Stephen Isabaija
Stephen Robert Isabalija Munnayuganda mukozi wa gavumenti, omukugu mu kuddukanya emirimu, omubazi w’ebitabo, omusomesa mu matendekero aga waggulu era addukanya eby'enjigiriza. Ye muwandiisi ow’enkalakkalira eyaliko nga ono aliko tannajja mu minisitule y'amasannyalaze n'okukulaakulanya eby'obugagga ebyomuttaka mu Uganda, nga yaweereza mu kifo ekyo okuva mu mwezi ogwekkuminoogumu 2016, [1] okutuusa lweyasalibwaako ku mulimu nga 24 Omwezi ogwomunaana 2017. [2]
Ng'ekkyo tekinnabaawo, yaweerezaako ng'omumyuka wa ccansala owa Victoria yunivasite Uganda , yunivasite ey’obwannannyini, ekola amagoba eya Ruparelia Group, ekibinja kya zi bizinensi mu buvanjuba bwa Afirika . [3] Yaweereza mu buvunaanyizibwa obwo okuva mu Mwezi ogwomwenda 2013 okutuuka mu Mwezi ogwekkuminoogumu 2016. [1]
Obuvo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Isabalija yazaalibwa mu Fort Portal, mu Disitulikiti y’e Kabarole, nga 23 Omwezi ogwekkuminoogumu 1976, eri Chris Nyakahuma (omugenzi) ne Lorraine K. Waako Akiiki (omugenzi). [4]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Isabalija yasomera mu ssomero lya Kinyamasika Demonstration School, e Fort Portal ku misomo gye egya pulayimale. Ku misomo gye egya siniya eyokuna (S.4), yasomera ku St Leos Kyegobe, nalyo eriri mu Fort Portal. Yakyusa nadda ku Makerere College School, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene,ku misomo gye egya siniya eyomukaaga (S.6 ). Okuva mu 1996 okutuuka mu 1998, yasomera ku Makerere University Businees School (MUBS) ng'ekyayitibwa Nakawa College of Business Studies. Mu 1997, yeewandiisa ku ddiguli ku ddiguli esooka mu by'obusuubuzi ku ttendekero ekkulu erya Makerere University, n’atikkirwa mu 2001. Okumala omwaka gumu mu 1998, yasomanga ddiguli e Makerere nga bwasoma ne dipuloma e Nakawa. Wakati wa 2002 ne 2004, yasomera ddiguli eyokubiri mu kuddukanya zi bizinensi (MBA) mu by'ensimbi n'okubala ebitabo, ku yunivasite y’e Makerere ettabi ekkulu. Ddiguli ye eyookusatu (PhD) mu mateeka agakolebwa zi gavumenti okukyusa ebyenfuna n'embeera z'abantu (Public policy) (Enkulaakulana y'ensi yonna) , yafunibwa mu 2011, okuva mu yunvasite y'e Southern, mu New Orleans, Louisiana ,Amerika. [4] [5]
Ebyafaayo by’emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Isabalija yatandika emirimu gye mu 1999 amangu ddala ng’amalirizza dipulooma ye mu misomo gya bizinensi. Yali mukugu mu by’ensimbi, era n’alinnya okutuuka ku ddaala ly’akulira okubala ebitabo ku minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi (JPF).
Mu 2005, yapangisibwa ng’omusomesa mu bbanguliro lyabayizi abaatikkirwa n’alinnya natuuka ku dddaala ly'omusomesa omukulu ku Makerere University Business School(MUBS). Yalondebwa okuba omumyuka wa ccansala wa Victoria yunivasite mu 2013.
