Jump to content

Stanbic Bank Uganda Limited

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Stanbic Bank Uganda Limited (SBU) baanka ya bya busuubuzi mu Uganda era erina ebisaanyizo ebigikiriza okukola nga yabifuna okuva mu bbaanka ya Uganda enkulu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bbanka z’eggwanga n'okulondoola emirimu gya bbaanka egy'enjawulo. [1]

SBU ye bbaanka y’eby'obusuubuzi esinga obunene mu ggwanga, okusinziira ku by’obugagga. [2] [3] [4] [5] Webwatukira 31 Ogwekumineebiri mu 2024, eby’obugagga bya bbanka eno byonna byali bibalirirwamu obuwumbi bwa ssente za Uganda trillion10.4, nga bwebuwuumbi bwa ddoola za Amerika 2.852. Wetwatuuka okumalako 2024, bbaanka eno yakola amagoba oluvannyuma lw’omusolo gwa buwumbi 478 obwa ssente za Uganda nga bwebukadde bwa ssente za Amerika131.104 obwa ddoola. Mu Gwomukaaga 2018, ekitongole kya Fitch Rating Agency kyawa Stanbic Bank Uganda ekipimo kya AAA ekiraga nga webaali batebenkedde. [6]

SBU eri ku lukalala lw'akatale k’eby'emisolo aka Uganda Securities Exchange (USE), gy’ebasuubulira nga bali wansi w’akabonero ka SBU. [7] Egaba eby'amaguzi ebiwerako eby'ekuusa ku by'emirimu gya bbaanka omuli okutereka ng'okozesa emikutu gya yintaneeti, okutereka ssente ku ssimu, SME lending, ne kaadi ng'ogyayo ssente ne n'okozesa kaadi ng'olina eby'amaguzi bw'ogula, n’ebintu ebirala. SBU kampuni ya Stanbic Africa Holdings Limited nga nayo kidukanyizibwa Standard Bank Group Limited . [8]

Bbaanka eno yatandikibwawo mu Uganda nga bagiyita National Bank of India mu 1906. [9] Oluvannyuma lw'okukyusa amannya emirindi egiwerako, yafuuka Grindlays Bank . Mu 1991, Standard Bank yagula omukutu gwa Grindlays Bank mu Afrika. Bannannyini bbaanka eno abapya baagikyusa erinnya bagikyuusa erinya nebagituuma Stanbic Bank (Uganda) Limited. [8] [10]

Stanbic Bank (Uganda) Limited erina layisinsi y’okubeera bbaanka evugirira ssente, etunda eby'amaguzi n'okubugula ku lw'abakasitooma baabwe, era n'okuwabula ku by'ensimbi okuva mu kitongole kya Capital Markets Authority, ekyawa USE layisinsi mu 1997. [8] [10] Mu 2017, baanka yaweebwa layisinsi ya y'okutunda ebikwatagana ne yinsuwa okuli ey'obulamu n'ey'ebintu ebirala mu kitongole kya Insurance Regulatory Authority, ekyawa Stanbic Bank obuyinza bw'okutunda ebintu bya yinsuwa eri bakasitoma baayo n’abantu bonna. [11]

Mu Gwokubiri 2002, Standard Bank yafuna emigabo ebitundu 90 ku 100 mu Uganda Commercial Bank, bbaanka ya gavumenti evunaanyizibwa ku by'okutunda eby'amaguzi ng’erina amatabi 65. [12] Bannannyini bbaanka abapya baakwatira wamu ne Stanbic Bank (Uganda) Limited okutandikawo bbaanka y’eby'obusuubuzi esinga obunene mu Uganda okusinziira ku by’obugagga n’omukutu gw’amatabi. [8] Mu Gwekuminoogumu 2005, gavumenti ya Uganda yaggyawo obwannannyini bwayo mu Stanbic Bank (Uganda) ng’ewandiika emigabo gyayo ku USE. Standard Bank nayo yakyusa emigabo gyayo ebitundu 10 ku 100 mu kiseera kye kimu, n’ekendeeza ku bwannannyini bwayo okutuuka ku bitundu 80 ku 100. [10] [13]

Nga 19 Ogwokubiri 2018, SBU yategeeza bannannyini migabo gyayo ku kusalawo kw'olukiiko olugidukanya okuddamu okutereeza ekikula gy'abakungu n'entambula y'emirimu gya kkampuni eno nga bayita mu kutondawo ekibiija ng'eri kkampuni ekikwatirira eyitibwa "Stanbic Uganda Holdings Limited" ng'erina zikampuni eziwerako ezikola bizineensi ez'enjawulo omuli ne kampuni empya eza bbaanka ezaatandikawo mu bwangu ddala nga 28 Ogwekuminoogumi mu 2018. [14]

