Jump to content

Solome Nakaweesi Kimbugwe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Solome Nakaweesi Kimbugwe Munnayuganda omulwanirizi w’abakyala, omuwi w’amagezi ku nkulaakulana y’ensi yonna, era omukulembeze w’endowooza ng’alina obumanyirivu obusoba mu makumi asatu mu kutumbula eddembe ly’abakyala, obwenkanya mu kikula ky’abantu, n’obwenkanya mu bantu okwetoloola Africa. Abaddeko mu bifo by’obukulembeze mu bibiina ebinene ebirwanirira eddembe ly’abakyala era ne mu kukola enkola, okuzimba okutambula, n’okusomesa abakyala. [1]

Obuto n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Solome Nakaweesi Kimbugwe yazaalibwa Sarah Naiga‐Muwayira n’omugenzi Gaster Muwayire‐Nakana Kimbugwe. [1] Pulayimale yagisomera ku ssomero lya Uganda Martyrs Namugongo, Siniya naagisomerako ku Gombe Secondary School, era naagimaliririza ku Trinity College Nabbingo . [1]

Yafuna diguli esooka eya Bachelor of Social Science okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 1997 ne diguli eyookubiri mu by’enkulaakulana okuva mu yunivasite ya University of East Africa Anglia, Norwich, Bungereza, mu 2000. [1] [2]

Emirimu egyasooka ne UWONET

[kyusa | kolera mu edit source]

Nakaweesi yatandika okulwanirira eddembe mu myaka gya 1990. Yaliko omukwanaganya w’ekibiina kya Uganda Women’s Network (UWONET), omukago ogukulembedde mu kulwanirira abakyala n’okubanoonyeza emikisa mu Uganda. Mu kifo ekyo, yasiimibwa olw’okugaziya enkolagana ng’ayita mu nkolagana n’emikutu gy’amawulire n’okuddukanya abantu oluusi abaali abazibu bookukolagana nabo n’obukugu. [1] [3]

Yafuuka muttutumufu okusingawo mu 2006, ngali wamu n’ekibinja ky’abakyala abalwanirizi b’eddembe, baayanjula era ne balwanirira nnyo omuzannyo ogwasooka mu Uganda ogwa The Vagina Monologues – omuzannyo ogukwata ku butabanguko mu by’okwegatta ku bakyala. Okufulumya kuno kwawerebwa olukiiko lw’amawulire, kyokka kampeyini eno yaleetawo okukubaganya ebirowoozo okunene ku ddembe ly’abakyala mu by’okwegatta n’obutabanguko obwekuusa ku kikula ky’abantu. [1] Nga yeefumiitirizza ku kitundu ekyo, oluvannyuma Nakaweesi yawandiika nti kampeyini eno “yasumulula omuwendo gw'okuwakanyizibwa omunene” era n’eguteeka akabi ak’amaanyi eri ekibiina ky’abakyala, wabula ate kyawaliriza emboozi eyali yeetaagisa mu bantu ku by’okwegatta n’okufugibwa kw’abakyala. [4]

Akina Maama wa Afrika

[kyusa | kolera mu edit source]

Ku ntandikwa ya 2007, Nakaweesi yalondebwa okuba Executive Director w'ekitongole kya Akina Mama wa Afrika, ekitongole ekigatta abakyala ba African nga ekitebe kyabwe ekikulu kiri London (oluvannyuma ne kigenda e Kampala). Ono ye mukyala Munnayuganda eyasooka okukwata ekifo kino, kye yayogerako ng’ekyalimu okuvuganya okw’amaanyi. [1] [5]

Mu kiseera kye, yakulembera enteekateeka mu kukulaakulanya obukulembeze bw’abakyala, okubunyisa enkola, n’okuzimba entambula okwetoloola ssemazinga. Era yawagira emirimu gya ofiisi ya Akina Mama ey’ekitundu eyali mu Kampala, ng’agenda mu maaso n’okufuga emirimu gy’eddembe ly’abakyala mu Uganda. [1] [6]

Ekitongole kya Nabagereka Development Foundation

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma Nakaweesi yaweereza ng’akulira ekitongole kya Nabagereka Development Foundation, ekyatandikibwawo nga kiri wansi w'okulungamizibwa kwa Nnabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda. Mu kifo kino, yalabirira pulogulaamu ezikwata ku kugonjoola ensonga y'okufuna embuto mu bavubuka, okusomesa abawala, n’okutumbula amaka. [7] [8] Omulimu gwe gwalagibwa mu mikutu gy’amawulire mu Uganda, omuli kaweefube w’okuyunga abawala n’abantu be beegomba n’okusiga empisa mu bavubuka. [9]

