Simon Peter Kinobe
Simon Peter Kinobe Munnayuganda, munnamateeka, era mulwanirize w'eddembe ly'obuntu.[1] Ye ssentebe w'olukiiko olukulembera ebibiina by'obwa nakyewa[2] era yaliko pulezidenti w'ekibiina kya bannamateeka,[1][3][4][5][6] okuva mu 2018 okutuusa 2020.[2]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kinobe yasomera ku Makerere High School Migadde,[7] naagenda ku Ssettendekero wa Makerere gy'eyafunira ddiguli esooka mu by'amateeka, alina ne Dipulooma munkola y'amateeka okuva ku "Law Development center"[8] okutuusa 2024, yali akola ddiguli ey'okubiri mu "Energy Law and Policy" okuva ku Dundee University mu Scotland.[2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu gw'ekkumi n'ogumu 2022, Kinobe yalondebwa Minisita w'ensonga z'omunda nga ssentebe w'olukiiko olukulembera ebibiina by'obwanakyewa.[9]
Nga 7 og'wokuna 2018, Kinobe yalondebwa banamateeka nga Pulezidenti w'ekibiina ekigatta banamateeka mu Yuganda obukulembeze obumala ebbanga lya mwaka gumu mu kalulu akaali ku "Imperial Resort Beach Hotel" Entebbe. Yawangula akalulu n'obululu 760 ate ye gweyavuganya naye naafuna obululu 268.[10][11][12] Kinobe yeyaddira Francis Gimara mu bigere[10] eyali amaze emyaka ebiri ku bukulembeze okuva 2016 okutuusa 2018.[8][13][14] Nga tanalondebwa, Kinobe yakiikirira ekitundu ky'amasekkati ga Yuganda ku lukiiko lw'ekibiina ekigatta banamateeka okumala emyaka ebiri.[8] Yakola okumala ebisanja bibiri okutuusa ebbanga lye bwe lyagwako mu mwezi ogw'okuna, 2020, [15] naasikirwa Phoena Wall.
Kinobe yakola nga kalabaalaba omukulu w'emirimu gya Gavumenti, omu kubatandisi era omu ku bakulu ba Kinobe -Mutyaba Advocates (KMT advocates). Asomesa n'amateeka ku Ssetendekero we Kampala International.
Byalwaniridde
[kyusa | kolera mu edit source]Mu gw'ekkumi 2022, Kinobe yawagira eteeka ly'okukozesa kopyuta mu bukyamu ng'agamba nti "Banna Yuganda beetaaga okukimanya nti okuba ne ddembe okwogera tekitegeeza kwogera nga tofuddeyo nti era bwekiri mu nsi yonna".[16]
Mu Gw'omwenda 2020, Kinobe nga pulezidenti w'ekibiina ekigatta bannamateeka mu Yuganda, yawandiika ekiwandiiko nga yemulugunya ku kukwatibwa n'okusibibwa kwa ba puliida mungeri emenya amateeka ku biragiro bya "Internal Security Organization". Kooti yayanukula era neeragira amajje ne poliisi okuleeta bebaali basibye mu Kooti eyawaggulu emisango egibavunanibwa giwulirwe.[17][18]
Mu Gw'ekkumi 2019, Kinobe ng'ayita mu kiwandiiko n'obubaka bweyayisa ku mutimbagano, yasaba ba memba b'ekibiina ekigatta bannamateeka okwenyigira mu kusonda ensiimbi okuyambako munnamateeka munnabwe Peter Kibirango eyali akubiddwa abatemu abaali tebamanyikiddwa.[19]
Obutakkaanya bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwomunaana gwa 2021, ba puliida babiri baasaba kooti okulemesa okulonda mu kibiina ky'abannamateeka okwali kulina okubaawo mu gw'Omwenda mu 2020 ku bigambibwa nti Kinobe yalonda akakiiko ak'ebyokulonda mu bukyamu bweyalonda ba memba 4 bokka mukifo kya ba memba 5 abaali balina okulondebwa ku kakiiko.[20]
Obukiiko kwatuula
[kyusa | kolera mu edit source]Kinobe mukiise ku bukiiko obwenjawulo ku bitoongole ebyenjawulo nga bino wamaanga;[21]
- Memba wa International Bar Association
- Mukiise ku lukiiko olufuzi olwa NGO Bureau
- Mukiise ku lukiiko lw'ekibiina ky'abannamateeka mu Uganda (yaliko Pulezidenti w'ekibiina ekigatta bannamateeka mu Uganda)[22][23]
- Memba wa East African Law Society
- Memba mu Kibiina ekigatta Bannamateeka Abakulisitayo mu Uganda
- Memba wa Kakiiko k'Ettendekero lya bannamateeka
Laba na bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijjuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_145821
- 1 2 3 "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-20. Retrieved 2025-06-22.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://observer.ug/news/headlines/66520-who-will-win-uganda-law-society-presidency
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-20. Retrieved 2025-06-22.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.independent.co.ug/judges-asked-to-avoid-unnecessary-case-adjournments/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/uls-calls-crisis-meeting-over-mediation-centre-1824564
- ↑ https://makererehighschoolmigadde.ug/history-of-makerere-high-school-migadde/
- 1 2 3 https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_148582
- 1 2 https://softpower.ug/law-society-elects-kinobe-as-new-president-deputised-by-pheona-wall/
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2018/04/kinobe-elected-uganda-law-society-president.html
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/65662-colonel-kaka-s-grim-crimes
- ↑ https://uls.or.ug/past-presidents/
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2020/09/pheona-steps-in-kinobes-shoes-as-new-law-society-president.html
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2020/04/lawyer-ssemakadde-law-society-boss-in-war-of-words-over-insults-against-new-dpp-abodo.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_145821
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/court-orders-army-police-to-produce-arrested-lawyer--1841410
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/lawyers-criticise-iso-over-abductions-1841372
- ↑ https://chimpreports.com/city-lawyer-dies-after-attack-colleagues-seek-justice/
- ↑ https://chimpreports.com/lawyers-rush-to-court-to-block-uls-elections/
- ↑ https://kmtadvocates.com/index.php?page=kinobe
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/oped/commentary/kinobe-should-learn-more-about-parliament-work-1897202
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/uls-race-lawyers-promise-to-make-society-great-again-1895964