Ng’oggyeeko obuvunaanyizibwa bwe mu Victoria yuniversite, Uganda Electricity Generation Company Limited ne Uganda Development Bank , atuula ku bukiiko bwa Dynamic Group, gy’ali ssentebe; Ekitongole kya ICT University Foundation; Obuweereza bw’Obuyigirizwa bw’Abakristaayo mu nsi yonna; ICT Centre,o ly’ebyoettendekero ly'obusuubuzi erya yunivasite y’e Makerere; n'ekibiina omwegattira abakyala ba Uganda abatandisi b'emirimu ki Uganda women Entrepreneurship Association, gy'ali omubaka. [6]
Nga 4 Omwezi ogwekkuminoogumu 2016, yalondebwa okuba omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’amasannyalaze n’eby’obugagga ebyomuttaka, ng'adda mu bigere bya Kabagambe Kaliisa eyafuuka omuwabuzi wa pulezidenti ku by’amasannyalaze. [7]
Obuwandiisi mu by’ensoma
[kyusa | kolera mu edit source]Okunoonyereza kwa Isabalija kufulumiziddwa mu bitabo ebikeberebwa abakugu abalala mu kunoonyereza. Emitwe gy’ebiwandiiko bye mulimu:
- Ensonga ezikosa okwettanira, okussa mu nkola n’okuyimirizaawo enkola z’amawulire eza Telemedicine mu Uganda. Okunoonyereza kuno kwazuula era ne kuteesa ku byetaago ebikulu eby’obujjanjabi obw’oku ssimu obuwangaazi mu Uganda. [8]
- Enkola y’enzikiriziganya ku bisookerwako eby’okuyimirizaawo E-Medicine mu Sub-Saharan Africa: Enkola etabuddwamu. [9]
- SME okwettanira enkola z’ebitongole mu Sub-Saharan Africa: Omulanga ogw’amaanyi okukola.
- Enkola y’okukola enkola z’amawulire ez’obujjanjabi okuva ku ssimu ezisobola okuwangaala mu nsi ezikyakula. [10]
- Enkola ey’okussa mu nkola eddagala lya yintaneeti mu ngeri ey’olubeerera mu nsi ezikyukakyuka. [11]
- Okunoonyereza okugeraageranya ku ngeri e-E-Medicine gye zitwalibwamu mu Uganda, Nigeria ne Ethiopia. [12]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Isabalija atuula ku lukiiko olufuzi olwa Uganda Development Bank (UDB). [13] Taata omufumbo alina abaana bana . [4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Matsiko, Haggai (6 March 2017). "Muhakanizi, Isabalija 'fight' sparks Shs 30bn UEGCL audit". Retrieved 30 June 2017.
- ↑ Musisi, Frederic (24 August 2017). "Museveni fires Energy PS Isabalija". Retrieved 19 September 2017.
- ↑ Businge, Conan; Kiryowa, Ssebide (5 September 2013). "Businessman Sudhir Buys Victoria University". Archived from the original on 7 September 2013. Retrieved 6 September 2014.
- 1 2 3 Kasyate, Simon (7 December 2015). "Uganda: Dr Isabalija's First Visit to Kampala Was Gift From Mum". Retrieved 19 September 2017.
- ↑ Businge, Conan; Karatsi, Roselyn. "The Humble, Young Man in Huge Academic Robes". Retrieved 19 September 2017.
- ↑ Lyatuu, Justus (16 February 2014). "Victoria Will Be A Leading Regional University - Vice Chancellor". Archived from the original on 7 September 2014. Retrieved 6 September 2014.
- ↑ Mugume, Paul (6 November 2016). "Former Victoria University VC Appointed Energy Ministry Permanent Secretary". Retrieved 30 June 2017.
- ↑ Isabalija, Dr Stephen R.; Mayoka, Kituyi G.; Rwashana, Dr Agnes S.; Mbarika, Prof Victor W. (2011-12-09). "Factors Affecting Adoption, Implementation and Sustainability of Telemedicine Information Systems in Uganda". Journal of Health Informatics in Developing Countries (in Lungereza). 5 (2). ISSN 1178-4407.
- ↑ Isabalija, Stephen Robert (2011). A Theoretical Framework on the Antecedents of E-Medicine Sustainability in Sub-Saharan Africa: A Mixed Approach (in Lungereza). ProQuest LLC. ISBN 978-1-124-79696-3.
- ↑ Mayoka, Kituyi G.; Rwashana, Agnes S.; Mbarika, Victor W.; Isabalija, Stephen (2012-01-01). "A framework for designing sustainable telemedicine information systems in developing countries". Journal of Systems and Information Technology. 14 (3): 200–219. doi:10.1108/13287261211255329. ISSN 1328-7265.
