Sulaiman Kyebakoze Madada
Sulaiman Kyebakoze Madada Munnayuganda munnamawulire era munnabyabufuzi era . Ye Minisita omubeezi ow'abakadde n'abalema mu kabineeti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 1 Ogwomukaaga 2006. [1] Mu nkyukakyuka ezakolpebwa mu kabineti nga16 Ogwokubiri 2009, [2] ne nga 27 Ogwokutaano 2011, [3] yasigaza ekigo kye mu kabineeti. Era ye mubaka mu Paalamenti omulonde akiikirira Essaza ly'e Bbaale mu Disitulikiti y'e Kayunga . Abadde akiikirira ekitundu ekyo obutasalako okuva mu 2001. [4]
Obuvo bwe n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kayunga nga 11 Ogwekkuminogumu 1961. Sulaiman Madada alina diguli mu by'empuliziganya eya Bachelor of Arts mu Mass Communication, gye yafuna mu 2009, okuva mu Kampala International University (KIU). Diguli ye eya Master of Arts mu Development Administration & Management gye yaweebwa mu 2011, nayo yagifunira ku KIU. [4]
- ↑ https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
- ↑ https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
- ↑ https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
- 1 2 https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament