Ssemaduuka za Uchumi
Ssemaduuka za Uchumi zitera okuyitibwa Uchumi mu ngeri ennyangu, kkampuni za Ssemaduuka mu Kenya . Ekigambo uchumi kitegeeza "ebyenfuna" mu Luswayiri .
Okutwalira awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitebe ekikulu ekya Uchumi kiri mu Kenya . Okuva mu Gwokuna 2019 , Uchumi yali emu ku kkampuni za Ssemaduuka eziwerako mu Kenya eziweereza Kenya, omuli ezikulembedde akatale Naivas, Quick Mart ne Carrefour . Mu Gwomukaaga 2014, eby’obugagga bya kkampuni eno byali bibalirirwanu obukadde bwa ddoola za Amerika nga 78.8 (KES:6.885 billion), ng’emigabo gyayo gyali nga obukadde bwa ddoola za Amerika 38.4 (KES:3.357 billion). [1] We bwatuukira mu Gwekkuminebiri 2020 waliyo amaduuka asatu gokka mu Kenya.
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Kkampuni eno yatandikibwawo mu 1975 nga kkampuni ya gavumenti, kkampuni ssatu eza gavumenti ya Kenya omwali: Industrial and Commercial Development Corporation, Kenya Wine Agencies Limited (KWAL), ne Kenya National Trading Corporation. Ekigendererwa ekikulu mu kiseera ekyo kyali kya kutondawo bifo omutundirwa ebintu mu bwenkanya n’okutondawo ebifo awatundirwa ebintu eby’amakolero mu Kenya. Mu 1976, bannannyini migabo gya Uchumi baakola endagaano ne Standa SPA, kkampuni ya Ssemaduuka za Italy, okutendeka Bannakenya okuddukanya kkampuni empya. Emigabo gya kkampuni eno gyateekebwa ku mukutu gw'okusuubulirako emigabo ogwa Nairobi Stock Exchange (NSE) mu 1992.
Uchumi yaggalwawo wadde nga yasooka kuggalwawo kaseera buseera, era nekwasibwa omuntu omulala okujiddukanya olw'amabanja ge yali elina mu Gwomukaaga 2006 oluvannyuma lw’emyaka 30 ng'eri mu kisaawe kya bizinensi. [2] Mu kiseera kye kimu kyaggyibwa ne ku lukalala lwa NSE. Mu kiseera ekyo, okuggalwa kwayo kwayogerwako ng'ekimu ku bubenje bw'amakampuni obusinga obunene mu byafaayo bya Kenya". [3] Enteekateeka ya Gavumenti okuvaayo okununula kkampuni eno yatandikibwawo era ebifo bitaano eby’okutunda eby’amaguzi ebya Uchumi bye byaggulwawo nga 15 Ogwomusanvu 2006 mu Nairobi wansi w’abaddukanya ab’ekiseera n’omulabirizi. [4]
Ogusooka 2011, amaduuka gano gaali gazeemu okukola amagoba era baasaba ab'ekitongole ekiddukannya obutale akya Kenya Capital Markets Authority okuddizibwa nate ku lukalala lw'obusuubuzi bw'emigabo olwa NSE.[5] Okusaba kwaabwe okuddizibwa ku NSE kwakkirizibwa mu Gwokutaano 2011 era n'okutunda emigabo mu Uchumi kwaddamu nga 31 Ogwokutaano 2011.[6]
Obw'annannyini
[kyusa | kolera mu edit source]Bwe bwatuukira mu Gwomusanvu 2014, emigabo gya kkampuni gyonna gyali giwandiikiddwa ku lukalala lwa NSE, nga basuubulira mu kabonero ka "UCHM". Emigabo gino era gyateekebwa ne ku mukutu gw'okusuubulirako emigabo ogwa Rwanda Stock Exchange[7] ne ku Uganda Securities Exchange.[8] Kkampuni eno yakkirizibwa ku mukutu gw'okusuubulirako emigabo ogwa Dar es Salaam Stock Exchange okutandiika nga 15 Ogwomunaana 2014.[9] Abantu omukaaga abasinga emigabo mu kkampuni okuva mu Gwokuna 2015 mwalimu:[10]
| Eddaala | Erinnya lya Nnyinimu | Ebitundu ku kikumi eby’obwannannyini |
|---|---|---|
