Simon D'Ujanga
Simon Giw D'Ujanga Munnayuganda yinginiya w'amasannyalaze era munnabyabufuzi . Mu kiseera kino ye Minisita omubeezi ow'amasannyalaze mu kabineeti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 1 Ogwomukaaga 2006. [1] Mu nkyukakyuka mu kabineeti eya 16 Ogwokubiri 2009, [2] n’eya 27 Ogwokutaano 2011, [3] yasigaza ekifo kye ekya kabineeti. Olw’ekifo kye eky’obwaminisita, era yali mubaka wa Palamenti (MP).
Obuvo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Zombo, nga 24 Ogwomunaana 1953. [4]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Alina diguli ye mu sayansi n'okukanika amasanyalaze eya Bachelor of Science mu Electrical Engineering okuva mu Ssettendekero wa Makerere, yunivasite esinga obukadde mu Uganda, nga yatandikibwawo mu 1922. Era alina diguli ey'okubiri mu sayansi eya Master of Science mu mulimu gwe gumu, okuva mu Aston University, e Birmingham, mu Bungereza . Alina n’ebisaanyizo ebirala eby’ekikugu n’obwammemba mu by’amasannyalaze n’amateeka. [5]
Obumanyirivu mu mirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Simon D’Ujanga yaweereza ng’omumyuka wa maneja w’ekitongole ekyavaawo ekya Uganda Electricity Board, kkampuni ya gavumenti eyali ekola ku by’amasannyalaze, okuva mu 1994 okutuuka mu 1997. Okuva mu 1997 okutuuka mu 1998, yaweereza nga maneja waayo . Mu 2001, yayingira eby'obufuzi, n’avuganya ku kifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza ly'e Okoro mu Disitulikiti y'e Nebbi . Yawangula. [6] Yaddamu okulondebwa mu 2006. Nga 1 Ogwomukaaga 2006, yalondebwa ku bwa Minisita omubeezi ow'amasannyalaze, ekifo ky'eyaweerezaamu okutuusa mu 2014. [7] Mu 2010, "Essaza lya Okoro" ly'ayawulwa okuva ku Disitulikiti y'e Nebbi n'etuumibwa Disitulikiti ya Zombo. Mu kulonda kw’eggwanga okwa 2011, D’Ujanga yawangulwa mu kalulu k'ekibiina eri omubaka aliko, Stanley Oribudhou Omwonya, naye nga w'akibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement .
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Simon D'Ujanga mufumbo. Ava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement. Awandiika ennyonyi, ng’ekimu ku bintu by’ayagala ennyo.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
- ↑ https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
- ↑ https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
- ↑ https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament
- ↑ https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament
- ↑ https://archive.today/20140918160754/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/409750
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-12-26. Retrieved 2025-07-28.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)