Stafford University in Uganda
Stafford University Uganda ( SUU ) yunivasite y’obwannannyini mu Uganda eyatandikibwawo mu 2015 oluvannyuma lw’okufuna layisinsi okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’enjigiriza ebya waggulu ekya Uganda National Council for Higher Education (UNCHE). [1]
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu gw'omwenda 2018, yunivasite egenderera okuteekawo kampasi yayo enkulu ku yiika 2 (1 ha) ezettaka mu kyalo Omirio, omuluka gwa Opuyo mu kibuga kya Soroti mu Buvanjuba bwa Uganda, [1] nga kiromita 4.6 (3 mi), ku luguudo, mu bukiikaddyo-buvanjuba bw’ekibuga wakati. [2]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2017, UNCHE yateeka yunivasite eno ku myezi mukaaga, era ttiimu y’abanonyereza eyalondebwa UNCHE yawa amagezi okwongera okunonyereza ku matikkira agatali ga bulijjo ag’abayizi abasukka mu 300 nga bakwataganye ne JOBKEY University . [3] era okukkakkana nga layisinsi ey’ekiseera eya yunivasite eno yasazibwamu nga 30/ogwekkumi noogumu/18. Omuyizi eyatikkirwa nga 30/ogwekkumi noogumu/18 terunnatuuka balina kusigala nga batikkiddwa mu butongole abamanyiddwa ekitongole kya UNCHE https://unche.or.ug/
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Yunivasite eno yatandikibwawo mu 2014. Ekola emisomo egivaamu okuweebwa satifikeeti, dipuloma, ne diguli, ng’erina enkola z’okusoma omuli emisana, akawungeezi ne wiikendi. [1]
Abasomesa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu gw'ekkumi n'ebiri gwa 2017, abasomesa ba yunivasite eno baali bategekeddwa nga bayita mu bitongole bino wammanga: [4]
Ekitongole ky’eby’obuntubulamu ne ssaayansi w’embeera z’abantu
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitongole kino kyawuddwamu ebitongole bino wammanga, nga buli kimu kikulemberwa akulira ekitongole. [5]
- Okunoonyereza ku by'amawulire n'empuliziganya
- Okunoonyereza ku nkulaakulana
- Enzirukanya y'emirimu gya Gavumenti & Okusoma ebyobufuzi
- Emirimu gy'obulamu & Enzirukanya y'Ensi
- Eby'obulamu bw'abantu & eby'empisa
Ekitongole kya Bizinensi & n'okudukanya
[kyusa | kolera mu edit source]Emisomo gino wammanga egy’eby’ensoma gisomesebwa mu kitongole kino: [6]
- diguli eyookubiri mu by’obusuubuzi (MBA) (generic) .
- MBA mu by’okutunda
- MBA mu kubala ebitabo n’ebyensimbi
- MBA mu by’obusuubuzi
- MBA mu nzirukanya y’abakozi
- MBA mu nzirukanya ya pulojekiti n’okukola
- MBA mu bizinensi mu by'ensimbi n’ebyenfuna
- Dipuloma ya diguli eyookubiri mu by’obusuubuzi
Ekitongole kya Sayansi ne Tekinologiya
[kyusa | kolera mu edit source]Emisomo gino wammanga egy’eby’ensoma gisomesebwa mu kitongole kino: [7]
- Diguli mu by’amawulire
- Diguli ya Sayansi mu sayansi wa kompyuta
- Diguli ya sayansi mu by’obulamu bw’abantu
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Stafford University Uganda to be launched This June". 6 June 2016. Retrieved 7 December 2017.
- ↑ GFC (7 December 2018). "Distance between Post Office Building, Kampala Road, Kampala, Uganda and Stafford University Uganda, Zzimwe Road, Kampala, Uganda". Globefeed.com (GFC). Retrieved 7 December 2018.
- ↑ Nangonzi, Yudaya (December 27, 2017). "How Busoga University sins caught up with it". The Observer. Observer Media Ltd. Archived from the original on 2019-10-19. Retrieved 2019-10-19.
- ↑ SUU (7 December 2017). "Stafford University Uganda: Programmes". Stafford University Uganda. Archived from the original on 17 June 2024. Retrieved 7 December 2017.
- ↑ "Faculty of Humanities and Social Sciences: Departments". Stafford University Uganda. 7 December 2017. Archived from the original on 7 December 2017. Retrieved 7 December 2017.
- ↑ SUU (7 December 2017). "Faculty of Business & Management". Stafford University Uganda (SUU). Archived from the original on 7 December 2017. Retrieved 7 December 2017.
- ↑ "Faculty of Science & Technology". Stafford University Uganda. 7 December 2017. Archived from the original on 7 December 2017. Retrieved 7 December 2017.