| 1. 1. | Bbanka ya Jamii Bora | 15.8 |
| 2. 2. | Minisitule y'ebyobusuubuzi mu Kenya | 14.6 |
| 3. 3. | Pawulo Wanderi Ndung'u | 5.4 |
| 4. 4. | KWAL Holdings | 4.3 |
| 5. 5. | Equity Nominees: Ac:00111 | 4.1.1 |
| 6. 6. | Karim Jamal | 2.3 |
| 7. 7. | Internationalé de Háfs ey'omulundi ogwa 16 | 1.1.1 |
| 8. | Abalala nga biyita mu butale bw’emigabo mu buvanjuba bwa Afrika | 52.3 |
| Omugatte | 100.00 | |
Amatabi g'elina
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu Gwokuna 2019, Ssemaduuka ono yasobola okubezaawo amaduuka mukaaga gokka mu Kenya:[11]
Olukalala lw’Amatabi g'elina mu Kenya
[kyusa | kolera mu edit source]Olukalala lw’amatabi ga Uchumi mu Kenya: [12]
- Ettabi ly’e Langata – Nairobi
- Ettabi lya Nairobi West – Nairobi
- Ettabi ly’oku luguudo lw’e Ngong (Adams) – Nairobi
- Mu 2015 Uchumi yalina amaduuka 37. Amaduuka 34 gaggalwawo.
Okuggalwawo kw'amaduuka agataali ga Kenya
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwomukaaga 2015, Uchumi yagoba akulira emirimu gyayo n'akulira ebyensimbi mu kiseera ekyo, olw'okweyisa obubi n'obulagajjavu obw'ekika eky'awaggulu". [13] Mu Gwomusanvu 2015, kkampuni eno yapangisa ekitongole ky'abannamateeka ab'ebuuzibwako mu Kenya okusobola okunoonyereza ku bubbi bw’abakozi mu maduuka ga kkampuni eno. [14] MuGwomunaana 2015, Uchumi yapangisa CEO. [15] Mu Gwekkumi 2015, Ssemaduuka ono yaggalawo amaduuka gaayo gonna mu Uganda ne Tanzania, nga bagamba nti gaali tegakola magoba. [16] Mu nkola eno, abaali abakozi 900 baagobwa mu mawanga gombi, [17] [18] nga ku bano 400 baali mu Uganda. [19] [20]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Uchumi (September 2014).
- ↑ http://news.bbc.co.uk/1/hi/business/5040700.stm
- ↑ "The man who tamed Kenya's 'greatest corporate disaster'". The Nairobian. 9 February 2014. Retrieved 26 August 2015.
- ↑ https://web.archive.org/web/20140531105650/http://kenya.uchumicorporate.co.ke/about-us/history
- ↑ Wafula, David (26 January 2011).
- ↑ Wahome, Mwaniki (25 May 2011).
- ↑ Mugwe, David (14 October 2013).
- ↑ Mugwe, David (13 November 2013).
- ↑ Ciuri, Simon (5 August 2014).
- ↑ Juma, Victor (5 April 2015)
- ↑ Mutegi, Mugambi (25 November 2015).
- ↑ http://uchumicorporate.co.ke/kenya/feedback-contact-us
- ↑ http://www.businessdailyafrica.com/Corporate-News/Uchumi-CEO-sacked-for-gross-misconduct--negligence/-/539550/2752488/-/f5k06gz/-/index.html
- ↑ Ciuri, Simon (28 July 2015).
- ↑ David Evans, Humphrey Malalo and Edmund Blair (25 August 2015).
- ↑ Ngugi, Brian (14 October 2015).
- ↑ Ciuri, Simon (14 October 2015).
- ↑ Mutegi, Mugambi (15 October 2015).
- ↑ Semakula, Othman (14 October 2015).
- ↑ Mark Keith Muhumuza, and Othman Semakula (20 October 2015).
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Official website
- Uchumi Stock Quote At Reuters.com
- Uchumi Resumes Trading At The Nairobi Stock Exchange
- Uchumi Appoints Jamii Bora Chief To Its Board
- Uchumi Supermarkets shuts down four outlets
- Uchumi sacks 900 Uganda, Tanzania staff, closes all stores outside Kenya
Lua error: Invalid configuration file.