Obwannannyini

[kyusa | kolera mu edit source]

Webwatukira mu Gwekumineebiri 2017, obwanannyini bw'eby'amaguzi n'ebintu bya SBU, nga bwekiragibbwa mu kimeeza kino wansObwai:[15]

Obwanannyini bw'eby'amaguzi bya Stanbic Bank Uganda Limited
Eddaala Erinnya lya nnannyini yo Ekitundu by'obwannannyini ku buli kimu
1. 1. Stanbic Africa Holdings Limited 80.00
2. 2. National Social Security Fund (Uganda) 2.61
3. 3. Duet Africa Opportunities Master Fund 0.99
4. 4. Kuwait Investment Authority 0.75
5. 5. Sudhir Ruparelia 0.65
6. 6. SBC Mauritius Re Africa Opportunity Fund LP 0.48
7. 7. Central Bank of Kenya Pension Fund 0.45
8. Frontura Global Frontier Fund LLC 0.45
9. 9. Bank of Uganda Defined Benefits Scheme 0.42
10. Ibrahim Kironde Kabanda 0.40
11. Ebirala 12.80
Omugatte 100.0
Bbaanka ya Stanbic ey'ettabi ly’e Gombe

Webwatukira mu Gwokusatu 2025, ssentebe w’olukiiko yali Damoni Kitabire. Nga akulira eby'emirimu ya ye Kenneth Mumba Kalifungwa.

Omukutu gw’amatabi

[kyusa | kolera mu edit source]

Webwatukira mu Gwekumineebiri 2023, SBU yalina emikutu gy'amatabi agawera kumpi 81 n’ebifo 10 ebiweereza bakasitoma mu bitundu byamirundi enna mu ggwanga. Omukutu gwayo gwe gwali gusinga obunene mu bbaanka zonna ez’eby'obusuubuzi mu Uganda. Mu kiseera ekyo, yalabirira ebyuma 178 ebitereka n'okugaba ssente nga tewali akudukanya .Olukalala oluli wansi geegamu ku matabi ga bbaAnka eno: [16]

