Steven Sserwadda Musambi wa Mupiira
Steven Sserwadda (yazaalibwa 28 Ogwomunaana 2002) Munnayuganda Omusambi w'omupiira gw'ensimbi azannya ng'omuwuwuttanyi liigi ya America ku ttiimu ya CT United FC, ku bbanja okuva mu New York Red Bulls II.
Ku Kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]KCCA
[kyusa | kolera mu edit source]Sserwadda yazaalibwa mu Kampala, era yatandika okuzannya omupiira mu ttiimu y'abavubuka eya Kampala Capital City Authority FC mu 2015. Mu 2018, yakuzibwa n’agenda mu ttiimu esooka eyaKCCA oluvannyuma lw’okuyita nkola za tiimu z’abavubuka. [1] Nga wayise emyezi mitono yasooka okuzannya bwe baali bakuba mu mpaka za CAF Confederation Cup eza 2018–19 bwe yawangula kiraabu ya Tanzania, Mtibwa Sugar ggoolo 2-1. [2] Mu luzannya oluddirira olwakamalirizo mu Uganda Cup 2018, Sserwadda yateeba ggoolo bbiri mu buwanguzi bwe baafuna ku Synergy FC obwa ggoolo 9-0. [3] Bwe yali mu kiraabu eno yawangula engule ez'enjawulo, omuli Kagame Interclub Cup emu, Liigi ya Uganda emu, Super Cup bbiri, ne Super 8 Cup. [4]
New York Red Bulls II
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 30 Ogwomwenda 2021, Sserwadda yeegatta ku USL Championship mu New York Red Bulls II.[5] Sserwadda yasambira Red Bulls II omupiira ogwasooka Ogwekkumin 15, 2021, bwe baali bakola amaliri aga 1–1 ne Tampa Bay Rowdies.[6] Nga 31 Ogwomusanvu 2022, Sserwadda yateeba ggoolo ye esooka ku New York Red Bulls II bwe baali bakubwa 1–2 New Mexico United.[7] Nga 9 Ogwomunaana 2022, Sserwadda ye yateeba Ggoolo ey'ekyenkanyi mu buwanguzi bwa 2–1 ku Atlanta United 2.[8] Nga 6 Ogwokubiri 2024, New York Red Bulls II yalaangirira nga bwekansizza Sserwadda ku ndagaano y'okugukyanga ng'asasulwa [9]
New York Red Bulls (ku bbanja)
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 22 Ogwomukaaga 2022, New York Red Bulls yalangirira nga bwekansizza Sserwadda ku ndagaano y'ebbanja ennyimpi bwe baali beetegekera Sizoni mu mpaka za 2022 U.S. Open Cup quarterfinal nga battunka ne New York City FC.[10] Sserwadda yasamba ogwasooka bwe yayingiramu mu ddakiika ya 84 mu kifo kya Luquinhas.[11][12]
New York Red Bulls
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 9 Ogwomusanvu 2022, Sserwadda yeegatta ku Red Bulls ku ndagaano y'enkalakkalira.[13] Ono yasubwa okuzannya sizoni ya 2023 yonna oluvannyuma lw'okufuna obuvune mu kinywa bwe yali asambira ttiimu y'eggwanga.[14]
CT United FC
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 8 Ogwoluberyeberye 2026, Red Bull New York II yasindika Steven Sserwaddaku bbanja mu Connecticut United FC egkyangira mu Liigi y'America mu sizoni ya 2026.[15] Sserwadda yali omu ku bazannyi b'ebyafaayo 11 abaasooka okutendekebwa n'ettiimu eno mu Gwokusatu 1, 2026.
