Jump to content

Stephen Kiggundu

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Stephen Kiggundu (3 Ogwokuna 1977 – 31 gwokusatu 2024), yali Munnayuganda omukungu mu magye, omuvuzi w'ennyonyi z'amagye, omuvuzi wa parachute, omusomesa w'abavuzi b'ennyonyi z'amagye era omuduumizi w'amagye mu ggye ly'eggwanga erya Uganda People's Defence Force. Mu kiseera we yafiira, yeeyali omumyuka w’omuduumizi w’eggye ly’omu bbanga erya UPDF . Yaweereza mu kifo ekyo okuva mu Gwomwenda gwa 2022 okutuuka mu Gwokusatu 2024. [1]

Obuto n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa nga 3 Ogwokuna 1977, mu kitundu ekiyitibwa "Bugonga", mu Kibuga Entebbe, mu Disitulikiti y'e Wakiso . Yasomera mu masomero ga pulayimale ne siniya aga Uganda. Yaweebwa ekifo ku yunivasite, n’atikkirwa diguli esooka mu tekinologiya w’amawulire n’empuliziganya (ICT). [1]

Okutendekebwa kwe mu by’amagye

[kyusa | kolera mu edit source]

Yeegatta ku ggye lya UPDF nga 27 Ogwomusanvu, 1999. Yagenda mu kkampu gye babatendekera eyamala emyezi mwenda. Oluvannyuma yalondebwa okutendekebwa ng’omuvuzi w’ennyonyi mu magye. Mu 2000, yasindikibwa e Yisirayiri okutendekebwa ng’omuvuzi w'ennyonyi atandika ku nnyonyi ennwaanyi MIG-21 . Yasukkuluma ku balala mu kutendekebwa kwe okw’okuvuga ennyonyi. [1]

Oluvannyuma yaddayo e Isreal okutendekebwa ng’omuvuzi wa parachute. Yatikkirwa ng’omu ku bavuzi ba parachute abaasooka mu gavumenti ya National Resistance Movement (NRM). Oluvannyuma yasindikibwa mu Czech Republic okutendekebwa ng’omuvuzi w’ennyonyi ku nnyonyi ya Aero L-39 Albatros . Bwe yali eyo, yakakasibwa ng’omusomesa w’abavuzi b’ennyonyi mu magye ku nnyonyi ya L-39 Albatros. [1]

Oluvannyuma yasindikibwa e Ukraine emirundi egiwerako okusoma ng’omusomesa w’ennyonyi z’amagye ku nnyonyi ya MIG-21. Yatikkirwa era n'asinga banne bonna mu kibiina kye. Ye muvuzi wa Uganda eyasooka okukakasibwa okubuusa ennyonyi ya Su-30MK, Uganda gye yagula mu 2012. [1]

Yasoma essomo ly’obuduumizi mu ttendekero ly’amagye erya Air Command and Staff College ku Maxwell Air Force Base e Montgomery, Alabama, Amerika era n’akola omusomo omulala mu ttendekero ly’amagye erya China. [1]

Omulimu gwe ogw'amagye

[kyusa | kolera mu edit source]

Yakola emirimu egy’enjawulo mu ggye ly’omu bbanga erya UPDF, okusinga ng’omusomesa w’ennyonyi ku nnyonyi zombi, eya L-39 Albatros ne MIG-21. Mu 2008 yavuga ennyonyi mu lutalo nga olwa Joseph Kony n’eggye lya Lord’s Resistance Army mu kibira kya Garamba mu Democratic Republic of the Congo. Era yalwana mu lutalo lw’okulwanyisa ekibinja ky’abatujju ekya Allied Democratic Front mu Bugwanjuba bwa Uganda ne mu buvanjuba bwa DR Congo. [1]

Okumala ekiseera, ku ddaala lya Lieutenant Colonel, yaweereza ng’omuduumizi w’ekiwayi ky’amagye g’omu bbanga e Soroti. [2] Era yaweereza ng'omuduumizi w'ekibinja kya Sukhoi Su-30MK2. Mu 2022, pulezidenti Yoweri Museveni yamukuza okuva ku Lieutenant Colonel n’amufuula Brigadier General, n’abuuka eddaala lya Colonel . Olwo n’alondebwa okuba omumyuka w’omuduumizi w’eggye ly’omu bbanga erya UPDF, n’amumyuka Lieutenant General Charles Okidi . [1] [3] [4]

Brigadier Kiggundu yakubwa amasannyalaze ng’anaaba mu kinaabiro ekiri mu maka ge amatongole mu kibuga Entebbe, akawungeezi ka Ssande nga 31 Ogwokusatu 2024, ng’amaze ennaku ssatu okuva ku mazaalibwa ge ag’emyaka 47. Amagye ga Uganda gatandika okunoonyereza ku mbeera gye yafiiramu. [3] [5] [6] Yaziikibwa nga 4 Ogwokuna, 2024 mu maka ga bajjajjaabe, mu Kijambura Cell, Nyangahya Division, Kikwanana Ward mu Disitulikiti y'e Masindi, mu kitundu ky'e Bunyoro, mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda. [7]

 

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 8 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/experts-probe-how-brig-gen-kiggundu-was-electrocuted-4575816
  2. https://www.newvision.co.ug/category/news/uganda-sends-second-air-force-unit-to-somalia-NV_145070
  3. 1 2 https://www.nilepost.co.ug/news/193912/air-force-chief-gen-kiggundu-dies-in-bathroom-accident-defence Cite error: Invalid <ref> tag; name "SorotiR" defined multiple times with different content
  4. https://www.newvision.co.ug/category/news/museveni-names-new-airforce-commanders-NV_146917
  5. George Asiimwe (1 April 2024). "UPDF Deputy Airforce Commander, Stephen Kiggundu Dies in Bathroom". ChimpReports. Retrieved 4 April 2024.
  6. Ivan Mubiru (31 March 2024). "Brig Gen. Stephen Kiggundu found dead in bathroom". Watchdog Uganda. Retrieved 4 April 2024.
  7. "UPDF Accords Brigadier Kiggundu Eleven Gun Salute". 5 April 2024. Retrieved 14 April 2024.