Ssekabaka Kayemba owa Buganda
Endabika
Template:Infobox monarchKayemba Kisisi yali Kabaka ow'omulundi ogwa 17 mu Bwakabaka bwa Buganda wakati wa 1690 ne 1704.
Okutuuzibwa ku Nnamulondo
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mutabani wa Kabaka Kateregga Kamegere owookusatu, Kabaka wa Buganda, eyafugira wakati wa 1644 ne 1674. Maama we yali Namutebi ow’ekika kya Mamba, nga ye yali ow’omunaana ku bakyala ba kitaawe mwenda . Yalinnya ku ntebe y'obwakabaka oluvanyuma lw'okufa kwa mukulu we. Yatandikawo olubiri lwe e Lunnyo, [1] okumpi n’ekibuga Entebbe, okumpi n’awali amaka g'obwa Pulezidenti amanyikiddwa nga Uganda State House eriwo kati gy’eyimiridde leero.
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Yawasa abakyala babiri:
- Nabbanja muwala wa Kasujja, ow’ekika ky’e Ngeye
- Nakku muwala wa Walusimbi, ow'ekika kya Ffumbe
Ensonga endala
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaala abaana ab’obulenzi basatu :
- Omulangira Sematimba, nga nnyina yali Nabbanja
- Omulangira Wakayima, nga nnyina yali Nabbanja
- Omulangira Kawumpuli, nga nnyina yali Nakku. Yazaalibwa n'obulemu (teyalina mikono n'amagulu) i era ekyamuviirako okugobebwa ku busika.
Emyaka gye egy'oluvannyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Kabaka Kayemba yafa akulirirdde mu myaka gya 1704. Aterekeddwa (aziikiddwa) e Nabulagala mu Busiro. [2]
Engeri Bakabaka gye bazze b'eddiringana
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 29.
- ↑ https://web.archive.org/web/20130615070042/http://www.buganda.com/kings.htm
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Olukalala lwa Bassekabaka ba Buganda Biterekeddwa