Ssuuna II of Buganda
Template:Infobox monarchSsuuna II Kalema Kasinjo Mukaabya Sekkyungwa Muteesa Sewankambo Walugembe Mig'ekyaamye Lukeberwa Kyetutumula Magulunyondo Luwambya Omutanda Sseggwanga yeeyali Kabaka
w'obwakabaka bwa Buganda owa 29 okuva mu 1832 okutuuka mu 1856.
Erinnya ly'era liwandiikibwa nga Suna (mu biwandiiko ebikadde) ate nga Suuna (mu biwandiiko bingi eby’Olungereza).
Okulinnya ku namulondo
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa ku kasozi Bujuuko awo nga mu mwaka gwa 1820. Yali mutabani wa Kabaka Kamaanya Kadduwamala, Kabaka wa Buganda, eyafuga wakati wa 1814 ne 1832. Maama we yali Nakkazi Kannyange, ow’abiri mu ssatu ku bakyala ba kitaawe amakumi asatu mu munaana .
Yalinnya ku namulondo nga kitaawe afudde mu 1832, ng’amaze okutta baganda be bonna asobole okusigala nga ye musika yekka.
Ekibuga kye yakikuba ku kasozi Mulago
Obulamu bw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Kabaka Ssuuna II yagenda mu maaso mu nnono eyatandikibwa jjajjaawe era n'ekopebwa kitaawe ; enkola y’okuwasa omuwendo gw'abakyala ogutali gwa bulijjo. Ssuuna II yabasingako bonna. Agambibwa okuba nga yawasa abakyala kikumi ana mu munaana. Okufaananako n’ebitundu bingi eby’ensi ( royal intermarriage ), bakabaka ba Buganda baakozesanga obufumbo ng’ekintu ky'okutondawo n’okunyweza enkolagana n’emikago n’ababalwanyisa naddala okuva mu bika ebirala ebya Buganda awamu n’abbakungu ab'amaanyi. Kino kyakakasa nti Kabaka addako yayinza okubera ow'oluganda lw’omuntu yenna ow’ebika bya Buganda era nga kiyinzika okuba nga wa mutaka omukulu. Kale buli kika n’omutaka omukulu baagezangako okukakasa ng’omu ku bawala baabwe afuuka mukyala wa Kabaka aliko kati.
Ensonga
[kyusa | kolera mu edit source]Nga bwe kyali kisuubirwa, Kabaka olw’okuwasa abakyala 148, yazaala omuwendo gw'abaana munene. Ebyafaayo ebiwandiike biteeka omuwendo ogwo waggulu nga mu bikumi bibiri mu abiri mu gumu.
- Omulangira (Omulangira) Kajumba
- Omulangira (Omulangira) Kiyimba, nga nnyina yali Lady Zawedde
- Omumbejja (Omumbejja) Nassuuna, nga nnyina yali Lady Zawedde
- Omulangira (Omulangira) Mukaabya Walugembe, nga nnyina yali Lady Muganzirwazza
- Omulangira (Omulangira) Nuhu Mbogo
Okujuliza kuno kuwa amannya gaabwe bonna, nga kiwa amannya ga bannyaaabwe mu mbeera ezisinga obungi. [okujuliza kwetaagisa]
Obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Kabaka Ssuuna yalina emyaka kkumi n’ebiri gyokka 12 we yalinnya ku nnamulondo. Yali mulenzi mulungi, ng’atwala entunula ya nnyina, Nakkazi Kannyange,ayogerwako ng'omu ku bakazi abaali basinga obubalagavu mu Buganda mu kiseera ekyo. Yatandika nga kabaka amanyiddwa ennyo,ayagalwa abantu be.
