Ssekalowooleza Kibuuka Omumbaale

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okusinziira ku Muwanga Chales mu kitabo kye ,Bassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda Abedda, Kibuuka Omumbaale yali anoonyereza ku bukodyo bwa kijaasi era yalwaniranga mu bbanga mu miti gye yateegeranga omulabe n'amulasa obusaale ng'asinziira mu gabira agaali gajjudde wonna mu BUganda ey'edda.Olw'obwetaavu bw'okukuuma ebyama by'obyokwerinda, Abaganda baali bagezi ne bagamba nti alwanira waggulu mu kire okwewala okutegeeza omulabe ekituufu.