Jump to content

Svend Bayer

Bisangiddwa ku Wikipedia
Vase eyakolebwa Svend Bayer mu 1997. Walker Art Gallery, Liverpool.

Svend Bayer (yazaalibwa 2 Ogusooka 1946 [1] mu Uganda eri abazadde aba Denmark [2] [3] ) Mungereza Omudaaki[4] mubumbi w'ebintu eby'enajwulo eyayogerwako Michael Cardew nga "omuyizi we asinga." [5]

Bayer yakulira mu Tanganyika era yavumbula eby’okubumba bwa yali aky’asoma ku kunoonyereza ku bifo n'enkolagana wakati w'abantu n'obutonde saako n’ebyenfuna mu yunivasite y’e Exeter [4] okuva mu 1965 okutuuka mu 1968. Yatandika okukola ng’omuyizi mu Wenford Bridge Pottery ne Michael Cardew mu 1969. [6] [4] Mu 1972 yeegatta ku kkampuni y'ababumbi eya Brannam Pottery e Barnstaple, gye yakolera nga omukasusi w'ebbumba okumala omwaka mulamba. Ono ayogerwako ng'oboolyawo asinga mu babumbi okukola ku Wenford Bridge, era ensuwa ze ennene zigambibwa okubeera nti "za maanyi nnyo". [7]

Oluvannyuma lw’okutambula mu Far East, Asia ne Amerika, yatandikawo edduuka lye mu Sheepwash Beaworthy, Devon mu 1975.

Akozesa ebbumba ekika kya ball clays erya North Devon era n’akuba eky'okero ky'ebbumba kye n’enku. Amanyikiddwa nnyo mu kubumba n'okuwunda ebintu ebiteekebwa mu nyumba n'ensuwa ennene ddala ez'omunnimiro. [8]

Bayer eyolesezza nnyo mu Bulaaya, Middle East, North America, Australia ne New Zealand.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20041119204838/http://www.theceramicartist.com/display1.asp?mainid=1&select=14
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2008-10-07. Retrieved 2025-08-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20110715131324/http://puckergallery.com/bayer.html
  4. 1 2 3 https://www.britishmuseum.org/collection/term/AUTH225577
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2015-05-08. Retrieved 2025-08-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2013-02-20. Retrieved 2025-08-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. Rice, P., British Studio Ceramics, Barrie and Jenkins, London, 1989, p.55
  8. Watson Oliver, Studio Pottery Phaidon 1993, p.152

Lua error: Invalid configuration file.