Tarsis Kabwegyere
Tarsis Bazana Kabwegyere munnayuganda omukugu mu mbeera z'abantu, abasomesa era munnabyabufuzi . Ono yaliko minisita w'emirimu egy'awamu mu kabineti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 23 ogwokuutaano mu 2013. [1] Okuva nga 15 ogwomunaana mu 2012 okutuuka nga 23 ogwokutaano mu 2013, yali minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’ensonga z’embeera z’abantu.[2] Mu kusooka, akakiiko ka palamenti akakebera okulonda kwa kabineti kaagaana okusunsulwa kwe,[3] kyokka oluvannyuma lw’okuteesa wakati wa Pulezidenti Yoweri Museveni ne Sipiika Rebecca Kadaga,[4] yasembayo okukkirizibwa nga 7 ogwomwenda mu 2012.[5] Emabegako, yali minisita w’okudduukirira n’okuteekateeka obutyabaga mu kabineti ya Uganda, okuva nga 1 ogwomukaaga mu 2006 okutuusa 27 ogwokutaano mu 2011.[6] Mu nkyukakyuka mu kabineti eyakolebwa nga 27 ogwokutaano mu 2011, yagobwa mu kabineti n'asikirwa Stephen Malinga .[7] Era yali mubaka omulonde mu palamenti ng'akiikirira county ya Igara West, mu disitulikiti ye Bushenyi, okuva mu 1996 okutuuka mu 2011.[8]
Ensibuko ye n’obuyigirize bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Bushenyi nga 26 April 1941. Alina diguli ya Bachelor of Arts mu by’obulamu. Diguli ye eya Master of Arts eri mu byobufuzi sociology . Alina ne diguli ya Doctor of Philosophy mu mulimu gwe gumu. Diguli ze zonna ez’eby’ensoma zaaweebwa yunivasite ya Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Uganda era esinga obunene, eyatandikibwawo mu 1922.
Oluvannyuma lwa Idi Amin okuwamba obuyinza mu Uganda mu 1971, Kabwegyere yeegatta ku kibiina kya Save Uganda Movement, ekibinja ky'abatujju ekyagezaako okugoba Amin.[9]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvanyuma lw’obufuzi bwa Amin okugwa mu 1979, Kabwegyere yalondebwa okuba minisita w’ettaka n’ebyobugagga eby’omu ttaka, n’abeera n’ekifo ekyo okutuusa mu 1980. Okuva mu 1982 okutuuka mu 1987, yali akulira ekitongole ky’eby’obulamu mu kitongole kya Sayansi w’embeera z’abantu mu yunivasite y’e Makerere. Oluvanyuma lw’okuggyibwako Milton Obote mu buyinza n’okugoba ekibiina ky’amagye ekya Tito Okello, Kabwegyere yafuuka mmemba mu kibiina kya National Resistance Council, ekibiina kya palamenti mu Uganda okuva mu 1986 okutuuka mu 1996.[10]
Era yaweereza nga minisita w’eggwanga ow’ensonga z’ebweru okuva mu 1987 okutuuka mu 1991. Wakati wa 1991 ne 1996, yali dayirekita w’enkolagana y’ebweru mu National Resistance Movement Secretariat . Yalondebwa mu minisitule y’okudduukirira abantu mu biseera by’obutyabaga mu gwomukaaga mu 2006, okutuusa lwe yagobwa mu kabineti mu gwokutaano mu 2011.[11]
Mu gwomwenda mu 2006, Kabwegyere yeetaba mu lukiiko lw’ebyobufuzi olwatuula mu ttabamiruka w’ekibiina kya Uganda North American Association (UNAA) mu kibuga New York. [12]
Yasigala akiikirira County ya Igara eye bugwanjuba, mu disitulikiti ye Bushenyi mu Palamenti ya Uganda okuva mu 1996 okutuuka mu 2011. Mu 2010, yawangulwa mu kulonda kwa pulayimale ne Raphael Magezi naye ow’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement, omubaka wa palamenti ali mu ntebe . [8]
Ebikwata ku muntu ebyomunda
[kyusa | kolera mu edit source]Kabwegyere mufumbo. Ono wa kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement . Ategeezeddwa an? okunyumirwa okuzannya ttena y'omuddo n'okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo .[13]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijjuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ UHCUK (23 May 2013). "Cabinet of the Government of the Republic of Uganda As At 23 May 2013". Uganda High Commission to the United Kingdom. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 4 March 2015.
- ↑ Butagira, Tabu (15 August 2012). "Museveni Reshuffles Cabinet, Makes Marginal Changes". Archived from the original on 16 August 2012. Retrieved 4 March 2015.
- ↑ Mercy Nalugo; Isaac Imaka (28 August 2012). "Kabwegyere Dropped As Parliament Vets Ministers". Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 4 March 2015.
- ↑ David Tash Lumu, and Sulaiman Kakaire (29 August 2012). "Uganda: Museveni Calls Kadaga Over Professor Kabwegyere". Retrieved 4 March 2015 – via AllAfrica.com.
- ↑ "Professor Kabwegyere Finally Approved As Minister". KFM. 7 September 2012. Archived from the original on 29 June 2022. Retrieved 4 March 2015.
- ↑ Mukasa, Henry (2 June 2006). "Cabinet Ministries Allocated". Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 4 March 2015.
- ↑ "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Uganda State House. 27 May 2011. Retrieved 4 March 2015 – via Facebook.
- 1 2 Mugasha, Chris (5 September 2010). "Nduhura, Kabwegyere Out, Karooro In". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 4 March 2015.
- ↑ Michael Mubangizi (13 December 2007). "We wanted to hit OAU delegates". Archived from the original on 6 December 2024. Retrieved 4 January 2021.
- ↑ "PLU takes on former minister Tarsis Kabwegyere for critiquing Muhoozi 'unlawful' acts". Pulse Uganda (in Lungereza). 2026-09-06. Retrieved 2026-09-06.
- ↑ "Kabwegyere irked by being called old man". Monitor (in Lungereza). 2021-01-21. Retrieved 2026-09-06.
- ↑ "UNAA Convention was disorganised!". New Vision (Kampala). 2006-09-05. Retrieved 2026-02-18.
- ↑ "PLU takes on former minister Tarsis Kabwegyere for critiquing Muhoozi 'unlawful' acts". Pulse Uganda (in Lungereza). 2026-09-06. Retrieved 2026-09-06.