  1. Busia Branch: 1 Tororo Road, Busia
  2. Iganga Branch: 1-3 Magumba Road, Iganga
  3. Jinja Branch: 2 Martin Road, Jinja
  4. Kamuli Branch: 2 Gabula Road, Kamuli
  5. Kapchorwa Branch: 20 Kitale Road, Kapchorwa
  6. Kotido Branch: 3A Moroto Road, Kotido
  7. Lugazi Branch: 29 Ntege Road, Lugazi
  8. Mbale Branch: 50/52 Republic Avenue, Mbale
  9. Moroto Branch: 27 Lira Road, Moroto
  10. Soroti Branch: 42 Gweri Road, Soroti
  11. Tororo Branch: 1 Block 5 Uhuru Drive, Tororo
  12. Aponye Mall Branch: 8 Burton Street, Aponye Mall, Kampala
  13. Kawempe Branch: 161 Bombo Road, Kawempe
  14. Kiboga Branch: 100 Block 634 Kilulumba, e Kiboga
  15. Kireka Branch: 319 Block 232 Kampala–Jinja Highway, Kireka
  16. Kyambogo Branch: Kyambogo University Campus, Kyambogo
  17. Luweero Branch: 440 Block 652 Kampala–Gulu Highway, Luweero
  18. Mityana Branch: 54 Block 425 Katakara Road, Mityana
  19. Mpigi Branch: Mpigi Town
  20. Mukono Branch: 37/39 Kampala–Jinja Highway, Mukono
  21. Mulago Branch: 2nd Floor, Mulago National Referral Hospital, Mulago Hill, Kampala
  22. Nakivubo Branch: 58 William Street, Kampala
  23. Nateete Branch: 643 Block 18 Kampala–Masaka Road, Nateete
  24. Wandegeya Branch: 220 Bombo Road, Wandegeya, Kampala
  25. William Street Branch: 6 William Street, Kampala
  26. Bugoloobi Branch: Village Mall, Corner of Spring Road & Bandari Rise, Bugoloobi, Kampala
  27. Entebbe Main Branch: 15 Entebbe–Kampala Road, Entebbe
  28. Forest Mall Branch: 3A2 & 3A3 Lugogo Bypass Road, Lugogo, Kampala.
  29. Freedom City Branch: Freedom City Mall, 4010 Entebbe Road, Namasuba, Kampala
  30. Garden City Branch: 64-86 Yusuf Lule Road, Kampala
  31. Kabalagala Branch: 1188–1190 Embassy Plaza, Ggaba Road, Kabalagala, Kampala
  32. Corporate Branch: 18 Hannington Road, Kampala
  33. Lugogo Branch: Shop Number 5, 2-8 Lugogo Bypass Road, Lugogo, Kampala
  34. Makerere Branch: Senate Building, Makerere University Campus, Makerere Hill, Kampala
  35. Kampala Metro Branch: Social Security House, 4 Jinja Road, Kampala
  36. Nakasero Branch: Umoja Building, 20 Nakasero Road, Nakasero Hill, Kampala
  37. Nakawa Branch: M193/194 Industrial Area Road, Nakawa, Kampala
  38. Ntinda Branch: 3798 Block 216 Ntinda Trading Centre, Kampala
  39. Adjumani Branch: 9 Mangi Road, Adjumani
  40. Apac Branch: 18 Akokoro Road, Apac
  41. Arua Branch: 25 Avenue Road, Arua
  42. Gulu Branch: 2&4 Acholi Road, Gulu
  43. Kigumba Branch: 18 Kampala-Gulu Highway, Kigumba
  44. Kitgum Branch: 4/6 Philip Adonga Road, Kitgum
  45. Lira Branch: 2 Soroti Road, Lira
  46. Moyo Branch: 1 Kerere Crescent Road, Moyo
  47. Nebbi Branch: Arua Road, Nebbi Trading Centre
  48. Buliisa Branch: Buliisa–Paara Road, Buliisa
  49. Bundibugyo Branch: 4 Block A Bundibugyo Road, Bundibugyo Township
  50. Bwamiramira Branch: 18 Karuguza Road, Bwamiramira Trading Centre, Kibaale District
  51. Fort Portal Branch: 21 Lugard Road, Fort Portal
  52. Hoima Branch: 32 Main Street, Hoima[17]
  53. Ibanda Branch: 10-12 Kamwege Road, Ibanda
  54. Ishaka Branch: 44 Rukungiri Road, Ishaka[18][19]
  55. Kabale Branch: 150/152 Kabale Road, Kabale
  56. Kabwohe Branch: 19B, Kabwohe Road, Kabwohe
  57. Kalangala Branch: Kalangala Main Street, Kalangala Town
  58. Kasese Branch: 27/31 Stanley Street, Kasese
  59. Kihihi Branch: 63 Block 74 Kinkizi, Kihihi Town
  60. Kisoro Branch: M5 Block 29 Kisoro–Kabale Road, Kisoro Town
  61. Kyotera Branch: 32 Masaka Road, Kyotera
  62. Lyantonde Branch: 200 Block 76 Masaka–Mbarara Road, Lyantonde
  63. Masaka Branch: 4 Birch Avenue, Masaka
  64. Masindi Branch: 29/33 Tongue Street, Masindi
  65. Mbarara Branch: 1/3 Ntare Road, Mbarara
  66. Mubende Branch: 2 Block 13 Main Street, Mubende
  67. Ntungamo Branch: 33 Mbarara–Kabale Road, Ntungamo Township
  68. Rukungiri Branch: 123 Block 5 Kagunga, Rukungiri
  69. Bwera Customer Service Point: Saad Village, Mpondwe–Lubiriha Road, Bwera Town
  70. Kaboong Customer Service Point: 20 Kaabong Central West Road, Kaabong Trading Centre
  71. Kayunga Customer Service Point: 472 Block 123 Kayunga Road, Kayunga
  72. Kagadi Customer Service Point: Mugenyi Street, Kagadi
  73. Kumi Customer Service Point: 2 Ngora Road, Kumi
  74. Pakwach Customer Service Point: 94 Arua Road, Pakwach
  75. Kakira Customer Service Point: Kakira South Estate Road, Kakira
  76. Kinyara Customer Service Point: Kinyara Sugar Estate, Kinyara
  77. Mayuge Customer Service Point: Bukoba Road, Mayuge Town
  78. Wobulenzi Customer Service Point: 59 Block 159 Bulemezi, Kampala–Gulu Highway, Wobulenzi Trading Centre.

