Jump to content

Sidia Jatta

Bisangiddwa ku Wikipedia
Sidia Jatta
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeGambia Kyusa
Erinnya eriweereddwaSidia Kyusa
Erinnya lya famireJatta Kyusa
Yazaalibwa nga1945 Kyusa
Gy'azaalwaSutukoba Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi Kyusa
Ekifo ky'alimuMember of the National Assembly of Gambia Kyusa
GyeyasomeraUniversité Grenoble Alpes Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziPeople's Democratic Organisation for Independence and Socialism Kyusa
Okwesiimbawo kwe mu kalulu2017 Gambian parliamentary election, 2022 Gambian parliamentary election Kyusa
EdiiniSunni Islam Kyusa

Sidia Sana Jatta (yazaalibwa 1945) munnabyabufuzi, muyivu era muwandiisi Omugambia.

Ebyafaayo n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Jatta Omumandinka, yazaalibwa Sutukoba mu Disitulikiti y'e Wuli. Yasomera mu kitundu kye saako ne ku Ssekendule ye Nungua,, okumpi ne Accra, Ghana okuva mu 1961 okutuuka mu 1963, nga tannadda mu Gambia okugenda ku Yundum College okuva mu 1964 okutuuka mu 1966. Oluvannyuma lw’okukola ng’omusomesa mu masomero ag’enjawulo aga pulayimale ne siniya okutuusa mu 1972, yeewandiisa mu Yunivasite y’e Grenoble okuva mu 1973 okutuuka mu 1978, n’afuna diguli esooka ne ne y'eddaala eryokubiri mu by’ennimi. Yaddayo e Bufalansa okwongera okusoma mu 1983.[1]

Oluvannyuma lw’okudda mu Gambia, Jatta yakolera mu Curriculum Development Center okuva mu 1978 okutuuka mu 1983, oluvannyuma n’afuuka omukungu omukulu mu kukulaakulanya eby'ensoma, era era yali munoonyereza mu International African Institute, London okuva mu 1980 okutuuka mu 1982. Yalekulira gavumenti mu 1986 ng’awakanya enkola ya gavumenti ya People’s Progressive Party eyali mu buyinza.

Jatta yatandikawo ekibiina kya People’s Democratic Organization for Independence and Socialism mu 1986, ekibiina ekivuganya pulezidenti ali mu buyinza Sir Dawda Jawara era y’alondebwa okuba ssentebe waakyo eyasooka mu 1987. Y'omu ku muwandiisi w’olupapula lw’ekibiina kino, Foroyaa. Yeesimbawo mu Ssaza lye Wulli ng'akiikiridde PDOIS mu kalulu k’olukiiko lw’ababaka mu 1987 era naddamu mu 1992 kyokka obululu bwombi ye yasemba. Ng’ali wamu ne Halifa Sallah, yagaana okuweebwa ekifo mu gavumenti ya Armed Forces Provisional Ruling Council mu 1994. Yasibwa okumala akaseera katono mu Gwomunaana 1994 ng’ajeemera gavumenti okuwera emirimu gy'ebibiina by’ebyobufuzi.

Mu 1997, Essaza lye Wulli lyagabanyizibwamu ebitundu bibiri (Wulli Eyobuvanjuba ne Wulli Eyobugwanjuba) era yawangula Wulli Eyobugwanjuba mu kulonda kw’olukiiko lw’eggwanga olukulu mu 1997. Oluvannyuma yafuuka omu ku bavumirira ennyo gavumenti ya APRC mu lukiiko lw’eggwanga olukulu.

Mmemba mu lukiiko lw'eggwanga olukulu okuva e Wuli West. Jatta era ye Ssaabawandiisi w’ekibiina ekigatta abakulu ki Wulli Adult Literacy Development Association.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Perfect, David (27 May 2016). Historical Dictionary of The Gambia. Rowman & Littlefield. p. 236. ISBN 9781442265264.