Susan Basemera
Susan Basemera munnayuganda omuyimbi era munnakatemba
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Basemera yasibuka mu Uganda, natandika okuyimba mu kkwaaya z’amassomero ku myaka munaana. Amanyiddwa nga Zani Lady C mu nsi ye, yakwata oluwumula lwe olunene mu 1995, bwe yeegatta ku bbandi ya Waka Waka n'afulumya oluyimba "Yimilila awo". [1] Amanyiddwa nnyo olw'oluyimba "Ndoowa", olwafuuka oluyimba olwamaanyi mu 1997 era n'okutuusa kati lukyamanyiddwa nnyo. Mu 2012, Basemera yagenda mu Amerika okwongera ku mulimu gwe. [2] Wadde ng'essira asinga kulisa mu kuzannya katemba, yafulumya oluyimba "Goolo Goolo" mu 2015. [3]
Mu 2016, Basemera yalabikira mu firimu ennyimpi eya Gubagudeko ne Mahershala Ali. Yazannya nga omuzannyi omukulu mu firimu ya Can You Keep a Secret . Mu 2020, Basemera yazannya nga Yuliana mu mizannyo gy'obutundu ku Apple TV+ oguyitibwa Little America, nga gulimu emboozi z’abasenze mu Amerika. Ekitundu kino yakifuna oluvannyuma lwa dayirekita okuweereza akapande naddamu namuddamu nga aweereza obubaka ku meyiro ku namba ezaali ku kapande ekyasanyusa ennyo abantu abaali babagezesa.[2] Mu kifaananyi ekimu,yayolesa obusika bwe ng’ayambadde gomesi. [4]
Okusinziira ku Basemera, ekitongole kya firimu mu Uganda kisigadde mabega wa firimu mu Amerika mu kuzikola, ebyuma, abazannyi, n’okusaasaanya."Ekisaawe kya firimu bwekiba kifuna ssente ezimala wamu n'abakwatibwako abalina obumanyirivu olwo esobola okugenda ewala," Basemera bwe yagamba. [5]
Firimu zeyakakola
[kyusa | kolera mu edit source]- 2012: Love Collision (eddoboozi) .
- 2016: Gubagudeko
- 2016: Can you Keep a Secret
- 2020: Little America
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]
Obuyungo obw'ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Susan Basemera at IMDb
- ↑ "Zani Bio". Music in Africa. Retrieved 14 October 2020.
- 1 2 "Ugandan actress makes it to Apple TV and Universal film". Daily Monitor. 17 February 2020. Retrieved 14 October 2020. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "monitor" defined multiple times with different content - ↑ Ogwal, Lawrence (25 October 2019). "I am focusing on my acting career at the moment -- Singer Zani Lady C". Sqoop. Retrieved 14 October 2020.
- ↑ "Ugandan actress lands role in Hollywood movie titled Little America". Kampala Sun. 17 February 2020. Archived from the original on 19 October 2020. Retrieved 14 October 2020."Ugandan actress lands role in Hollywood movie titled Little America". Kampala Sun. 17 February 2020. Archived from the original on 19 October 2020. Retrieved 14 October 2020.
- ↑ Ssempijja, Reagan (18 February 2020). "Ugandan actress lands Hollywood role". The New Vision. Retrieved 14 October 2020.