St. Mary's Hospital Lacor
Template:Infobox hospitalMary's Hospital Lacor, emanyiddwa ennyo nga Lacor Hospital, ddwaaliro erisangibwa mu Disitulikiti y'e Gulu mu Bukiikakkono bwa Uganda . Yatandikibwawo aba minsani abayitibwa Comboni Missionaries era nga liddukanyizibwa ab'essaza ly'e Gulu erya Roman Catholic . [1]
Endagiriro w'elisangibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaaliro lya Lacor lisangibwa ku kyalo Obiya ow'Ebuggwanjuba mu divizoni y'e Bardege mu kibuga Gulu mu Disitulikiti y'e Gulumu kitundu kya Acholi mu Bukiikakkono bwa Uganda . Ekifo kino kiri ku luguudo lwa Gulu - Nimule, nga kilomita 6(4 mi), okuva ku luguudo, mu Buggwanjuba bw'eddwaliro ekkulu ery'e Gulu eliyitibwa Gulu Regional Referral Hospital . Gulu, ekibuga ekisinga obunene mu Bukiikakkono bwa Uganda kisangibwa kilommita 335 (208 mi), mu Bukiikakkono bwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era nga kye kibuga ekisinga obunene mu ggwanga lyonna. [2] Endagiriro y'eddwaliro lya Lacor mu bibalo eri:2° 46' 3.00"N, 32° 15' 11.00"E (Latitude:2.767500; Longitude:32.253056).
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaaliro lino likola ng'eddwaliro erya bulijjo eri ekitundu ekinene eky'abantu b'omu kibuga Gulu ne mu Disitulikiti y'e Gulu . Era likola ng’eddwaliro ekkulu/ eddene eri amalwaliro amatono mu kitundu kino, wamu n’amalwaliro agatalina bikozesebwa n’abakozi mu ggwanga. Eddwaaliro lya Lacor lye limu ku malwaliro abiri agasomesa eby'obusawo erya Gulu University School of Medicine, n'eddala erya Gulu Regional Referral Hospital . Eddwaaliro lya St. Mary's Hospital Lacor lye limu ku lisinga obulungi mu East Africa . [3]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Lyatandikibwawo mu 1959 ng’eddwaliro ely’ebitanda 30, naye bweryatuukira mu Gwomusanvu 2005 lyali lirina ebitanda 483. Mulimu n’essomero lya ba nnansi n’enteekateeka endala ez’okutendeka abakozi b’ebyobulamu. Eddwaaliro lino liyambako mu kuwanirira amalwaliro g’ebyobulamu aga Level III agali byalo e Amuru, Opit ne Pabbo nga galina ebitanda ebirala 24. Buli lunaku eddwaaliro lino likyaza abalwadde 600 abaweebwa ebitanda n'abajjanjabi baabwe saako n’abalwadde 500 abajjanjabibwa ne bagenda nga buli lunaku omugatte gw’abantu nga 2,000. Mu kiseera ky’obuyeekera bw’eggye lya Lord’s Resistance Army, abakyala n’abaana abali wakati wa 2,000 ne 10,000 baali bakuŋŋaanira mu kibangirizi ky’eddwaaliro buli kiro, okwewala obulumbaganyi bw'omu kiro n'okuwambibwa kw'amaggye ga Lord’s Resistance Army. [4]
Mu kiseera ky’obukulembeze bwa nnakyemalira Idi Amin mu myaka gya 1970, eddwaaliro lino lyatera okukwatibwa amasasi. Mu myaka gya 1980 gyonna, eddwaaliro lino lyasigala liri mu bulabe buli kiseera ng’abamenyi b’amateeka bamenya ekibangirizi kino enfunda eziwera, nga banoonya ebiragalalagala oba amafuta ga petulooli. Abazigu baawambanga abakozi ne basaba omusingo bbo okuteebwa.

Abasawo abaasooka okulongoosa mu ddwaaliro lino baali Lucille Teasdale-Corti ne Piero Corti, abatuuka mu 1961. [5] Oluvannyuma Teasdale-Corti yafa, mu 1996, olw’akawuka ka mukenenya ke yali afunye okuva ku mulwadde bwe yali amulongoosa. Abakozi abalala abamanyiddwa kuliko Matthew Lukwiya, eyakola omulimu ogw'amaanyi mu kuziyiza ekirwadde kya Ebola ekyabalukawo mu 2000, nga tannafa bulwadde buno yennyini.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/how-lacor-hospital-is-beating-oxygen-crisis-3443298
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Kampala/St.+Marys+Lacor+Hospital,+Gulu%2FP.O.+Box,+180+-+Gulu+(Uganda),+Gulu/@1.553708,30.8552594,8z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!2m2!1d32.5825197!2d0.3475964!1m5!1m1!1s0x1771a5ef72f905ad:0xcb59cb4488bc5afb!2m2!1d32.253336!2d2.7676084!3e0
- ↑ https://www.theguardian.com/g2/story/0,3604,416866,00.html
- ↑ http://www.lhospital.org/rapporti_annuali/Lacor_Hospital_2005_annual_report_eng.pdf
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2007-05-15. Retrieved 2025-08-18.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Location of Lacor Hospital At Google Maps
- Official Website
- Famous Canadian Physicians: Dr. Lucille Teasdale mu tterekero ly'ebitabo ne Canada
- S Accorsi, M Fabiani, M Lukwiya, PA Onek, PD Mattei, and S Declich (2001) "The increasing burden of infectious diseases on hospital services at St Mary's Hospital Lacor, Gulu, Uganda", American Journal of Tropical Medicine and Hygiene, Vol 64, Issue 3, 154-158
- Amy Finnegan, "Dispatches: True Health Warriors", Rx for Survival from the Public Broadcasting Service, Ogwomwenda 2005
Lua error: Invalid configuration file.Template:Gulu District