Jump to content

Stephen Chebrot

Bisangiddwa ku Wikipedia
Stephen Chebrot
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaStephen Kyusa
Yazaalibwa nga27 Gwamusanvu(Kasambula) 1951 Kyusa
Gy'azaalwaYuganda Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimuphysician, munnabyabufuzi, Minisita Kyusa
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa
GyeyasomeraUniversity of Nairobi, McGill University, Johns Hopkins Bloomberg School of Public Health, Harvard T.H. Chan School of Public Health Kyusa
GyabeeraKampala Kyusa
Ebbanga ly'akoledde (okutandika)1979 Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa

  Stephen Chemoiko Chebrot (yazaalibwa 27 Ogwomusanvu 1951) Munnayuganda omusawo era munnabyabufuzi. Mu kiseera kino ye Minisita Omubeezi ow'ebyentambula mu Kabineti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano 2011.[1] Yadda mu bigere bya Simon Ejua, eyagibwa mu Kabineti. Mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu kabineeti,nga 1 Ogwokusatu 2015, yasigaza ekifo kye ku kabineeti.[2] Stephen Chebrot era akola nga Omubaka wa Paalamenti omulonde owa "Tingey County", mu Disitulikiti y'e Kapchorwa.[3]

Obuvo bwe n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kapchorwa nga 27 Ogwomusanvu 1951. Alina diguli mu By'eddagala ne Diguli mu Kulongoosa abantu, ze yafuna mu 1979, ne Diguli ey'okubiri mu by'okujanjaba abakyala, gye yafuna mu 1986, okuva ku Yunivasite y'e Nairobi. Mu 1998, yafuna diguli Ey'okubiri mu By'obulamu bw'Abantu, okuva mu Harvard School of Public Health. Ekyo yakigobereza ne diguli ya Master of Science mu Biostatistics and Epidemiology, gye yafuna mu 2002 okuva mu Johns Hopkins School of Public Health. Mu 2009, McGill University yamuwa diguli Ey'okubiri ya Sayaansi mu By'obukulembeze n’kubuddukanya.[3]

Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu University of Nairobi School of Medicine, yamala omwaka gumu mu ddwaaliro lya Kenyatta National Hospital, ng’ayigirizibwa oluvannyuma lw'okubeera ng'ayali atikiddwa. Okuva mu 1980 okutuuka mu 1982, yakola ng’omusawo mu Minisitule y’Eby'obulamu ey'e Kenya. Mu 1982, yayingira pulogulaamu ya Master of Medicine e Kenyatta, ng’eddukanyizibwa eddwaaliro ne Yunivasite y’e Nairobi, n’atikkirwa mu 1985, ne diguli ya MMed mu by’Okuzaala Abakyala n'Okubajanjaba. Okuva mu 1985 okutuuka mu 1986, yakola nga eyali yeebuzibwaako ku by'ensongza z'obulwadde bw'abakyala n'eby'okuzaalisa, ng'asinziira mu "Filsi Hospital" mu Kenya.[3]

Yakomawo e Uganda mu 1986 era n'alondebwa okubeera Omubaka wa Uganda mu ggwanga lya Buyindi, gyeyawereza mu buyinza bwe okutuusa mu 1988. Mu 1988, yalondebwa mu paalamenti okukiikirira "Tingey County" mu Disitulikiti y'e Kapchorwa. Yawangula era n'addamu okulondebwa okuva kw'olwo. Okuva mu 1988 okutuuka mu 1994, yaweereza nga Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu era nga ye Minisita w’Eby'emirimu okuva mu 1994 okutuuka mu 1997.[3]

Ebirala ebimukwatako

[kyusa | kolera mu edit source]

Stephen Chebrot mufumbo. Akiririza mu ddiini y'e Kanisa. Ono ali mu kibiina kya byabufuzi ekya National Resistance Movement.[3]

Laba ne

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Mukasa, Henry (28 May 2011). "Museveni Names New Cabinet". New Vision. Kampala. Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 6 March 2015.
  2. "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). Daily Monitor. Kampala. 1 March 2015. Retrieved 6 March 2015.
  3. 1 2 3 4 5 "Profile of Stephen Chemoiko Chebrot, Member of Parliament for Tingey County, Kapchorwa District". Parliament of Uganda. 2012. Retrieved 6 March 2015.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipidiya

[kyusa | kolera mu edit source]