Jump to content

St. Denis Ssebugwawo Secondary School

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ekizimbe ky'esomero lya Ggaba Demonstration Primary School esomero weryatandikira.
Okujaguza emyaka 30 bukya somero lino litandikibwawo
Abasomesa b'esomero, abazadde n'Abasuumba

Denis Ssebugwawo Secondary School somero erisinganibwa mu Uganda ery'ekisulo nga lirinamu na'abyizi abava ewaka, nga lisinganibwa Ggaba mu Disitulikiti y'e Kampala .

Esomero lino lirina ebibiina okuva ku siniya esooka okutuuka ku siniya ey'omukaaga. Lino somero lya bonna basomero abali ku mutendera gw'eby'enjigiriza bya sekondale (USE), nga litekebwaamu ssente okuva mu gavumenti n’Eklezia. [1]

Esomero lino lyatumibwa erinnya lya St. Denis Ssebugwawo omu kubaali aba Bajulizi ba Uganda.

Gyerisinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Esomero lino lisinganibwa Ggaba, mayiro 7, nga ze kiromita 11 mu bukiikaddyo bwa Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Ekibangirizi ky’esomero kiweza yiika 8, nga ze kiromita 0.032, ku luguudo olukulu olugenda e Ggaba okwolekera ekubo erigenda e Munyonyo. Esomero lino lisinganibwa kiromita emu okuva ku mwalo gw'e Ggaba. [2]

Esomero lino lyatandikibwawo mu 1984, mu kiseera kye kimu n’amasomero amalala okuli Kitebi SS, Kalinabiri SS, Luzira SS ne Kawempe Muslim SS

Okutuuka mu 1991, esomero lino lyali lisinganibwa ku Ggaba Demonstration Primary School. Esomero lino lyakyusibwa ekifo nerigenda weriri kati Ekanisa ya St. Karoli Lwanga Catholic Church e Ggaba bwe lyawa esomero lino ettaka eriweza yiika musanvu.

Abaaliko abakulu b’abasomesa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Mwami Kateregga Charles (Omulangira) okuva 1984 okutuuka mu 1988
  • Mwami Kiwewa Francis Xavierokuva1989 okutuuka 1996
  • Mwami Nsumba Charles Wokulira (omugenzi) okuva 1996 okutuuka 2005
  • Mukyala Achayo Christine okuva 2005 okutuuka 2009
  • Mukyala Nassiwa Teddy Ddamulira okuva mu 2010

Omukulu w’esomero lino eyasooka Omwami Kateregga Charles yayambako mu kukuza essomero lino nga liyita mu bizibu ebyaliwo kuntandikwa

Akulira esomero lino ow'okubiri, Mwami Kiwewa Francis Xavier, yaweereza ng’omukulu w'esomero okuva mu Gwokusatu 1989 okutuuka mu Gwoluberyeberye 1996. Yali musomesa muto, n’akuzibwa okuva mu bakozi b’esomero. Esomero lino lyakyuka ne lidda mu kifo weriri kati mu kiseera ky’obukulembeze bwe. Yakolagana n’abakungu b’olukiiko lw’ekitundu, abantu b’omu kitundu, abasomesa, abazadde n’abayizi. Pulojekiti emu yali ya kukola amatofaali n’emikono. Oluyimba lw'esomero n'akabonero byonna byali bya kaweefube wa Mwami Kiwewa.

Mu 1996, Mwami Nsumba Charles Wokulira (omugenzi) yakyusibwa n’atwalibwa mu St. Denis SS Ggaba. Nga tannawumula mu 2005, yayongerako ebizimbe nga biriko ebibiina byamirundi ebibiri, webasomera emisomo gya sayaansi n’ekisenge ekikulu eky’esomero abayizi webakungaanira.

Omusomesa omukulu eyaddako ye Mukyala Achayo Christine eyafuuka omukiise mu Paalamenti ya Uganda . Yeegatta ku somero lino mu 2004 ng’omumyuka w’omukulu w’esomero n’oluvannyuma n’akwata ofiisi mu 2005. Mu byeyatukako mulimu okutumbuula empisa n’engeri abayizi gyebaali basomamu, okuzimba ekizimbe kya Magandazi n’ekisaawe ky’esomero. Abayizi abeewandiisa okugenda musomero lino nabo beeyongera era n'abazadde nebalitekamu obwesige.

Omukulu w’esomero okuva mu 2010, Mukyala Nassiwa Teddy Ddamulira yayongera okunyweza enkolagana wakati w’abawagizi aba Girimaani, Minisitule y’Eby'enjigiriza n’Emizannyo n’abalala abalyagaliza ebirungi. Yazimbawo ekizimbe ekipya ekyebibiina n'ekiriko eterekero ly'ebitabo nga kino kyali kitekebwaamu ssente Baanka y’Ensi Yonna .

Ennyumba z’abayizi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ennyumba z'abayizi zaatumibwa nga basinziira ku mannya g'Abatukuvu b'Abakatuliki.  

Byebagoberera nga basomesa

[kyusa | kolera mu edit source]

Esomero lino ligoberera ensoma eyaweebwa Minisitule y’Ebyenjigiriza n’Emizannyo ng’eyita munkola ya National Curriculum Development Center (NCDC). Ewa emisomo gyombi okuli egya Siniya 4 ne Siniya 6.

Amasomo agasomesebwa ku Siniya 4 kuliko:   Amasomo agasomesebwa ku Siniya 6 kuliko:   Ku Siniya 6, abayizi basobola okulonda amasomo agatasuka gamirundi esatu ng’agagatta.

 

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "U.S.E. schools overwhelmed". New Vision. Retrieved 26 June 2014.
  2. "St.Denis Ssebugwawo". Uganda schools. Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2025-10-01.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]