Jump to content

Susan Lakot

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Lt Col Susan Oruni Lakot, munnayudanda munnabyanjigiriza era munna maggye , eyaweerezaako ng’omubaka wa paalamenti omulonde ng’akiikirira amagye g'eggwanga ga Uganda People’s Defence Forces (UPDF) mu paalamenti ey’ekkumi (2016–2021). [1]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa nga 7 Omwezi ogwomusanvu 1975, mu disitulikiti y’e Kitgum, mu ttundutundu ery'obukiika kkono bwa Uganda. Yasomera mu Kitgum Public Primary School, ku misomo gye egy'omutendera ogwa pulayimale. Olwo yagenda ku ssomero lya siniya erya "YY Okot Memorial College" mu Kitgum, gye yamalira emisomo gye egya siniya eyokuna ( O-Level). Yafuna satifikeeti emaliriza emisomo gya siniya , oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo gye egya siniya ey'omukaaga ku sommero lya siniya erya Bukoyo Secondary School, mu kabuga k'e Iganga, mu 1993. [1]

Yaweebwa ekifo ku mu ttendekero ly’eggwanga ery'abasomesa (nga kati kitundu ku yunivasite y'e Kyambogo)

naatikkirwa mu 1999, ne dipulooma mu busomesa obwa siniya. Nga wayise emyaka kkumi, yatikkirwa okuva mu yunivasite y'e Ndejje ne ddiguli ey'obusomesa. [1]

Okusinziira ku byafaayo bye ebiri ku mukutu gwa paalamenti ya Uganda, Susan Lakot yatandika okusomesa ku ssomero lya siniya ery'amaggye erya Bombo Army Secondary School, mu 2003, ng’omusomesa wa bulijjo. Nga wayise emyaka esatu, yakuzibwa okutuuka ku kifo ky'omumyuka w’omukulu w'esomero lye limu, era ng'owa bulijjo. [1]

Yeegatta ku ggye lye'eggwanga erya UPDF mu 2010. Omwaka gwe gumu ogwo, yasindikibwa mu ttendekero lya Uganda Junior Saff College , mu Jinja, disitulikiti y’e Jinja, mu ttundutundu ly'obuvanjuba bwa Uganda. Mu 2011, yalondebwa mu paalamenti ey’omwenda (2011–2016). Mu 2016, yaddamu okulondebwa mu paalamenti ey’ekkumi (2016–2021). [1] [2] [3]

Major Susan Lakot yafumbirwa Saajenti Robert Abok omuserikale mu poliisi ya Uganda . [1] [4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Parliament of Uganda (2019). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Lakot Susan Oruni". Kampala: Parliament of Uganda. Retrieved 11 February 2019.
  2. Kasasira, Risdel (6 March 2016). "Who are new UPDF MPs?". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 11 February 2019.
  3. Richard Wanambwa (3 March 2016). "UPDF elects MPs today". Kampala: Eagle Uganda. Retrieved 11 February 2019.
  4. Edge Reporter (16 December 2018). "Police Sergeant weds UPDF Major". Kampala: The Edge Uganda. Archived from the original on 12 February 2019. Retrieved 11 February 2019.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 Parliament of Uganda (2019). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Lakot Susan Oruni". Parliament of Uganda. Retrieved 11 February 2019.
  2. Kasasira, Risdel (6 March 2016). "Who are new UPDF MPs?". Retrieved 11 February 2019.
  3. Richard Wanambwa (3 March 2016). "UPDF elects MPs today". Eagle Uganda. Retrieved 11 February 2019.
  4. Edge Reporter (16 December 2018). "Police Sergeant weds UPDF Major". The Edge Uganda. Archived from the original on 12 February 2019. Retrieved 11 February 2019.