Jump to content

Solomon Male

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Moses Solomon Male (lyatulwa nga ‘mal-eh’) mubuulizi w'ekkanisa y'aba Pentekooti mu Uganda era nga ye dayirekita w’ekibiina kya Arising For Christ. Mwogezi nnyo era avumirira ebikolwa by'obuli bw'enguzi mu kkanisa naddala ezo ezitumbula eby'eddiini by'okukulaakulana [1] [2] by'ayita "enjiri y'okunyaga".

Male yazaalibwa nga 17 Ogwomunaana 1962, era n’afuuka Omukristaayo nga 31 Ogwekkumi 1987.

Obuweereza bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1988 yafuuka omu ku baweereza b'ekkanisa eya Holy Church of Christ, "New Chapter" ey'addamu n'etuumibwa erinnya lya The Synagogue Church of All Nations, ng'abakulembeze baayo n'abasabirayo baali bagoberezi ba John Obiri Yeboah, eyali Faaza w'Abakatuliki Omunnaghana eyajja mu Uganda. Male yava mu kkanisa eyo mu 1992, n’agivumirira nti baali basinza muntu [3] Mu 1993 Male yakwatibwa olw’okulumiriza ekkanisa, kyokka oluvannyuma n’ayimbulwa era omusango ne gumuggyibwawo. [4]

Mu 1999 yatandikawo ekibiina ky’Abakristaayo ekya Arising for Christ (ARCH). [5] Ekibiina ekigambibwa okutandiikobwa mu Gusooka 2008 nga kyali kyakuŋŋaanya olukalala lw’abakkiriza 300 abalumiriza abasumba b'abalokole okubba ssente, okufera, okubakabasanya ng'abaddu mu n’emisango emirala. [5]

Mu mboozi ey’akafubo n'aba Financial Times, Male yeewozezzaako nti yali agoberera Martin Luther ebyasa bingi emabega eyali avumirira ebikolwa eby’obugwenyufu, okwegyalabya n’obuli bw’enguzi mu bannaddiini banne. Agerageranya okukozesa obubi abalwadde nga babasasuza ssente okubasabira ku kutuka okubaguzisa by'ebateetaaga :

"Omusajja eyayimirira okulwanyisa obubi mu kkanisa yali Martin Luther, kubanga yali awakanya okutunda ebintu ebitaliimu mugaso ebyali bikutaasa okuva mu geyena. Akaseera ke yatandika ekibiina ky'Abapolotesitante, kyawa essuubi nti ekintu bwe kiba ekikyamu, waliwo obusobozi okukitereeza."

Nga "akulira abavumirira enkola y'ebisiyaga" mu Uganda, [6] mmemba w'ekibinja ky'abasumba ab'amaanyi abakola kampeyini z'okulwanyisa ebisiyaga. [7]

Kampeyini zeyakola n'emisango gy'eyalwanako

[kyusa | kolera mu edit source]

Frances Adroa omulwadde wa siriimu, mu Gwomusanvu 2005 yasendebwasendebwa okuwaayo mmotoka ye eri abakulembeze b’ekkanisa ya Universal Church of the Kingdom of God mu Kampala ng’abamusuubiza okumuwonya mukenenya mu Kampeyini y’ekkanisa eya Church's Mount Sinai. Teyawonyezebwa. Mu kiseera embeera y’obulamu bwe yali yeeyongera okwonooneka, yasaba mmotoka ye emuddizibwe. Abakulembeze b’ekkanisa eno omwali Omulabirizi Gilson Costa n’omusumba Gerald Nkayi baasaba ssente (miliyooni bbiri) USh 2,000,000/ ( doola za Amerika ezisoba mu 1,200), mbu okusobola okugiddabiriza ensimbi z'atalina. Nga 17 Ogwokusatu 2007, yawulira Omusumba Male ku leediyo oluvannyuma n’amukubira essimu n’amusaba okumusisinkana amunyonyole engeri gye yafiirwamu mmotoka ye. Bwe yagasimbagana n’abakulembeze b’ekkanisa, okukkakkana nga bagimuddiza ng’eyonoonese. Male bwe yalangirira okuzzibwa kw'emmotoka mu mpapula z’amawulire n’emikutu emirala mu 2007, abakulembeze baamuwawaabira ne Adroa nga bamulanga kutyoboola erinnya lye. [8] Okuvunaana olw'okuvvoola kwalemererwa mu 2010, era enjuyi zombi zaalekebwa okwetikka emigugu gy'agyo. Adroa yali azzeemu okusaba okuddaabiriza emmotoka ye, kyokka kino nakyo kyagaana olw'ensonga nti omulamuzi yali tayagala kutondawo nkola eri abawaayo ssente okusaba ebirabo byabwe okubaddizibwa singa essaala eba tetuukiriziddwa. [9]

