Steven Mukwala
Steven Mukwala (yazaalibwa 15 July 1999) muzannyi wa mupiira omutendeke munnayuganda era mu kiseera kino azannyira nga striker mu kiraabu ya NBC premier league club Simba Sc, nga tannabeegattako yali muzannyi wa Asante Kotoko Sc. Yazannya ne Vipers SC ne yeewola mu Maroons FC eya Uganda Premier League . [1] [2] [3] [4][5]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu January wa 2017, kyalangirirwa nti Mukwala agenda kwegatta ku kiraabu y’oku ntikko mu Uganda, Vipers SC mu kigambibwa nti kyali kyakitiibwa emuggya mu mupiira gw’e Masaza okutuuka ku bakyampiyoni b’omupiira gwa Uganda Vipers. [6]
Mu 2018, Mukwala yayitibwa mu ttiimu ya Uganda U23 National Team okuzannya ne Ghana ne Cameroon gye yateeba ggoolo emu era nga naye yali mu Uganda Squad eyeetaba mu mpaka za COSAFA Championships e Lesotho era yasobolae okuyamba Uganda okumalira mu kifo kya 3 emabega wa Misiri ng’eteebye ggoolo 3. [7]
Mu February 2017, Mukwala yali mu ttiimu ya Vipers eyawangula Azam Uganda Premier League era yali mu nteekateeka za Miguel Da Costa omutendesi wa Vipers mu kiseera ekyo eyamulinamu obwesigwa oluvannyuma lw’okuteeba ggoolo enkulu mu ttiimu eno mu kunoonya ekikopo kya 2017. [8]
Mu 2019, Mukwala yawolwa mu Maroons FC sizoni empya 2019-2020 gy’ateeba ggoolo 13 n’omu ku basinga okuteeba mu liigi ng’ebula emipiira etaano okugenda mu liigi ya Uganda Premier. Sipiidi n’amaanyi ge ag’okumaliriza omupiira byasikiriza kiraabu endala nnyingi naye nasawo kubeera mu Club Vipers SC. [9]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.goal.com/en-qa/news/mukwala-upl-top-scorer-not-in-a-hurry-to-leave-maroons-fc/k0tfr8fjgpih1bldkld0stt0m
- ↑ https://www.goal.com/en-ug/news/i-play-for-the-team-not-for-myself-maroons-fcs-mukwala/180nd4txnqiu21xfr9b2csyo14
- ↑ https://www.monitor.co.ug/Sports/Soccer/690266-5542284-format-xhtml-4swpqt/index.html
- ↑ https://kawowo.com/2017/09/30/mukwala-eyes-goals-opening-account-vipers/
- ↑ https://www.pmldaily.com/sports/2019/12/upl-awards-mukwala-mutebi-named-november-best.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-04. Retrieved 2025-06-29.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-04. Retrieved 2025-06-29.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20180526035927/http://www.xinhuanet.com/english/2018-05/26/c_137206955.htm
- ↑ https://kawowo.com/2019/11/27/steven-mukwala-loan-stint-at-maroons-has-been-a-complete-overhaul/