Ku ttiimu y'eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Sserwadda yalabikira mu mipiira gyonna mukaaga egya Uganda mu mpaka za AFCON w'abali wansi w'emyaka 21 owa 2021. Yateeba ggoolo 2 mu kibinja era yakola omulimu gwa njawulo nnyo okulaba nga batuuka mu z'akamalirizo.[16][17] Yazannyira Ttiimu ya Uganda enkulu mu gw'omukwano ogwaggwa 1–1 (5–4) mu kusimulagana ppeneti nga bawangula Tajikistan nga 25 Ogwokusatu 2022.[18] Nga 24 Ogwokusatu 2023, Sserwadda yaddamu okufuna obuvune bwe yayulika ekinywa nga Uganda ezannya ez'okukusunsulamu abaneetaba mu AFCON bwe baali battunka ne Tanzania.[14]
Ebibalo bw'azannye
[kyusa | kolera mu edit source]| Kiraabu | Sizoni | Liigi | Playoffs | National cup[a] | Ku Ssemazinga | Omugatte | ||||||
|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
| Empaka | Emipiira | Goals | Apps | Goals | Emipiira | Ggoolo | emipiira | Ggoolo | Emipiira | Goals | ||
| KCCA FC | 2018–19 | Liigi ya Uganda | 1 | 1 | 0 | 0 | 3 | 2 | 1[b] | 0 | 5 | 3 |
| 2019–20 | Liigi ya Uganda | 9 | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 | 10 | 1 | |
| 2020–21 | Liigi ya Uganda | 9 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 | 0 | 0 | 10 | 0 | |
| Omugatte | 19 | 2 | 0 | 0 | 4 | 2 | 2 | 0 | 25 | 4 | ||
| New York Red Bulls II | 2021 | USL Championship | 4 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 4 | 0 |
| 2022 | USL Championship | 14 | 2 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 14 | 2 | |
| 2023 | MLS Next Pro | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | |
| 2024 | MLS Next Pro | 23 | 2 | 0 | 0 | 2 | 0 | 0 | 0 | 25 | 2 | |
| 2025 | MLS Next Pro | 22 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 22 | 0 | |
| Omugatte | 63 | 4 | 0 | 0 | 2 | 0 | 0 | 0 | 65 | 4 | ||
| CT United FC | 2026 | MLS Next Pro | 3 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 3 | 0 |
| Omugatte | 3 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 3 | 0 | ||
| New York Red Bulls | 2022 | Major League Soccer | 2 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 | 0 | 0 | 3 | 0 |
| Omugatte | 2 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 | 0 | 0 | 3 | 0 | ||
| Omugatte wonna | 87 | 6 | 0 | 0 | 7 | 2 | 2 | 0 | 96 | 8 | ||
Ebitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]KCCA
New York Red Bulls II
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "KCCA manager Mutebi envisages Bright future in stylish midfielder Sserwadda". kawowo.com. 2 June 2018.
- ↑ "KCCA register first Confederations Cup away victory as they dispatch Mtibwa". pmldaily.com. 23 December 2018.
- ↑ "Ranking Mutebi's ten biggest games at KCCA FC". pmldaily.com. 30 March 2021.
- ↑ "Steven Sserwadda departs". kccafc.co.ug. 27 July 2021.
- ↑ Bulls, New York Red. "New York Red Bulls II Sign Ugandan Midfielder Steven Sserwadda". New York Red Bulls.
- ↑ "TAMPA BAY ROWDIES VS. NEW YORK RB II 1 – 1". soccerway.com. Retrieved October 16, 2021.
- ↑ "New York Red Bulls II 1–2 New Mexico United". uslchampionship.com. Retrieved July 31, 2022.
- ↑ "New York Red Bulls II 2–1 Atlanta United 2". uslchampionship.com. Retrieved August 9, 2022.
- ↑ "New York Red Bulls II Sign Ugandan International Steven Sserwadda to an MLS NEXT Pro Contract". newyorkredbulls.com. 6 February 2024. Retrieved 7 February 2024.
- ↑ "New York Red Bulls Signs Midfielder Steven Sserwadda and Defender Juan Castillo to Short-Term Loan Ahead of Open Cup Quarterfinal". newyorkredbulls.com. 22 June 2022. Retrieved 23 June 2022.
- ↑ "NEW YORK RB VS. NEW YORK CITY 3 – 0". soccerway.com. Retrieved 23 June 2022.
- ↑ "Red Bulls Advance to U.S. Open Cup Semifinals With NYCFC Win". www.newyorkredbulls.com.
- ↑ "New York Red Bulls Sign Ugandan Midfielder Steven Sserwadda".
- 1 2 "New York Red Bulls Midfielder Steven Sserwadda Undergoes Successful Surgery". www.newyorkredbulls.com.
- ↑ "Red Bull New York II Midfielder Steven Sserwadda Loaned to Connecticut United FC".
- ↑ "Uganda beats Mozambique to top Group A". cafonline.com.
- ↑ "Kakooza breaks Mauritania hearts as Uganda qualify for quarter finals". cafonline.com.
- ↑ Strack-Zimmermann, Benjamin. "Uganda vs. Tajikistan". www.national-football-teams.com.
Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Steven Sserwadda ku Soccerway
- KCCA ebibalo (https://web.archive.org/web/20220831152759/https://www.besoccer.com/player/s-sserwadda-728673)