Jump to content

Simeo Muwanga Nsubuga

Bisangiddwa ku Wikipedia
Simeo Muwanga Nsubuga

Simeo Muwanga Nsubuga Munnayuganda, munnabyabufuzi, Mukiise w'eggwanga era omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu mu Uganda ng’alina obumanyirivu mu kukwasisa amateeka. [1] [2] [3] Ye yali omubaka mu Paalamenti akiikirira Mityana ey'oBukiikaddyo wansi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement . [4] [5] [6] [7] [8]

Nsubuga yalayiziddwa ku bwa Kaminsona w'akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission ku Lwokubiri nga 20 Ogwekkuminebiri 2022. [1] [4] Omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Butera y'eyamulayiza mu kkooti enkulu ekya Civil Division mu Kampala. [1] Nsubuga yaweerezaako ng'omutendesi w'abasirikale ba poliisi ba African Union Mission in Somalia era ng'omuwabuzi w'ensonga z'obukwasi bw'amateeka owa United Nations Development Programme (UNDP) mu South Sudan[1] Yetaba mu kuyiiya ebitabo eby’enjawulo eby’okutendeka UNDP. [1] Yali omu ku babaka ba Paalamenti abaalonda ebbago ly’etteeka ly’ekkomo ku myaka mu Paalamenti ya Uganda okukkiriza Pulezidenti Museveni okuddamu okulondebwa mu kalulu ka 2021 oluvannyuma lw’okutuuka ku kkomo ly’emyaka 75 egyali gy'ateekebwa. [9] [10] [11] [5] Yali ku kakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu Paalamenti ya Uganda. [12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 https://uhrc.ug/uhrc-commissioners/
  2. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_180780
  3. https://www.newvision.co.ug/articledetails/BUK_119517
  4. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2024-07-26. Retrieved 2025-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/oped/columnists/nicholas-sengooba/kyuma-kya-yesu-has-done-nrm-s-anti-age-limit-supporters-a-favour-1714090
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/oped/commentary/on-nrm-lc-polls-victory-and-the-purchase-of-uganda-airlines-1770716
  7. https://chimpreports.com/nrm-parliamentary-caucus-meets-museveni-over-land-bill/
  8. https://www.watchdoguganda.com/news/20190830/75959/kiconco-returns-to-evict-hundreds-in-kassanda-200-homes-razed.html
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2024-12-13. Retrieved 2025-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://www.observer.ug/news/headlines/61798-simeo-nsubuga-nrm-is-burying-me
  11. https://allafrica.com/stories/201710180076.html
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2024-10-07. Retrieved 2025-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)