Ssewa Ssewa
James Ssewakiryanga Junior,[1] mu by'ekikugu amanyiddwa nga Ssewa Ssewa,[2] muyimbi wa Uganda omuyimbi ayiimba enyiimba butereevu, omukubi w'ebivuga ebingi, eyatandika wo Janzi Band era omuyiiya wa Janzi,ekivuga.
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mutabani w’omukubi w’engooma ow’ekinnansi era omuzinyi,Ssewa Ssewa tafunangako kutendekebwa kwonna kwa kikugu. Ekivuga kye ekyasooka kyali gaali madinda,nga era yasomesebwa nnyina.Yatandika okusoma byabusubuuzi mu yunivasite,kyokka oluvannyuma lw’okuzzibwamu amaanyi n’okusomesebwa bammemba ba bbandi ya kitaawe, n’asalawo okuyimba.
Ssewa Ssewa yatandika okukuba ennyimba mu ngeri ey’ekikugu mu 2000.Yatandikawo Janzi Band[3] ng’ali wamu ne mikwano gye mu 2009 era okuva olwo y’abadde omukulembeze waayo.
Akuba ebivuga mwenda, munaana ku byo bya Afirika, [4] era nga mukugu omukubi webikuba.[5]
Ssewa Ssewa abadde atera okuyimba butereevu. Ayimbye ku siteegi nnyingi mu Uganda n’ebweru w’eggwanga era akoze n’abayimbi bangi omuli Quela Band,[6] Navio,A Pass,Isaiah Katumwa,Suzan Kerunen, Mame Ndiak, Giovanni Kiyingi ne Hugh Masekela . [ citation needed ] Yali omu ku bayimbi abakulu ku lunaku lw’okuyimba mu nsi yonna mu Uganda mu mwezi gwomukaaga 2017 ng’ali wamu ne Apio Moro, Haka Mukiga, Mame Ndiak,Jackie Akello n’abalala bangi. Yayimba ne Giovanni Kiyingi,muyimbi munne akuba ebivuga ebyenjawulo.[7]
Mu 2024 Ssewa Ssewa yayimba mu lukiiko lw’ekibiina kya Non-Aligned Movement ku Serena hotel e Kigo era n’asanyusa ababaka ba NAM n’amaloboozi ge agenyimba zobuwangwa nekivuga kya Janzi .[8]
Engule n’okusunsulwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2021 Ssewa Ssewa yategeka engule za Janzi ezaaliwo ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo nga 11 okutuuka nga 12 omweezi ogw'ekumi nebiri 2021 era nga zaaliwo okumala ennaku bbiri mu kifo kye kimu.[9] [10] Ssewa Ssewa abadde amanyiddwa ebitongole by’okuyimba eby’enjawulo mu Bungereza. Yasunsulwa mu mpaka za World Music Awards mu mutendera gw’engule ya fusion ezisinga obulungi mu nsi yonna n’ensi yonna.[11] Wadde teyavaayo ng’omuwanguzi, okusunsulwa kuno kwayongera ettutumu lye mu nsi yonna.
Obuzirakisa
[kyusa | kolera mu edit source]Ssewa Ssewa yatandikawo ekibiina ky’obwannakyewa ekiyitibwa Janzi4Hope nga kigendereddwamu okukyusa obulamu bw’abantu abataliiko mwasirizi mu Uganda ng’ayita mu mirimu gy’okuyimba egyakulemberwa ekibiina kya Janzi Instrument.[12] Mu 2022,Ssewa Ssewa ne Janzi Band baakuza olunaku lw'ensi yonna olw'obulwadde bwa autism ne bayimba ku kyalo Nile mu Disitulikiti y'e Jinja mu Buvanjuba bwa Uganda[13]
Janzi (Ekivuga)
[kyusa | kolera mu edit source]Janzi kivuga kya nkoba ekya yiyyizibwa Ssewa Ssewa. Ekivuga kino kibadde kikozesebwa munteekateeka zonna eza Janzi Band ne Ssewa Ssewa okuva lwe kyatandikibwawo. Janzi yesigamiziddwa ku kivuga kya Uganda eky’ennono ekiringa ennanga ekiyitibwa adungu,naye janzi ya njawulo mu ngeri eziwerako,ya njawulo era ya patenti ng’ekivuga eky’enjawulo. [ okujuliza kwetaagisa ]
Erinnya lino lisibuka mu linnya lya bbandi eno.[14]
Olukalala lw'ennyiimba
[kyusa | kolera mu edit source]Ssewa Ssewa abadde akolagana ne Janzi Band okuva lwe yatandikibwawo era abadde akola ne ku pulojekiti ze,zeyakola nga ye yekka.
Alubaamu za sitoodiyo
[kyusa | kolera mu edit source]| Omutwe | Ebisingawo |
|---|---|
| Wansi mu Uganda [15] |
|
| Janzi2Mizaani [16] |
|
| Nva K'la [17] |
|
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Ugandan artist Ssewakiryanga's musical journey with Janzi Band". Music in Africa. Archived from the original on 2024-11-27. Retrieved 2026-04-30.
- ↑ "About Ssewa Ssewa". Janzi Music.
- ↑ "Ssewakiryanga's musical journey with Janzi Band". Daily Monitor. Retrieved 22 August 2015.
- ↑ "Uganda has a new musical instrument". BBC News. 18 April 2019. Archived from the original (audio) on 19 April 2019. Retrieved 18 April 2019.
- ↑ "A Look At James Ssewa's Favourite Gadgets". Chano 8. Archived from the original on 12 September 2015. Retrieved 12 September 2015.
- ↑ "Qwela live in concert "Rhythm & life"". Music in Uganda. Archived from the original on 2013-09-12. Retrieved 2026-04-30.
- ↑ "PHOTOS: Fête de la Musique 2017 Closes With Massive Main Concert". The Tower Post. Retrieved 26 June 2017.
- ↑ "NAM Summit: First Lady launches campaign to close gender gap". New Vision (in Lungereza). Retrieved 30 January 2024.
- ↑ "The Janzi Awards Celebrates Contemporary Ugandan Literature". brittlepaper.com. Retrieved 30 January 2024.
- ↑ "Janzi Awards 2021 in Uganda: All the winners". Music in Africa (in Lungereza). 13 December 2021. Retrieved 30 January 2024.
- ↑ "2023 Nominees". One World Media (in American English). Retrieved 30 January 2024.
- ↑ "Janzi4Hope". Janzi (in American English). Retrieved 30 January 2024.
- ↑ "Janzi band to celebrate Autism Day with charity". New Vision (in Lungereza). Retrieved 30 January 2024.
- ↑ Batte, Edgar Raymond (7 October 2015). "Ugandan artist Ssewakiryanga's musical journey with Janzi Band". Music in Africa. Archived from the original on 18 April 2019. Retrieved 18 April 2019.
- ↑ "Down in Uganda by Ssewa Ssewa (Full Album)". Janzi (in American English). Retrieved 30 January 2024.
- ↑ "Janzi Music". Janzi (in American English). Retrieved 30 January 2024.
- ↑ "NVA K'LA". Proper Music (in Lungereza). Retrieved 30 January 2024.