Wabula bwe yeeyongera okwekkiririzaamu,yafuuka mujoozi atasaasira. Yeewa amannya agawerako agaali gategeeza nantawangulwa era kirimaanyi. Yalagira baganda be ataano mu munaana ku nkaaga battibwe. Babiri bokka be baasimattuse ettemu lino:
- Omulangira (Omulangira) Wasajja, nga nnyina yali Nakkazi ow'ekika kya Mamba (si Nakkazi Kannyange)
- Omulangira (Omulangira) Mugogo, nga nnyina yali Kyotowadde ow’ekika ky’Abamamba
Mu kiseera weyafiira Kabaka Ssuuna yali afuuse omu ku bakabaka ba Buganda abatalina kisa.
Ssuuna yatwala mu maaso obusuubuzi bwa Buganda mu masanga n’abaddu ne Zanzibar era okumala ekiseera yakkiriza abasuubuzi abagwiira okusinga Abazanzibari n’Abawalabu nga Snay bin Amir (mu 1852) ne Ahmed bin Ibrahim (mu 1844), mu bwakabaka bwe. Abasuubuzi Abawalabu baawaayo engoye (eza ppamba ne silika), emmundu, amasasi, n’ebirala wabula, okuleeta engoye za ppamba mu bungi kyavaako mpolampola okukendeera mu nkozesa y'embugo . Embugo zaali zibadde engoye ezisinga okwambalibwa abantu mu kitundu . Ssuuna oluvannyuma yawera okuyingira kw'abasuubuzi abagwira mu Buganda.
Ssuuna yayongera ku bungi bw'amaato ga Buganda amalwanyi n'okugaziya mu nnyanja Nnalubaale .
Entalo z’okuwamba baliraanwa b’obwakabaka zaayongera kugenda mu maaso ku mulembe gwe ekyaviirako okugaziwa kw’ettaka ly’obwakabaka bwa Buganda.
Ku mulembe gwe, okulagajjalira omutindo gw’obuyonjo mu kibuga ekikulu kyalagirwa ng’omusango ogubonerezebwa n’okufa. Ssuuna yatta abantu abawerako olw’okumenya amateeka ge, ekyaleeta omusamize omu ayitibwa Kigemuzi obusungu . Kigemuzi yatandika okwogera mu ngeri etyoboola ekitiibwa kya Kabaka ng’agamba nti ekyo yakikola ku kiragiro kya lubaale /empewo. Ku biragiro bya Ssuuna, Kigemuzi yakwatibwa n’atwalibwa ku kibuga , ekikontana n’empisa. Yeekalakaasizza mu maaso ga Kabaka, ng’amujjukiza nti kikontana n’ennono okusiba omulubaale oba omusamize. Olwo Kabaka n’alagira Kigemuzi aggyibwewo, era ekiro ekyo ennyumba y’obwakabaka n’ekubwa laddu , Kabaka n’ayokebwa mu maaso ne ku ludda olumu olw’omubiri gwe. Ssuuna omulundi gumu natumya omusamize Kigemuzi, n’amusumulula, n’amubuuza lwaki wabaddewo omuyaga guno. Omusamize yaddamu nti: "Kubanga lubaale wa w'okubwatuka / laddu (Kiwanuka) anyiize olw'ebyo by'onkoze." Olwo Kabaka n’akwasa omusajja ente okumutangirira olw’okumusiba, era maama wa kabaka Kabaka n’amusenza ku ttaka eddene, asobole okutabagana n'empewo, n’okutaasa omwana we obutafuna bulabe obulala.
Emyaka egyasembayo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu myaka gye egyasembayo, Kabaka Ssuuna yasindika omubaka eri kabaka w’e Buzongola. M kukomawo, omubaka yaleeta obubaka bwa kwewaana okuva e Buzongola. Ssuuna kino yakitwala ng’obunyoomi era naggula olutalo ku bwakabaka bw’e Buzongola. Katikkiro, Kayira, abaami ba Kabaka ab'amaanyi ne Namasole bonna baawa amagezi obutatandika lulwana lw’amagye mu kiseera ky’enjala ne kawaali. Kabaka yagenda mu maaso n'olutalo ku magezi amakyamu
Wadde nga yavaayo nga muwanguzi era n’agoba kabaka w’e Buzongola, ebikosa entalo, ssennyiga n’enjala byonna awamu byanafuya nnyo amagye ge era basajja be abasinga ne bafa nga tebannatuuka mu Buganda. Kabaka Ssuuna II yafa obulwadde bwa kawaali ng’adda e Buganda mu mwezi gw'ekkumi 1856. Kayiira yakomyawo ebisigala bye e Nabulagala. Mu kiseera kino ebisigalira bye biziikiddwa e Wamala.