- ↑ Isabalija, Stephen Robert; Mbarika, Victor; Kituyi, Geoffrey Mayoka (2013-01-01). "A framework for sustainable implementation of e-medicine in transitioning countries". International Journal of Telemedicine and Applications. 2013: 8:8. doi:10.1155/2013/615617. ISSN 1687-6415. PMC 3888754. PMID 24454353.
- ↑ Isabalija, Stephen Robert; Kituyi, Geoffrey Mayoka (2017-05-06). "A Comparative Study of e-Medicine Uptake in Uganda, Nigeria and Ethiopia". Journal of Health Informatics in Developing Countries (in Lungereza). 11 (1). ISSN 1178-4407.
- ↑ "Board of Directors - Uganda Development Bank". Uganda Development Bank. Archived from the original on 26 October 2014. Retrieved 6 September 2014.
Matsiko, Haggai (6 March 2017). "Muhakanizi, Isabalija 'fight' sparks Shs 30bn UEGCL audit". The Independent (Uganda). Kampala. Retrieved 30 June 2017.
- Musisi, Frederic (24 August 2017). "Museveni fires Energy PS Isabalija". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 19 September 2017.
- Businge, Conan; Kiryowa, Ssebide (5 September 2013). "Businessman Sudhir Buys Victoria University". New Vision. Kampala. Archived from the original on 7 September 2013. Retrieved 6 September 2014.
- Kasyate, Simon (7 December 2015). "Uganda: Dr Isabalija's First Visit to Kampala Was Gift From Mum". The Independent (Uganda) via AllAfrica.com. Kampala. Retrieved 19 September 2017.
- Businge, Conan; Karatsi, Roselyn. "The Humble, Young Man in Huge Academic Robes". New Vision. Kampala. Retrieved 19 September 2017.
- Lyatuu, Justus (16 February 2014). "Victoria Will Be A Leading Regional University - Vice Chancellor". The Observer Online (Uganda). Archived from the original on 7 September 2014. Retrieved 6 September 2014.
- Mugume, Paul (6 November 2016). "Former Victoria University VC Appointed Energy Ministry Permanent Secretary". Chimpreports.com. Kampala. Retrieved 30 June 2017.
- Isabalija, Dr Stephen R.; Mayoka, Kituyi G.; Rwashana, Dr Agnes S.; Mbarika, Prof Victor W. (2011-12-09). "Factors Affecting Adoption, Implementation and Sustainability of Telemedicine Information Systems in Uganda". Journal of Health Informatics in Developing Countries (in Lungereza). 5 (2). ISSN 1178-4407.
- Isabalija, Stephen Robert (2011). A Theoretical Framework on the Antecedents of E-Medicine Sustainability in Sub-Saharan Africa: A Mixed Approach (in Lungereza). ProQuest LLC. ISBN 978-1-124-79696-3.
- Template:Cite conference
- Mayoka, Kituyi G.; Rwashana, Agnes S.; Mbarika, Victor W.; Isabalija, Stephen (2012-01-01). "A framework for designing sustainable telemedicine information systems in developing countries". Journal of Systems and Information Technology. 14 (3): 200–219. doi:10.1108/13287261211255329. ISSN 1328-7265.
- Isabalija, Stephen Robert; Mbarika, Victor; Kituyi, Geoffrey Mayoka (2013-01-01). "A framework for sustainable implementation of e-medicine in transitioning countries". International Journal of Telemedicine and Applications. 2013: 8:8. doi:10.1155/2013/615617. ISSN 1687-6415. PMC 3888754. PMID 24454353.
- Isabalija, Stephen Robert; Kituyi, Geoffrey Mayoka (2017-05-06). "A Comparative Study of e-Medicine Uptake in Uganda, Nigeria and Ethiopia". Journal of Health Informatics in Developing Countries (in Lungereza). 11 (1). ISSN 1178-4407.
- "Board of Directors - Uganda Development Bank". Uganda Development Bank. Archived from the original on 26 October 2014. Retrieved 6 September 2014.