Sikimanyinkitye(Superstitution)

Omunoonyerezi Charles Muwanga yazimbye omulamwa gwa "sikimanyinkitye" okusobola okugandawaza eky'olungereza "superstition". Lwaki ? Bassikimanyinkitye(the Superstitious )buli ekiri waggulu w'okumanya kwabwe mu nsi eya sayansi nga bakijuliza mizimu oba misambwa nga bwe bagamba nti 'ekyo kitiisa".
Mu butuufu bassikimanyinkitye mu nsi z'abaddugavu buli ekisukkulmye ku kutegeera kwabwe mu butonde mu kifo ky'okweyunira akalombolombo ka sayansi(the scientific method) okuzuula ebituufu ekikifaako , kye bakola kwe kukisamirira n'okukiwongera nga tebamanyi nti nakyo kitonde nga bbo. Si kya magezi kusamirira na kuwongera kitonde kinno.
Olw’obutamanya obungi abantu abakyali mu mbeera y’obutonde (state of nature) bwe babeeramu mu ntabaganya ezikyaali emabega mu sayansi , wabaawo ebikolwa bingi ebya “sikimanyinkitye".
Sikimanyinkitye kuba kusinza butonde obuba busukulumye ku kutegeera kw’omuntu atali mwefumiitiriza oba atali munyukufu. Omulamwa “embeera y’obutonde” (the state of nature) gunnyonyola embeera omuntu gye yalimu nga tewanabaawo sayansi na tekinologia wa ngeri emu oba endala. Kino kitegeeza mu mbeera y’obutonde tewaliwo ntondeka ya bikole (production) yadde okulima n’okulunda okw’okwebezaawo (subsistence agriculture), tewaaliwo kusimba makanda mu kifo(settlement), n’olwekyo tewaaliwo bukulembeze oba gavumenti ya ngeri yonna.
Osaana okimanye nti ekyaleetawo gavumenti kiri mu kuyiiya sayansi ne tekinologia ebyatandikira mu kuvumbula omuliro n’okuweesa ebikola eby’amayinja, emiti , n’amagumba.Okuva olwo omuntu ali mu ntabaganya ekulaakulanya okwefumiitiriza(critical thinking) azze ayita mu “nkola ya sayansi” okukwekula amateeka g’obutonde ameekusifu agannyonyola ekibalo ekiri mu buttonde obw’enjawulo obuli mu bwengula.
Yadde nga kati tuli mumulembe gw’amasomero, enkola ya sayansi tenasimba nnyo makanda wano, era sayansi kiringa kya kwegyalabya, ekintu ekitwalibwa ng’ekyobuwangwa bw’abazungu, ensonga lwaki kirekeddwa okuba ekintu ekyekusiza ku nnimi z’abazungu zokka mu ntabaganya z’abaddugavu.
Olwa sikimanyinkitye abantu abakyali mu mbeera ey’obutamanya gye babeeramu , wabawo okukkiririza mu bitaliimu kunji. Abantu abatali banyukufu mu sayansi batera okutya buli kitonde ekisukkulumye ku kutegeera kwabwe n’ekivaamu kwe kusinza obutonde buno bwe nnyini mu kifo ky’okusinza n’okutendereza Namugereka eya butonda.
Wano mu mawanga g’abaddugavu, sikimanyinkitye (superstition) n’okutuusa kati yeyolekera mu bintu bingi ebikolebwa abantu baffe nga mulimu n’ebitali bya buntu. Ebimu ku bikolwa ebya sikimanyinkitye n’enneeyisa ez’emabega ezisibye akanyaaga mu ntabaganya (society) yaffe okumala ebbanga eddene mulimu:
1. Okusinza, okuwongera , n’okusaddaakira obutonde nga zi ssengendo(cerestial bodies) eziri mu bwengula,emiti eminene egyakula ne giwola n’enjazi oba agayinja aganene agawomoggoddwa olw’ebivagala by’embeera y’obudde(weather vuguries) ng’enkuba , embuyaga n’omuzira.
2. Okutwala amaanyi g’obutonde (natural forces) ng’okujugumira oba okwesisiwala okwettaka olwa musisi (earthquake) nga lubaale era ne basinza ekintu ky’obutonde ekyateekebwawo Namugereka ate ye kakitonda ne batamuteekako ssira.
3. Okusinza n’okusamirira amaanyikasoboza (energy) agaleetawo okwabulukuka (splitting) kw’e kitangaala ekirabika (visible light) ekiva mu kkala ez’enjawulo ezeyolekera mu kye tumanyi nga kkala za musoke (rainball). Olw’obutamanya , kino tukiyita lubaale musoke mu buwangwa bwaffe.
4. Okulowooza nti kikungunta (cyclone), empewo ekungunta nga yetoloola giba mizimu (kazimu) gy’abaafa.
5. Okutya oba okusinza abaafa nga balubaale nga tulowooza nti omuntu afudde ng’omubiri gwe guziikiddwa mu ttaka gye bayita emagombe aba akyawulira era ng’awulira obunnyogovu era asobola n’okunywa ku mwenge oba amazzi g’oyiye mu ttaka.
6. Okutwala abaana abalongo ng’abavudde mu nsi ey’emyoyo egy’ekizikiza. Kino kyaleetangawo emikolo egy’obugwenyufu ng’omuntu azadde abalongo omuli n’okuwemula.
7. Okulowooza nti walumbe yavaako okufa era abeera ttanda wano mu busujju, mu kifo ky’okukiraba nti okufa kintu kya butonde nga Katonda yekka yakirinako obuyinza era tulina okwewala embeera z’obulamu eziteeka obulamu bwaffe n’obwabalal mu matigga.
Bino mu kubiggulumiza abantu baffe bakola ebintu bingi okubiwongera, omuli n’okusaddaaka abantu , naddala abaana. Mu nsi z’abazungu sayansi gyali ng’ekyobuwangwa sikimanyinkitye mutono nnyo, kyokka wano mu Afirika sayansi gy’atannaba kufuuka kya buwangwa , ffe tuli ku buzibu bw’ebikolwa ebyekusiza ku sikimanyunkitya. Entabaganya ebeeramu ebikolwa ebya sikimanyinkitye ng’ebyo eba ekyalimu obutali bunyukufu obw’engeri emu oba endala bungi ddala.