Simon Lokodo
Simon Lokodo yazaalibwa 28 Ogwokumi 1957, n'afa nga 29 Ogwoluberyeberye mu 2022, nga yali munnabyabufuzi Omunnayuganda eyaweerezaako nga Minisita w'eggwanga Oubeezi avunaanyizibwa ku Mpisa n’Obwesiimbu mu ofiisi ya Pulezidenti wa Uganda okuva mu 2011. Emabegako, yaliko Minisita W'eggwanga Omubeezi Ow'eby'amakolero okuva mu 2009 okutuuka mu 2011. Okuva olwo yaliko omubaka omulonde mu Palamenti ng’akiikirira Dodoth County mu Disitulikiti y’e Kaabong okuviira ddala mu 2006 okutuusa lwe yafiirwa ekifo kye ekya Palamenti mu Gwoluberyeberye mu 2021 oluvannyuma lw'okubeera ng'emabegako baali bamulumiriza okuwagira etteeka ly’okuggya ekomo ku myaka gy'abavuganya ku bwapulezidenti. Era yawerezaako ng'omukiise ku kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu mu Uganda .
Ebimukwatako n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Lokodo yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kaabong nga 28 Ogwekumi mu 1957. Simon Lokodo yalina diguli ya Bachelor of Arts mu by'Eddiini okuva mu Pontifical Urbaniana University . Diguli ye eya Master of Arts mu by’Eddiini era nayo yagifuna okuva mu yunivasite y’emu ey’e Rooma. Yalina ne Dipuloma mu by'Obulamu mu Byalo, Dipuloma mu Mpuliziganya y'Abantu, Dipuloma mu Philosophy & Social Science ne Satifikeeti mu Lulimi Oluyitale . Yafuna Dipulooma mu by'Eddiini, okuva mu Makerere University, yunivasite esinga obukadde mu Uganda, eyatandikibwaawo mu 1922. Lokodo era yalina Satifikeeti mu Lulimi Olugirimaani gye yafuna okuva mutendekero lye Austria ne Satifikeeti mu Lulimi Olufalansa, gyeyafuna okuva mutendekero e Paris, Bufalansa. [1]
Omulimu gwe nga mu nabya bufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Ku myaka 49, Lokodo yasooka kuyingira eby'obufuzi okuvuganya mu kulonda okw’enjawulo nga 29 Ogwomukaaga 2006, oluvannyuma lw’omubaka wa palamenti eyali atwaala ekitundu ekyo okufa. [2] Yayimirizibwa Paapa Benedict XVI okuva ku mirimu gye egy’obusaserdooti oluvannyuma lw'okuyingira eby'obufuzi. [3] [4] Yawangula akalulu ak'enjawulo era n'atandika okukiikirira Dodoth County mu Disitulikiti y'e Kaabong mu palamenti. [5] Mu Gwokubiri 2009, yalondebwa ku kabineti nga Minisita w’eggwanga Omubeezi ow’Eby'amakolero ne Tekinologiya. [6] Mu nkyukakyuka mu kabineti eyakolebwa nga 27 Ogwokutaano 2011, yakyusibwa n'atwalibwa mu by'Empisa n'Obwensiimbu, ng'addira Nsaba Buturo mu bigere . [7] Mu nkyukakyuka ya kabineti eyakolebwa nga 1 Ogwokusatu 2015, yesigaza ekifo kye mu kabineti. [8]
Yali amanyikiddwa nnyo olw’okusomooza abali b'ebisiyaga mu ngeri zonna. Mu 2012, ye ne poliisi baazinda omusomo gw’abalwanirizi b’ebisiyaga ne bagugalawo. Yayogeddeko ng'agamba nti, "Olukungaana luno ndugaddewo kubanga lumenya mateeka. Mu Uganda tetukkiriza bisiyaga." Ono era yanenya abagwiira, ng'agamba nti balina "okudda eka". Ekitongole kya Amnesty International kyavumirira nnyo ekikwekweto kino. [9]
Mu 2014, Stephen Fry yabuuza Lokodo mu Stephen Fry: Out There, gye yayogerwako ng'agamba nti "...abasajja basobya ku bawala. Ekintu kya butonde." [10] [11] [12] Oluvannyuma Fry yategeeza mu 2016 nti yali agezezzaako okwetta mu ssaawa ezaddako oluvannyuma lwa yintaviyu. [13]
Mu Gwokubiri 2014, etteeka ly’ennyambala lyasibwaawo, ng’okusinga ligenderera abakyala. Engoye ezitwalibwa ng’eziraga oba ezisikiriza okwegatta zaali za kuwerebwa mu mateeka; "Bw'oyambala mu ngeri esikiriza ebirowoozo n'okucamula abantu olwo oba oyambala bubi; bw'osikiriza omuntu omulala ebweru eyo n'ekigendererwa ekibi eky'okumucamula n'okumusika mu kaboozi k'ekikulu," Lokodo bwe yategeezezza. [14] [15]
