Silas Aogon
Silas Aogon (yazaalibwa 17 Ogwekkuminoogumu 1976) musajja Munnayuganda omubalirizi w'ebitabo era mubaka wa Paalamenti mu Munisipaali y'e Kumi, Disitulikiti y'e Kumi.[1][2][3] Aweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu nga munnabyabufuzi eyeetongodde.[1][4][5][6][7]
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Silas yazaalibwa nga 17 Ogwekkuminoogumu 1976. Mu 1991, yamaliriza ekigezo kye ekya Primary Leaving okuva ku Kumi Primary School oluvannyuma ne yeegatta ku Wiggins Secondary School mu 1995 okusoma siniya eyokuna.[1] Yaweebwa satifikeeti ya Uganda Advanced Certificate of Education mu 1998 okuva ku Elgon High School - Mbale.[1] Silas alina Dipuloma y’okuddukanya amaterekero okuva ku Makerere University Business School (2000) ne satifikeeto y'okubala ebitabo okuva ku ICPAU (2013).[1]
Emirimu gye nga tanayingira byabufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannaba kwegatta ku Paalamenti ya Uganda ng’omubaka wa Paalamenti, Silas yaweebwa omulimu okukola nga Accounts Assistant (2006-2009), Stores Assistant (2006) ne Senior Accounts Assistant (2009-2015) ku gavumenti z'ekibundu mu Disitulikiti y’e Bukedea.[1] Era yakolera mu Gavumenti ez’ebitundu mu Disitulikiti y’e Kumi nga Stores Assistant mu mwaka gwa 2002 ne 2006.[1][8]
Emirimu gye egy’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Abadde mubaka wa Paalamenti mu Palamenti ya Uganda okuva mu 2016 n’okutuusa kati mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkumi n’ey’ekkumi n’emu.[1]
Aweereza ku kibiina kya ICPAU nga omukwanaganya.[1] Ye mmemba w’akakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti n’akavunaanyizibwa ku by’obutonde.[1][9] Ye Memba omubeezi wa UWOPA.[10]
Ono y’omu ku babaka 4 okuva mu kitundu kya Teso eyasubiiza okwediima singa gavumenti eremererwa okugaba emmere kyenkanyi.[11] Mu kiseera ky'ekirwadde kya COVID-19, yagamba nti Bannayuganda abasinga obungi basisinkana ebizibu by’ebyenfuna olw’okuggala kwa bizinensi n’asaba gavumenti okuggulawo eggwanga abantu basobole okusuubula.[12]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mufumbo.[1] Ebintu by’ayagala ennyo kwe kulaba omupiira, okutambula, okuzannya puulu n’okusoma empapula z’amawulire.[1] Ayagala nnyo okubuulirira n’okusonda ssente.[1] Nga tannaba kwegatta ku byobufuzi, yaliko omwogezi w'emikolo (MC) era nga maneja w’emikolo ku mikolo egy’enjawulo.[1][8] Ye mmemba w’olukiiko lwa Paalamenti olukola ku nsonga z’abakadde.[8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwamu wabweru wa Wikipidiya
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "Kumi health centre IV theatre lies idle 10 years after construction". Nile Post (in American English). 2020-06-11. Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "Teso clergy help candidates to make peace before campaigns". The Independent Uganda (in American English). 2020-10-30. Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "Aogon Silas - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "Government spent money on speculation, there are no locusts in Kumi; every coin must be accounted for – Silas Aogon, MP Kumi Municipality". Matooke Republic (in American English). 2020-02-12. Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "Aogon Silas - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-09.
- ↑ "Silas Aogon". theyworkforyou.github.io. Retrieved 2023-02-09.
- 1 2 3 NAMULOKI, JOSEPHINE. "Aogon: I will not let down youth, women and elderly". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "Hon. Aogon Silas". MPScan Uganda (in American English). Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "UWOPA Associate Members | Uganda Women Parliamentary Association". uwopa.or.ug. Archived from the original on 2021-05-09. Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "TESO MPs issue ultimatum on food delivery – Parliament Watch". parliamentwatch.ug. Retrieved 2021-04-04.
- ↑ "Cabinet directs Health Ministry to review Covid SOPs". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2021-04-04.