Jump to content

Ssuuna I owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox monarchSuuna I Kisolo, era awandiikibwa nga Ssuuna I Kisolo, yali Kabaka ow'omulundi ogw'ekkuminogumu (11) mu Bwakabaka bwa Buganda, yalamula okuva nga 1584 okutuusa lwe yaseerera (yafa) mu 1614. Omulembe gwe ajjukirwa okubeera ow'ekisa era omukkakkamu. [1]

Okutuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Kabaka Nakibinge Kagali, Kabaka wa Buganda wakati wa 1524 ne 1554. Maama we yali Nassuuna, mukyala wa kitaawe owokutaano . Yatuula ku Nnamulondo oluvannyuma lw’okuseerera (kufa) kwa mukulu we, Kabaka Jemba, mu 1584. Yatandikawo Olubirir lwe ku lusozi Jimbo.

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawasa abakyala babiri:

  • Nakigo muwala wa Walusimbi, ow'ekika kya Ffumbe
  • Naluggwa muwala wa Lwoomwa ow'ekika ky'e Ndiga

Era yawasa n'abakyala abalala babiri "ku mabbali".

Ensonga endala ezimukwatako

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaala abaana ab’obulenzi bana :

  • Omulangira Sewatti, nga nnyina yali Nakigo
  • Omulangira Gogombe
  • Omulangira Kawaali
  • Kabaka Kimbugwe, Kabaka wa Buganda, nga nnyina yali Naluggwa.

Emyaka gye egy'oluvanyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Yafiira mu myaka gya makkati, mu lubiri lwe e Jimbo mu Busiro mu 1614. Yaterekebwa (yaziikibwa) mu Gombe n'akaba ke kaziikibwa Jimbo.

Engeri ba Kabaka gye bazze b'eddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 25.

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]