Mu Gwomukaaga 2022, Stanbic Bank Uganda yafuuka bbaanka y’eby'obusuubuzi eyasooka mu ggwanga, okuweebwa ebaluwa ya ISO/IEC 27001:2013, okuva mu British Standard Institution. Ebalulwa yali yakusiima enkola ya bbaanka eno mu by'okudukanya eby'empuliziganya n'obukuumi "okugoberera omutindo gw'ensi yonna". [20]

Ebyavaamu oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwokutaano 2024, Stanbic Bank Uganda yatongoza enkola empya ennyo ey'enkola ya kaadi eyali esobozesa bakasitoma baayo bonna abalina kaadi ezikozesebwa mu kusasula okwongereza ku balaansi za kaadi zaabwe nga bakozesa empeereza yaayo eya FlexiPay eyaliwo edda, nga bateekamu koodi y'omusuubuzi "eya kaadi" n'okuwa endagamuntu ya kasitoma esinganibwa emabega wa kaadi.

 

Ebijjuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. BOU (31 March 2023). "List of Licensed Commercial Banks As At 31 March 2023" (PDF). Bank of Uganda (BOU). Archived from the original on 20 February 2024. Retrieved 27 March 2024.
  2. Nelson Wesonga (5 July 2016). "Stanbic, NC banks lower lending rates, each by a percentage point". Daily Monitor. Archived from the original on 5 July 2016. Retrieved 5 July 2016.
  3. TRC (13 October 2015). "Interview with Patrick Mweheire, CEO of Stanbic Bank Uganda". The Report Company (TRC). Retrieved 9 August 2016.
  4. Naibuzz (20 May 2016). "The 8 Biggest Banks In Uganda". Naibuzz.com. Archived from the original on 19 April 2017. Retrieved 9 August 2016.
  5. Jonathan Adengo and Anthony Wesaka (4 March 2016). "Banks merge branches to cut costs". Daily Monitor. Retrieved 9 August 2016.
  6. Martin Luther Oketch (18 June 2018). "Fitch Assigns Stanbic Bank Uganda Stable Outlook". Daily Monitor. Retrieved 18 June 2018.
  7. USE (22 April 2016). "Uganda Securities Exchange: Listed Securities". Uganda Securities Exchange (USE). Archived from the original on 5 August 2017. Retrieved 22 April 2016.
  8. 1 2 3 4 SBUL (22 April 2016). "Stanbic Bank Uganda Limited: Company Overview". Stanbic Bank Uganda Limited (SBUL). Retrieved 22 April 2016.
  9. Henry Lubega (1 March 2015). "The first bank in Uganda". Retrieved 9 August 2016.
  10. 1 2 3 SBSA (22 April 2016). "Standard Bank of South Africa: Our history in Africa". Standard Bank of South Africa (SBSA). Archived from the original on 28 May 2008. Retrieved 22 April 2016.
  11. Kasemiire, Christine (30 October 2017). "Stanbic Bank gets first bancassurance licence". Retrieved 30 October 2017.
  12. BBC (17 October 2001). "Uganda's largest bank for sale". British Broadcasting Corporation. Retrieved 3 July 2023.
  13. Herbling, David (16 April 2014). "Stanbic Bank Uganda raises dividend despite net profit drop". Retrieved 15 December 2016.
  14. Dorothy Nakaweesi (4 December 2018). "Stanbic Bank becomes holding company". Daily Monitor. Retrieved 3 July 2023.
  15. Stanbic Bank Uganda (26 March 2018). "Audited Financial Statements for the year ended 31 December 2017" (PDF). Stanbic Bank Uganda Limited. Retrieved 23 February 2019.
  16. Martin Luther Oketch (26 March 2024). "Stanbic Uganda posts record Shs412 billion profits". Daily Monitor. Retrieved 27 March 2024.
  17. Mugume, Paul (8 November 2016). "Stanbic Bank Opens New Branch in Hoima Ahead of Oil Production". ChimpReports Uganda. Retrieved 23 February 2019.
  18. Anthony Wesaka, Jonathan Adengo (4 March 2016). "Banks merge branches to cut costs". Retrieved 22 February 2019.
  19. Mugasha, Chris (3 April 2016). "Stanbic Bank closes Bushenyi branch". Retrieved 23 February 2019.
  20. Muhamadi Matovu (30 June 2022). "Uganda: Stanbic Bank Attains Iso/IEC 27001 – 2013 Certification" (via AllAfrica.com). Nile Post Uganda. Retrieved 1 July 2022.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]