Okwebuuza, okusomesa n’obukulembeze obulimu okulowooza

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuva lwe yava mu mirimu gy’obukulembeze obukulu, Nakaweesi abadde akola ng’omuwi w’amagezi ku nkulaakulana y’ensi yonna eyeetongodde, ng’atadde essira ku kuzimba enteekateeka z’embeera z’abantu ezibatwala mu maaso, okubaga enkola, n’okulwanirira eddembe ly’obuntu. [10] Yaweereza ng’omukiise w’eggwanga mu kitongole kya Robert Bosch Stiftung, ng’akola ku pulojekiti z’okutumbula abakyala mu kukola okusalawo mu bitongole bya gavumenti. [11]

Asomesezzaako ne mu yunivasite y’e Makerere, ne mu yunivasite y’e Nkumba era ng’akola ng’omulungamya w’abanoonyereza mu Noragric University (kati ekitundu ku Norway University of Life Sciences ). [2]

Mu mboozi ey’akafubo ne New Vision mu 2020, Nakaweesi mu yakkaatirizza obukulu bw’okusiga ssente mu bukulembeze bw’abakyala, ng’agamba nti: “Tulina okussa ssente mu bukulembeze ng’abakyala. Tukooye abakyala okukola okumala emyaka egisukka mu 30, ne bawummulira mu bwavu.Abakyala bwe basituka, ensi yonna esituka.” [12]

Okubunyisa amawulire kwe n’ebifo mwabadde

[kyusa | kolera mu edit source]

Eddembe ly'abakyala mu LBQ

[kyusa | kolera mu edit source]

Nakaweesi abadde awagira nnyo obutasosola bakazi abaagala bakazi bannaabwe, n’abakazi abaagala abasajja n'abakazi omulundi ogumu, wamu naabo abeeyisa mu ngeri etakwatagana n'ambeera z'abantu baabulijjo (LBQ), mu lutalo lw’okulwanyisa obutabanguko obwekuusa ku kikula ky’abantu. Mu ndowooza gye yawa mu 2018 eri Kuchu Times yagamba nti “abakyala bano abatono mu kikula boolekedde okuyisibwa obubi ennyo olw’obunafu bwaffe” era n’asaba okukola “ng’ekibiina ekigazi n’okubuna ebibiina” okulaba ng’abakyala bonna bayisibwa kimu. [13]

Mu 2009, yawandiika ekiwandiiko ngali ne Frank Mugisha ng’alabula nti ekiteeso ky’etteeka erirwanyisa ebisiyaga lyanditondawo “omulembe omuli embeera y'obukambwe ku bantu” erimu abantu okuwalirizibwa okubega bannaabwe. [14]

Abakyala abali mu mirimu gya gavumenti

[kyusa | kolera mu edit source]

Ng’ayita mu mirimu gy’akoze n’akakiiko k'obwenkanya aka Equal Opportunities Commission, wamu ne pulojekiti ya Women in Public Sector (WiPS), Nakaweesi abadde awagira okweyongera kw'okukiikirira mu abakyala mu bifo eby’awaggulu mu gavumenti. Yalaga enjawulo eriwo mu kwetaba kw’abakyala mu mirimu gya gavumenti, n’asaba okuzimba obusobozi okusobozesa abakyala okulwanirira eddembe lyabwe n’okukuuma ebifo byabwe. [12]

Okuzimba ekibiina ky’abakyala

[kyusa | kolera mu edit source]

Nakaweesi akoze kinene mu kugaziya eddoboozi ku nsonga z’abakyala ng’ayita mu kuwandiika kwe. Awandiikidde openDemocracy [15] ne Pambazuka News [16] ku miramwa egyekuusa ku bwenkanya mu kikula ky’abantu n’enkulaakulana.

