Jump to content

Sikander Lalani

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Sikander Lalani musuubuzi, ssenkulu addukanya emirimu ku kkampuni ya Roofings Group mutandisi wa mirimu, munnamakolero,era eyaliko omusawo omukugu mu kukebera n'okusoma endwadde eziri mu butoffaali obufaanagana mu nkula era obukolera awamu ng'ekitole ne mu bitundu ebyomunda (Histopathologist) mu Uganda . [1] Agambibwa okuba omu ku bantu abasinga obugagga mu Uganda. [2]

Obuvu bwe nokusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Lalani yazaalibwa nga 4 Omwezi ogwekkuninoogumu 1944 ku ddwaaliro e Nsambya mu Kampala. Yatendekebwa ng'omusawo omukugu mu kukebera n'okusoma endwadde eziri mu butoffaali obufaanagana mu nkula era obukolera awamu ng'ekitole ne mu bitundu era n’akola okumala emyaka ebiri mu myaka gya 1960 mu ddwaliro lya University College Hospital mu London, Bungereza. [1]

Yava mu by’obusawo n’aggulawo edduuka lya kyakalakyakala w'eby’amasannyalazeme Kigali mu Rwanda, mu myaka gya 1970, ng'eessira alissa mu byamaguzi eby'ekika kya Philips. Oluvannyuma yafuuka asaasanya emipiira gy'ebidduka egy'ekika kya Goodyear mu Rwanda. [1]

Mu 1976, banne Abajapaani, abaamuwa ebyuma eby’amasannyalaze, baamwanjullira ekirowoozo ky’okukola ebintu eby’ebyuma ebisereka mu Rwanda. Ng’ayambibwako bbanka ya Rwanda ey'ebyenkulaakulana (Rwanda Development Bank) yasobola bulungi okusaba looni ya doola za Amerika akakadde 1(US$1 million) okuva mu bbanka y'ensi yonna (World Bank) . Mu 1978, yatandikawo ekkolero mu Kigali, ng'akola ebintu ebisereka.. Ekittabantu bwe kyabalukawo mu 1994, yava e Rwanda n’agenda e Tanzania. Oluvannyuma yasenguka n’agenda mu Uganda olw’emitendera egisusse gyolina okuyitamu okubaako kyokola mu Tanzania. [1]

Amakampuni ga Roofings

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu myaka amakumi abiri egiyise, Lalani azimbye amakampuni agakola ebyuma bya ssitiilu mu Uganda, nga mulimu amakolero asatu ag’enjawulo. Bizinensi ze zitegekeddwa mu kibinja kya Roofings Group. [3] [4]

Engeri gyazitowa mu bugagga

[kyusa | kolera mu edit source]

Okusinziira ku kiwandiiko kya 2022CEO East Africa web article mu 2023, Lalani yalina obugagga bwa doola za Amerika nga akawumbi kamu (US$ 1 billion).

Lalani yawasa Winnie Abotile Lalani era balina abaana 4 bombi (2024). [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Tumusiime, Abdulaziizi (6 May 2014). "Sikander Lalani: Uganda's steel magnate". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 10 March 2016. Retrieved 10 March 2016.
  2. Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The deepest pockets". New Vision. Kampala. Retrieved 11 March 2016.
  3. Otage, Stephen (30 August 2013). "New steel plant set to employ 2,000 people". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 13 March 2016.
  4. Tumusiime, Abdulaziizi (6 May 2014). "Sikander Lalani: Uganda's steel magnate". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 13 March 2016.
  5. Vision Reporter (27 December 2006). "Uganda: Lalani, Winnie Under One Roof". New Vision. Kampala. Retrieved 10 March 2016.
  1. 1 2 3 4 Tumusiime, Abdulaziizi (6 May 2014). "Sikander Lalani: Uganda's steel magnate". Archived from the original on 10 March 2016. Retrieved 10 March 2016.
  2. Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The deepest pockets". Retrieved 11 March 2016.
  3. Otage, Stephen (30 August 2013). "New steel plant set to employ 2,000 people". Retrieved 13 March 2016.
  4. Tumusiime, Abdulaziizi (6 May 2014). "Sikander Lalani: Uganda's steel magnate". Retrieved 13 March 2016.
  5. Vision Reporter (27 December 2006). "Uganda: Lalani, Winnie Under One Roof". Retrieved 10 March 2016.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]