Jump to content

Ssinabulya Sylvia Namabidde

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ssinabulya Sylvia Namabidde (24 Ogwekkuminebiri 1964) Munnayuganda, munnabyabufuzi. Yafuuka omubaka wa Paalamenti owa Disitulikiti y'e Mityana [1] mu 2001. [2] Yaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana n'eyomwenda wansi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement .

Namabidde alina ebisaanyizo mu by’enjigiriza, okuddukanya emirimu, n’ebyobulamu mu gavumenti n'e mu bitongole bya bannekolera gyange. [2] [3] mu nkola y'ebyobufuzi by'eggwanga,yaleeta etteeka eppya erikwata ku kulabirira bamaama era n'atandikawo etteeka eppya mu Uganda okuteeka obujjanjabi ku mbalirira ya Uganda omulundi ogwasooka.[2] [3] Amanyiddwa nnyo olw’okulwanirira bamaama. [2] [3] Namabidde nga naye mulwanirizi w'eddembe ly'abakyala, atumbula obulamu bw'okuzaala n'okutaasa obulamu bwa bamaama n'abaana baabwe abaakazaalibwa. [4] Mu 2006, yafuna ekikangabwa bwe yakizuula nti gavumenti yali tetwala nsonga ya kufa kwa bamaama n’abaana abawere ng’ekikulu. [4]

Ssinabulya ye ssentebe w’ekibiina ky'aba minisita n'ababaka ba Paalamenti abakyala ekya Network of African Women Ministers and Parliamentarians. [3] Ye ssentebe w’akakiiko ka Cheza ekyawandiisibwa nga 22, Ogsooka 2014 era nga kyatongozebwa mu butongole kaminsona w’ebyenjigiriza n’emizannyo nga 28, Ogwomusanvu 2014. [5] Essomero eryasooka okukkiriza omuzannyo guno lyali Greenhill Academy. [5] Cheza era emanyiddwa nga Okwepena (Luganda) muzannyo kumpi buli muwala omuto gwe yazannyanga, buli wamu, ne ku mabbali g’ekkubo. [5]

Ye Ssentebe omulonde ow’akakiiko k'obuweereza mu Disitulikiti y’e Mityana aka Mityana District Service Commission. [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.govermeta.com/XX/Unknown/792287314165530/Mityana-District-Local-Government
  2. 1 2 3 4 http://wd2016.org/speaker/sylvia-ssinabulya/ Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  3. 1 2 3 4 https://www.observer.ug/features-sp-2084439083/57-feature/21008-mps-pledge-to-amplify-demands-to-force-supply Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  4. 1 2 https://allafrica.com/stories/200611281499.html
  5. 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/once-more-over-what-kwepena-looks-like-now-1739786
  6. https://www.govermeta.com/XX/Unknown/792287314165530/Mityana-District-Local-Government

Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]