Jump to content

Tebandeke owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox royaltyTebandeke Mujambula, oluusi awandiikibwa nga Ttebandeke Mujambula, yali Kabaka w’Obwakabaka bwa Buganda wakati wa 1704 ne 1724. Yali Kabaka wa Buganda ow’omulundi ogw'ekkuminomunaana (18).

Okutuuzibwa ku Nnamulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

  Yali mutabani wa Kabaka Mutebi I, Kabaka wa Buganda owookubiri, eyafugira wakati wa 1674 ne 1680. Maama we yali Nabukalu ow’ekika ky'Olugave ng'ono mukyala w'akubiri (2nd) ku bakyala ba kitaawe abataano (5). Yalinnya ku Nnamulondo oluvannyuma lw’okufa kwa kojja we mu mwaka gwa 1704. Yatandikawo Olubiri lwe e Bundeke.

Mu kiseera ky'obukulembeze bwe, abaana ba Tebandeke balwala nga nnyo era batwalibwa nga mu ndagu okwogera okunyonyoka ensibuko y'obulwadde. Mu mikolo egy'akolebwa, mwalimu omukolo ogwakolebwa Kabaka era abaana ne bawona. Olwa kino, Ku kino, obujjanjabi bwaliko ssente nnyingi olw’obuweereza bwabwe ate oluvanyuma ne baswaza Tebandeke bwe bamubanjiza mu lwatu. Kabaka eyali omuswavu, yalagira abasamize okuttibwa n'amasabo gaabwe ne gookebwa. Kabaka oluvannyuma y'asuulibwa eddalu n’addukira mu kibira. [1]

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawasa abakyala bataano (5) : [2]

  • Naabakyaala Nakyaazirana, Kaddulubaale muwala wa Sensalire, ow’ekika ky’e Njovu
  • Balangazza muwala wa Sekayiba ow’ekika ky'e Mbogo
  • Nabali muwala wa Sempala, ow'ekika ky'e Ffumbe
  • Nabaziika mwannyina wa Nakuwande, era muwala wa Mugema, ow’ekika ky’e Nkima
  • Nakuwande mwannyina wa Nabazika, era muwala wa Mugema, ow'ekika ky'enkima

Ensonga endala

[kyusa | kolera mu edit source]

Ky'awandiikibwa yazaala omwana omu yekka:

Emyaka gye egy'oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabaka Tebandeke yafiira mu Lubiri e Kanyakasasa, Bundeke. Yaziikibwa Bundeke. [3]

Engeri Bakabaka gye bazze b'eddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Sir Apollo Kaggwa, 1901. Ekitabo kya Basekabaka b'e Buganda.
  2. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 30.
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2025-07-31.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]