamont eyasooka okukozesa engombo y'obubonero bwebyefuna okudda engulu " (Green shots )" mu 1991. Lamont yagamba nti: "Kyali tekinatuukira ddala okukozesa engombo eyo."

Ku nkomerero y’omwaka ogwo amawulirew ga Evening Standard gategeeza nti Vadera yayamba nnyo mu kutondawo enkola eyali tebangawo eyokununula zi bbanka ezaali zitubidde . [3] Nga 24 Omwezi ogwomwenda 2009, kyalangirirwa nti yali wakuva ku bwa minisita okutwala omulimu omupya ogw'okuwabula amawanga ageegattira mu kiniina kya G20 .

Vadera abadde mu luwummula okuva mu lukiiko lwa ba Lords okuva mu December wa 2011. [4]

Obulamu oluvannyuma lw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Mwezi ogwokuna 2010, Financial Times yategeeza nti Vadera yatekawo ekitongole ekyebuuzibwako okuwa amagezi ku nteekateeka mu kuddamu okutegeka ebbanja lya Duba ery'ensi (Dubai world) ery'obuwumbi bwa ddoola z'Amerika (US$26). [5] Mu Mwezi ogwomusanvu, amawulire ga Daily Telegraph gategeeza nti Vadera yali afuuse omuwi w'amagezi eri kkampuni ya Singapore ekola ku by'okusiga ensimbi eya Temasek .

"Ensonga lwaki abantu nga Shriti bafuna emirimu oba emikisa gino eri lwakuba nti abantu batono abategeera ensi y'ebyensimbi by'ensi yonna n'engeri amawanga gyegakolagana era gyegavuganya ne gannewaago ku mutendera gw'ensi yonna mu kiseera ng'ensi y'ebyensimbi kyeyoleka bulungi nti erina ebizibu n'ensi y'ebyobufuzi." Martin Armstrong owa kkampuni ekola ku by’okunoonya abakozi n'okubalungamya eya Somerton Partners bwe yategeezezza.

Mu 2019, Vadera yayogerwako emikutu gy’amawulire mu Bungereza ng’agenda okusikira Mark Carney nga Gavana wa Bbanka enkulu eya Bungereza .

Mu 2021, Vadera yalondebwa okuba ssentebe wa kkampuni ya Royal Shakespeare Company , omukyala eyasooka era omuntu atali kyeruppe eyasooka mu kifo kino.

Mu 2023, pulezidenti wa Bbanka y'ensi yonna Ajay Banga yalonda Vadera nga ssentebe omubeezi – ng’ali wamu ne Mark Carney – ow’ekitongole ky’obwannannyini ekya Private Sector Investment Lab.

Emirimu emirala

[kyusa | kolera mu edit source]

Enkiiko enfuzi ez'ekikungu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Prudential plc, Ssentebe atali mukulu (okuva mu 2021)
  • Santander UK, Ssentebe atali mukulu (2015–2020)
  • BHP, Memba atali mukulu ku lukiiko olufuzi (2010–2020) [6]
  • AstraZeneca, Memba atali mukulu ku lukiiko olufuzi (2010–2018) [7]

Ebitongole ebitali bikozi bya magoba

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2016, Vadera yateekebwa ku lukalala lw'omwaka ogwo olw'abakyala ba BBC ekikumi (100) .

.mw-parser-output .reflist{margin-bottom:0.5em;list-style-type:decimal}@media screen{.mw-parser-output .reflist{font-size:90%}}.mw-parser-output .reflist .references{font-size:100%;margin-bottom:0;list-style-type:inherit}.mw-parser-output .reflist-columns-2{column-width:30em}.mw-parser-output .reflist-columns-3{column-width:25em}.mw-parser-output .reflist-columns{margin-top:0.3em}.mw-parser-output .reflist-columns ol{margin-top:0}.mw-parser-output .reflist-columns li{page-break-inside:avoid;break-inside:avoid-column}.mw-parser-output .reflist-upper-alpha{list-style-type:upper-alpha}.mw-parser-output .reflist-upper-roman{list-style-type:upper-roman}.mw-parser-output .reflist-lower-alpha{list-style-type:lower-alpha}.mw-parser-output .reflist-lower-greek{list-style-type:lower-greek}.mw-parser-output .reflist-lower-roman{list-style-type:lower-roman}