By'afulumizza wamu n'entereeza ze mu mirimu gy’okuwandiika

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebiwandiiko bya Nakaweesi bifulumidde mu bitabo by’abayizi ebiwerako n’ebitabo ebikuŋŋaanyiziddwa. Omulimu gwe gujuliziddwa mu:

Gender and Development in Africa[17]

Women and Power in Africa[18]

The Palgrave Handbook of African Women’s Studies[19]

Regional Consultative Meeting on Women’s Leadership Report (co-editor)[20]

Okulabikira kwe ku mikutu gy’amawulire

[kyusa | kolera mu edit source]

Nakaweesi alabiseeko ku ttivvi y'eggwanga lya Uganda ne ku mikutu gy’ensi yonna. Yeetaba mu pulogulaamu ya AfricaLink podcast ku DW, ng’ayogera ku nsonga z’ensangi zino ezikwata ku bakyala n’amaka. [21]

Ebigambo bye ku ky'omwenkanonkano mu kikula ky'abantu n'okutumbula ebyenfuna bibadde bifulumizibwa ekitongole kya New Vision, The Monitor, ne Uganda Radio Network . [1]

Obulamu bwe obw’omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Nakaweesi maama w’abaana babiri. Mu mboozi gye yawa mu 2007, yayogera nti okufumbirwa taata w’abaana be ng’akyali muyizi wa yunivasite, n’oluvannyuma n’asalawo okusoma e Bungereza wadde nga bba yasooka kumuwakanya, kyali kikulu nnyo mu kukola omulimu gwe. Agamba nti by’atuuseeko byazibula bba amaaso n’amulaba ng’omubeezi okusinga “akawala akatono ke yali yawasa”. [1]

Ayogeddeko mu lujjudde ku kitaawe omugenzi, Gaster Muwayire‐Nakana Kimbugwe, n’engeri famire ye gye yayambamu mu mirimu gye. [1] Mu kwogera kwe okukulu mu musomo gw’ekitundu ogwa 2009 ku balwanirizi b’eddembe ly’obuntu, yaggumiza obukulu bw’okwefaako, okukuza enkolagana ez’obuyambi, n’okukozesa “amaanyi g’ennyambala, sitayiro n’okukwatagana” ng’ebikozesebwa mu kulwanirira eddembe ly’obuntu. [22] Ebweru w’emirimu egy'ekikugu, ayagala nnyo emisono era awagira abayiiya n’abakozi b’emisono mu Africa, ng’atunuulira okutumbula ebyenfuna n'enkwatagana yaabyo n’okujaguza okwolesebwa kw’obuwangwa ng’ayita mu bya art and design.

Omuyimbi Winnie Byanyima, Patricia Munabi Babiiha, Rita Aciro ,Tezira Jamwa, Esther Opoti Dhugira.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 https://www.newvision.co.ug/news/1172090/career-cost-nakaweesi-family
  2. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2026-04-16. Retrieved 2026-05-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://allafrica.com/stories/200501280669.html
  4. https://justassociates.org/wp-content/uploads/2022/02/women_navigate_power-stories_of_rights_to_work.pdf
  5. https://pambazuka.org/governance/akina-mama-wa-afrika-appoint-new-ed
  6. https://www.afyanahaki.org/team/solome-nakaweesi/
  7. https://ugandaradionetwork.net/story/nabagereka-foundation-out-to-curb-teenage-pregnancy?districtId=732
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nabagereka-foundation-to-focus-on-teenage-pregnancies-1574508
  9. https://www.newvision.co.ug/category/entertainment/girls-connect-with-role-models-at-imara-festi-NV_170433
  10. https://www.psi.org/sctg-leadership/solome-nakaweesi-kimbugwe/
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2026-04-21. Retrieved 2026-05-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. 1 2 https://www.newvision.co.ug/news/1523584/eoc-calls-women-senior-government-positions
  13. https://www.kuchutimes.com/2018/10/opinion-inclusion-of-lbq-women-in-the-struggle-against-gender-based-violence-in-uganda/
  14. https://www.opendemocracy.net/en/5050/ugandan-gays-and-muslim-womena-common-struggle-to-redefine-family/
  15. https://www.opendemocracy.net/en/author/solome-nakaweesi-kimbugwe/
  16. https://www.pambazuka.org/index.php/author/solome-nakaweesi-kimbugwe
  17. https://books.google.co.uk/books?id=6GHaAAAAMAAJ&q=solome+nakaweesi
  18. https://books.google.co.uk/books?id=MKbqAAAAMAAJ&q=solome+nakaweesi
  19. https://books.google.co.uk/books?id=o_PiEAAAQBAJ&pg=PA123
  20. https://books.google.co.uk/books?id=QugWCgAAQBAJ&pg=PA216
  21. https://www.dw.com/en/whats-pushing-so-many-wives-to-walk-away/av-62699464
  22. https://www.defenddefenders.org/wp-content/uploads/2017/05/Report-of-Regional-Workshop-on-Women-and-Minority-Human-Rights-.pdf

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

LinkedIn profile Akawunti ya Twitter/X Instagram Profile