Solomon Male akola kampeyini z’okulaga embalirira z'ebyensimbi mu kkanisa. Agamba nti enkola y'okuwa abasumba ettaka, emmotoka oba ebintu by'omu nnyumba eri abasumba n'essuubi ly'okubawa emikisa, ekimanyiddwa nga "okusiga ensigo z'okukkiriza", ebunye wonna mu Uganda, era okutwalira awamu tegiyingizibwa mu biwandiiko by'amakanisa. Ategeeza nti obuyambi obw’engeri eno tebuloopebwa wadde mu bukiiko oba ababalirizi b’ebitabo, wabula butwalibwa okusasulwa kw’abasumba ssekinnoomu. Nga bagoberera alipoota ye, olupapula lw’amawulire olwa Sunday Vision lwakebera ebikwata ku kkanisa z’Abapentekooti kkumi na bbiri, ng’ezimu ku zo zaali zimanyiddwa olw’omuze guno; tewali n'omu yalangirira ssente zonna okuva mu "kusiga", newankubadde nga baali bafuna obuwumbi n;obuwumbi bwa sillingi, Kampala Pentecostal Church ne Redeemed Church zokka ze zaali zirina akawunti ezibaliriddwa mu ngeri ey'ekikugu . [10]

Male yasaba omulamuzi anoonyerezebwe ku musango gwa Susan Walusimbi, eyali yasendebwasendebwa omusumba okuganza omusajja ekkanisa gwe yali egamba nti yawonya mukenenya. Walusimbi agamba nti oluvannyuma omusajja ono yafa mukenenya; kati naye kennyini alina akawuka ka siriimu, era akozesa eddagala eriweweeza ku siriimu okusobola okusigala nga mulamu bulungi.

Okukwatibwa kwe n’okusingisibwa omusango

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwomunaana 2009, n’abasumba abalala bataano, yavunaanibwa abavubuka 6 okukuma omuliro mu bantu okuwa obujulizi obw’obulimba obw’okukabasanya abaana ku Musumba Robert Kayanja . [11] Mu Gwekkumi 2012, baasingisibwa omusango gw'okutattana erinnya lye nga bagenderera okutyoboola erinnya ly’Omusumba Kayanja. [12] Male ne banne baasasula engassi ya kakadde kamu aka sillingi bumu buli omu (nga doola za Amerika 390) era ne basalirwa ekibonerezo ky’okuweereza abantu okumala essaawa kikumi. Oluvannyuma lw’okujulira kwaabwe okwagaanibwa, omusango guno gwayongezebwayo mu kkooti enkulu mu Gwokubiri 2014. [13]

Eby'amunenyezebwako

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekibiina kya National Fellowship ky'egaana Male mu lujjudde mu 2006. Yaddamu n'ebbaluwa ng'avumirira "Omukulembeze w'eddiini" yaabwe John Obiri Yeboah n'abakulembeze abalala. [14]

Mu 2009 ekibinja ky'abasumba okuva mu bibinja bina eby'Abapentekooti baalangirira mu lujude Male nti "omulumiriza w'ab'oluganda ayogera nga taweereddwa buyinza". [15] [16]

Mu 2013, yawakanya eky’okugattululwa n’okuddamu okufumbirwa kw’Omulabirizi David Kiganda, ng'akkaatiriza nti ekikolwa kino kyali kikontana n’enjigiriza ya Baibuli. Ng’ayanukula ebigambibwa ng’ebyo, omusumba w’Abapentekooti Bishop David Kiganda, ssentebe wa disitulikiti y’e Kampala ow’ekibiina ekigatta amakanisa g'abalokole Ggwanga ekya National Fellowship of Born Again Churches, agamba nti abasumba b’Abapentekooti abatonotono be beenyigira mu mirimu egibuusibwabuusibwa. Ye n'ekibiina kya National Fellowship baakola pulogulaamu eyitibwa Operation Clean the House okuggya ababuulizi abatali beesimbu mu kibiina kino, era baalangirira amakanisa gaabwe 15 nga "abasinza omuntu."

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.newvision.co.ug/D/8/13/645168
  2. John Lloyd, "The riches of heaven", FT Weekend magazine, 25 October 2008.
  3. http://www.religionnewsblog.com/19614/false-pastors
  4. http://www.newvision.co.ug/D/120/126/134692
  5. 1 2 https://web.archive.org/web/20080602143409/http://www.monitor.co.ug/artman/publish/sun_news/City_pastor_held_over_defilement.shtml
  6. https://www.adelaidenow.com.au/news/bernard-randalls-trial-highlights-ugandas-homophobe-in-chief-pastor-solomon-male/news-story/4e52124e5f4e2f417619af0f584dd2ae
  7. https://www.theguardian.com/world/2013/feb/04/gay-people-uganda-love-run
  8. http://www.voanews.com/english/archive/2007-05/2007-05-27-voa7.cfm
  9. http://allafrica.com/stories/201006230808.html
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2012-03-13. Retrieved 2025-08-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://allafrica.com/stories/200908100318.html
  12. https://www.newvision.co.ug/news/1307919/pastor-kayanja-sodomy-accusers-convicted
  13. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/high-court-upholds-sentence-granted-to-pastor-ssempa-and-colleagues-1566056
  14. https://web.archive.org/web/20110725013600/http://www.arisingforchrist.org/?p=27
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2011-06-12. Retrieved 2025-08-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. http://allafrica.com/stories/200905070557.html