Ebimwogerwako
[kyusa | kolera mu edit source]"Yali musajja mukambwe nnyo: yali muvumu mu lutalo, yali muyizzi wa nsolo zamunsiko era ng'ayagala nnyo embwa engizzi. Ebisera ebimu wabula yali nga wa kisa, bwe bagamba bwe batyo, era kimanyiddwa bulungi nti bakabaka abakambwe ebiseera ebimu balaga ekisa baleme kukyayibwa bantu bebafuga. Bw'atyo bwe yali Ssuuna."
- Ham Mukasa, "Some Notes on the Reign of Mutesa", 1934 [1]
"Bwe yanenyezebwa Ahmed bin Ibrahim (Omuwalabu eyasooka okukyalira kkooti ya Ssuuna II mu 1844) olw'okutta abantu be mu ngeri etali ya bwenkanya, Ssuuna yassaayo okwewoozaako kuno wammanga; 'Sirina kyama kirala olw'okukuuma abantu bange nga bantya nnyo n'okutangira enkwe'."
- John A. Rowe, Revolution in Buganda, 1968
Amasiro g'e Wamala
[kyusa | kolera mu edit source]Ku ntikko y’akasozi n'embeera ennungi eyeetooloddewo,Wamala kye kifo ekitukuvu Kabaka Ssuuna II, eyalina abakyala 148 n’abaana 218 we yaziikibwa. Ssuuna II ye Kabaka eyasembayo okuziikibwa mu lubiri lwe era ye yasembayo okuggyibwako akaba oluvannyuma lw’okufa. Era ye Kabaka eyasooka okukkiriza abasuubuzi ab'ebweru mu Buganda . Ekifo ekikulu ennyo naye nga kumpi kyerabirwa, amasiro g'e Wamala kifo kya njawulo nnyo. Ovuga eddakiika amakumi asatu okuva e Kampala ng’oyita ku luguudo lwa Kampala - Hoima Kisangibwa ku ntikko y’akasozi kilo mmita 2.5 (1.6 mi) oluvannyuma lw’okukyuka ku ddyo, okuva ku luguudo lwa Hoima.
Emmeeza y'obusika
[kyusa | kolera mu edit source]| Yasikira | Kabaka wa Buganda
1832-1856 |
Yasikirwa |
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Kiwanuka, MM Semakula, Muteesa of Uganda. Kampala: East African Literature Bureau, 1967
- Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 44.
- Spinner, C.R. (11 June 2003). "The Reign of Kabaka Ssuuna II". Hartford-Hwp.Com. Retrieved 5 October 2014.
- J. Roscoe, The Baganda, 1911, pp.227.
- Mukasa, H. (1934). "Some Notes on the Reign of Mutesa." Uganda Journal, 2(1), 124-133
- "Kabaka Ssuuna II Is Buried At Wamala, Kyaddondo". Buganda.com. Archived from the original on 15 June 2013. Retrieved 5 October 2014.
- Rowe, J.A. (1968). Revolution in Buganda 1856-1900. Part One: The Reign of Kabaka Mukabya Mutesa, 1856-1884.
- "About Wamala Tombs". Uganda Travel Guide. 7 August 2014. Archived from the original on 21 February 2020. Retrieved 5 October 2014.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Template:S-start Template:Succession box Template:S-endKabaka wa Buganda
- ↑ Mukasa, H. (1934). "Some Notes on the Reign of Mutesa." Uganda Journal, 2(1), 124-133