Jump to content

Silas Babaluku Balabyekkubo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Babaluku, eyazaalibwa nebamutuuma Silas Babaluku Balabyekkubo, Munnayuganda, afubutuka ebigambo, omuyimbi, afulumya ennyimba, omulwanirizi w’abavubuka mu bitundu era omutandisi w’emirimu era nga muyimbi wa Rap mu Luganda . Ono memba w'ekibiina ky'abayimbi ekiyitibwa Bataka Squad.[1] [2] Yeeyatandikawo ekibiina kya "Bavubuka Foundation ekiyamba okuwa abavubuka obukugu mu bukulembeze". Y'omu ku batandika enyimba z'ekika kya kya "Lugaflow" nga guno gwe muziki gw 'okubeera ng'ofubutuka ebigambo mu Luganda. [3] Yatekebwa mu katambi ka vidiyo akaafulumizibwa mu 2008 nga kayitibwa "Diamonds in the Rough: A Ugandan Hip-hop Revolution" akaali kakwata ku lugendo lwe okuva ku naku z'ekibiina kye ezasooka nga bakuba enyimba mu Uganda okutuuka ku kuyimba mu bivvulu mu Amerika. [4]

Obulamu bwe n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Bababuluku yazaalibwa Kampala, Uganda mu 1979. Ono ye mwana omuberyeberye mu baana omunaana abaali ab'omugenzi Pasita Deo Balabyekkubo ne Mukyala Christine Balabyekubo. [5] Yagenda ku masomero ga Emen Memorial ne Molly ne Paul aga Pulayimale e Makindye era okukakkana ng’agenda e Canada ng’alina emyaka 12. Yatikirwa mu bwa yinginiya w'amaloboozi mutendekero lya British Columbia e Vancouver. [6]

Babaluku yatandika emirimu gye egy'okuyimba mu 1994. Y’omu ku baatandikawo enyimba z'ekika kya Lugaflow, okukuba oluyimba ng'ofubutuka ebigambo mu Luganda. Alina awaadi eziwerako omuli, eya Pearl of Africa Award ey’okusinga mu Hip Hop ne Buzz Teen Awards ey’okubeera omuyimbi asinga mu Hip Hop. Ekiwandiiko "Diamonds in the Rough" mweyali, yawangula awaadi ya Audience Choice Award mu bikujuko bya Dances With Films Festival ne Best Feature Documentary mu bikujuko bya Peace on Earth Film Festival. Mu 2010, Babaluku yasiimibwa ekibiina ky’eby'obuwangwa ekya Ugandan Cultural Association olw’okukola obulungi era n’alondebwa nga Pioneer of the Year mu mpaka za Words Beats & Life Remix Teach-In Awards. [7]

  • Enkyukakyuka y'ennyimba za Luga flow

Awaadi n'okusiimibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • 2007 Pearl of Africa Award for Best Hip Hop Single
  • 2007 Buzz Teen Awards for Best Hip Hop Artist.
  • Best audience Choice Award at Dances With Films Festival for the documentary "Diamonds in the Rough".
  • Best Feature Documentary at Peace on Earth Film Festival for the documentary "Diamonds in the Rough".
  • Honoured in 2010 Babaluku by the Uganda Canadian Cultural Association for his Excellence
  • Pioneer of the Year by the Words Beats & Life Remix Teach-In Awards. [8]

Ebijulziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "BABALUKU DISCUSSES B-GLOBAL GATHERINGS & UG HIP HOP". thetribeug.blogspot.com. Retrieved 1 January 2015.
  2. "Babaluku Discusses B-Global Indigenous Hip-Hop Gathering, Hip-Hop Ethics & State of Ugandan Hip-Hop". urbanhype.net. Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 1 January 2015.
  3. "Ugandan-born musician, Silas Balabyekkubo Babaluku, returns home to give back to Ugandan youth". africanimmigrant.ca. Archived from the original on 4 March 2022. Retrieved 1 January 2015.
  4. "Uganda's Luga Flow Legend Babaluku". Retrieved 1 January 2015.
  5. "Babaluku; Hip hop pioneer traces origins of Ugaflow, and his work with youths". Retrieved 1 January 2015.
  6. "Ugandan Musicians: Meet Silas Babaluku Balabyekkubo". Retrieved 1 January 2015.
  7. "Babaluku, the Lugaflow pioneer". Archived from the original on 6 October 2017. Retrieved 1 January 2015.
  8. "Silas Balabyekkubo". Retrieved 1 January 2015.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]