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Helm, Toby; Beckford, Martin (3 November 2007). "Profile: Shriti Vadera". The Daily Telegraph. London. Retrieved 28 July 2009.
  2. Dutt, Vijay; Canton, Naomi (June 24, 2007). "Gujarati tipped for Brown's inner circle". Hindustan Times.
  3. Teather, David (26 July 2008). "Saturday Interview: Shriti Vadera". The Guardian. London. Retrieved 28 July 2009.
  4. Sparrow, Andrew (15 January 2009). "Profile: Shriti Vadera". The Guardian. London. Retrieved 26 July 2020.
  5. "Vadera Profile: From Banker to Baroness". Wall Street Journal. London. 24 September 2009.
  6. "Brown unveils new faces". Prime Minister's Office. 29 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 2007. Archived from the original on 1 Gwamusanvu(Kasambula) 2007. Retrieved 28 Gwamusanvu(Kasambula) 2009.
  7. Template:London Gazette
  8. Jenkins, Simon (8 July 2007). "Brown's brain and his hand are not always connected". The Times. London. Archived from the original on 30 August 2008. Retrieved 28 July 2009.
  9. "Local Elections Archive Project — Ravensbury Ward". www.andrewteale.me.uk. Retrieved 2021-03-27.
  10. "'Green shoots' remarks defended". BBC News. 14 January 2009. Retrieved 28 July 2009.
  11. "'Green shoots' remarks defended". BBC News. 14 January 2009. Retrieved 28 July 2009.
  12. "How I helped rescue Britain from brink of bank disaster | News". Thisislondon.co.uk. Archived from the original on 19 September 2012. Retrieved 5 November 2011.
  13. "UK | UK Politics | Vadera stepping down as minister". BBC News. 24 September 2009. Retrieved 5 November 2011.
  14. "Baroness Vadera – UK Parliament". Parliament.uk. Retrieved 2 September 2019.
  15. "Shriti Vadera's new consultancy role in Dubai | Westminster blog | Jim Pickard and Kiran Stacey share their views on the UK's political scene for the Financial Times – FT.com". Blogs.ft.com. 24 May 2010. Retrieved 5 November 2011.
  16. Tyler, Richard (4 July 2010). "Baroness Vadera advises Singaporean sovereign wealth fund Temasek". Telegraph. London. Retrieved 5 November 2011.
  17. Chris Giles (24 April 2019), Who will replace Mark Carney as Bank of England governor? Financial Times.
  18. "RSC appoints first woman and person of colour as chair". The Guardian. April 28, 2021.
  19. "Shriti Vadera becomes first female and person of colour to lead RSC board". The Stage. April 28, 2021.
  20. World Bank Group Intensifies Focus on Private Sector, Launches Effort to Scale Investment in Emerging Markets World Bank, press release of 22 June 2023.
  21. Oliver Ralph (30 January 2020), Shriti Vadera to become next chair of Prudential Financial Times.
  22. Morris, Stephen (12 December 2014). "Santander U.K. Names Shriti Vadera Chairman Replacing Burns". Bloomberg News. Retrieved 15 January 2015.
  23. "SANTANDER UK GROUP HOLDINGS PLC – BOARD CHANGE". Investegate. 30 January 2020.
  24. "BHP Billiton – Home". BHP. Archived from the original on 29 July 2012. Retrieved 5 November 2011.
  25. "Appointment of Senior Independent Director". 13 October 2020. Archived from the original on 14 May 2021. Retrieved 29 November 2025.
  26. "PLC appoints new Non-Executive Director". AstraZeneca. 17 December 2010. Retrieved 5 November 2011.
  27. Our Governance Chatham House.
  28. Board Institute of International Finance
  29. 2016, BBC, Retrieved 26 November 2016

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:British special advisers

  1. [Simon Jenkins Simon Jenkins]. {{cite news}}: Check |url= value (help); Missing or empty |title= (help)
  2. "Local Elections Archive Project — Ravensbury Ward". www.andrewteale.me.uk. Retrieved 2021-03-27.
  3. "How I helped rescue Britain from brink of bank disaster | News". Thisislondon.co.uk. Archived from the original on 19 September 2012. Retrieved 5 November 2011.
  4. "Baroness Vadera – UK Parliament". Parliament.uk. Retrieved 2 September 2019.
  5. "Shriti Vadera's new consultancy role in Dubai | Westminster blog | Jim Pickard and Kiran Stacey share their views on the UK's political scene for the Financial Times – FT.com". Blogs.ft.com. 24 May 2010. Retrieved 5 November 2011.
  6. "BHP Billiton – Home". BHP. Archived from the original on 29 July 2012. Retrieved 5 November 2011.
  7. "PLC appoints new Non-Executive Director". AstraZeneca. 17 December 2010. Retrieved 5 November 2011.