Yaweereza ng'Omubaka omulonde mu Paalamenti ngkiikirira Dodoth County mu Disitulikiti y'e Kaabong okutuusa lwe yafiirwa ekifo kya Paalamenti mu Gwoluberyeberye 2021. We yafiira nga 29 Ogwoluberyberye mu 2022, yali akola nga memba w’Akakiiko Akavunaanyizibwa ku Ddembe Ly’obuntu mu Uganda. [16]
Ebimukwatako n’okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Kigambibwa nti Lokodo yali ayogera n'okuwandiika obulungi Olungereza, Oluyitale, Olufalansa, Olugirimaani n'Olusipaana . [17]
Yafiira mu kibuga Geneva nga 29 Ogwoluberyeberyemu 2022, ku myaka 64 ekirwadde kya COVID-19. [18] [16] [19]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Profile of Father Simon Lokodo, Member of Parliament for Dodoth County West, Kaabong District". Parliament of Uganda. 2011. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ "In Brief: Mbale - Two Nominated In Kaabong By-Election". 19 June 2006. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ Kleinveld, Thomas (21 May 2014). "Uganda's Moral Crusader Simon Lokodo - 'The Whites Are Spreading Pornography and Homosexuality'". Radio Netherlands Worldwide via AllAfrica.com. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ "Pope Fires Father Lokodo From Priesthood". Clerical Whispers BlogSpot. 31 August 2011. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ Nakaggwa, Flavia (30 June 2006). "In Brief: Simon Lokodo Is MP". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ "Full Cabinet List As At 18 February 2009". 18 February 2009. Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook.com. 27 May 2011. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). 1 March 2015. Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ "Uganda Gay Workshop Raided by Ethics Minister Lokodo". BBC News. 14 February 2012. Retrieved 23 March 2015.
- ↑ Iaccino, Ludovica (26 February 2014). "Ugandan Reverend Simon Lokodo: 'Child Rape Better Than Homosexuality'". International Business Times. Retrieved 25 March 2014.
- ↑ Macdonald, Neil (27 February 2014). "From Uganda To The U.S. Bible Belt, The Proliferation of Gay Discrimination Laws". CBC News. Retrieved 25 March 2014.
- ↑ "Ugandan Reverend Says Heterosexual Child Rape Preferable To Homosexuality". The Times. 26 February 2014. Archived from the original on 3 December 2024. Retrieved 25 March 2014.
- ↑ "Stephen Fry says the 'frothing' homophobia of Ugandan politician led him to try to kill himself". Independent.co.uk. 6 February 2016.
- ↑ Heuler, Hillary (19 February 2014). "New Law Bans Miniskirts In Uganda". Voice of America. Retrieved 25 February 2014.
- ↑ Kimani, Peter (20 February 2014). "Skirting Around The Issue Is M7's Way of Exciting Interest In Regional Politics". The Standard. Retrieved 25 February 2014.
- 1 2 "Former Ethics Minister Fr Simon Lokodo dies". Watchdog Uganda (in British English). 2022-01-29. Retrieved 2022-01-29.
- ↑ "Our politicians: Simon Lokodo". Archived from the original on 13 March 2012. Retrieved 2 June 2011.
{{cite web}}: CS1 maint: bot: original URL status unknown (link) - ↑ "Fr Lokodo died of Covid-19". 7 February 2022.
- ↑ Charles Etukuri (29 January 2022). "Former ethics minister Fr Simon Lokodo dies aged 65". New Vision. Retrieved 29 January 2022.